From IALI with authority from terminologist Charles Muwanga !

Ebiruubirirwa

Ebiruubirirwa(aims)

Ebiruubirirwa biba bigambululo kwe’ekyo ekyetaagibwa okukola naye nga bbyo byesonjovu okusinga ku bigendererwa(gaols) . Nabyo tebiba birambulukufu nnyo. Mu kuteekateeka kawefube , ebiruubirirwa birina okulagibwa obulungi.Ekiruuburirwa kisonjolwa mu bwangu nga ekigonjoolo ky’obuzibu(solution to a problem) obubwa buwedde okunokoolwayo .Ekizibu ekirina ekiruubirirwa ekyo tekiba kyesonjovu (is general problem).

Eno y’ensonga lwaki singa oba owandiika ebiwandiiko bya kaweefube , kyetaagisa okumanya enjawulo wakati w’ebiruubirirwa n’ebiruubiriro .Ekiruubiriro kijjibwa mu kiruubirirwa yadde nga kirina ekigendererwa kye kimu n’ekiruubirirwa yadde nga kyo ekiruubiriro kyesonjovu nnyo okusinga ekiruubirirwa . Ka tugambe nti entabaganyo yo enekoddeyo ekizibu ekigyolekedde nga “enkozesa y’obutonde ey’ekyeyonoonerero” .

Ekigonjoolo ky’ekizibu ekyo kibeera “okuziiyiza enkozesa y’obutonde ey’ekyeyonoonero” . Oyinza okulaga nti ekiruubirirwa kino si kirambulukufu bulungi nga obuuza “buttonde ki obukozesebwa ekyeyonoonero?” Baba bayinza okukuddamu nti “okutema emiti n’okusanyaawo ebibira awatali kweloboza yadde kusimba emirala’ .Wano ky’okola kwe kubategeeza nti enteekateeka ya kawefube erina okuba nga nesonjovu ku buli kiruubiriro obutalekaawo mwagaanya gwa ntaputa za njawulo.