Eddagala erigema Olukusense kyusa

http//en.wikipedia Org/wiki/wikipedia: wikiproject_medicine/Translation_Task_force/RTT/simple measles vaccine.

Likola litya? kyusa

Eddagala erigema Olukusense[[ https://en.wikipedia.org/wiki/Wikipedia:WikiProject_Medicine/Translation_task_force/RTT/Simple_measles_vaccine]] ly'eddagala erisingayo okutangira olukusense. Oluvannyuma lw’okugemebwa kwa mulundi gumu gwokka, abaana abalina emyezi mwenda ebitundu 85%, wamu n’abo abasukka emyezi kkumi n’ebiri ebitundu 95% babeera n’obusobozi bw’obutakwatibwa bulwadde buno. Abaana abagemeddwa omulundi ogusooka ne bataba na nkyukakyuka mu bulamu bwabwe bagemebwa omulundi ogwokubiri.

Ekiraga okweyongera oba okukendeera kw'Olukusense mu ggwanga kyusa

Omuwendo gw'abaana abagemeddwa bwe gusukka ebitundu 93% olwo obulwadde bw'olukusense bubeera ng’emisinde kwe bubalukirawo mu bitundu giba gikendeera wabula ate singa omuwendo gw’abaana abagemebwa gubeera nga gusse olwo ate emikisa gy’obulwadde buno okubalukawo giba gyeyongera.

Eddagala lino likola bulungi ne mu bantu abalina akawuka akaleeta mukenenya.

Obunafu bw'eddagala lino kyusa

Obukosefu butono nnyo bw'oyinza okufuna nga olw’okuzesezza eddagala lino era bumala akaseera katono. Muno muyinza okubaamu okulumizibwa mu kifo awagemeddwa wamu n'omusujja omutonotono. Eddagala weeriri nga lyo wabula lisobola okukozesebwa wamu n'eddagala eddala gamba nga; erigema amambuluga, "varicella vaccine” n'eddagala eddala.

Amagezi okuva mu kitongole kya WHO ku ddagala lino kyusa

Ekitongole ekya "World Health Organization" kisemba okukozesa eddagala lino okugema abaana abalina emyezi omwenda mu bitundu obulwadde gye butali nnyo ne mu baana abalina emyezi ekkumi n’ebiri mu bitundu obulwadde gye buli ennyo. Eddagala lino lya buwunga erisobola okutabulwa ne likubibwa mu mubiri gw'omuntu oba mu binywa nga liyisibwa mu mpiso.

Omuwendo gw'abalikozesa kyusa

Abaana 85% okwetoloola ensi yonna baagemebwa n'eddagala lino mu 2013. Mu 2008, amawanga 192 ge gaagema abaana n'eddagala lino.

Lyatandika ddi okukozesebwa? kyusa

Eddagala lino lyavumbulwa mu 1963. "Measeles_mumps_rubella" (MMR) lye lyasooka okutabulwa mu 1971. Eddagala lino liri ku lukalala lw'eddagala olw'ekitongole ky'ebyobulamu eky’ensi yonna ekya "World Health Organization" era si lya buseere.