Eddagala erigema omusujja gw’Omu byenda
Eddagala erigema omusujja gw'omu byeda,[[1]] ly'eryo eriziyiza omuntu okukwatibwa omusujja gw'omu byenda <https://lg.wikipedia.org/wiki/Omusujja_gw%E2%80%99omu_byenda>. Eddagala lino lirimu ebika bibiri era ng'ekisooka kye kiyitibwa Ty21a nga lino likozesebwa mu ngeri ya kulitonnyoza mu kamwa, ate ng'eddala liyitibwa Vicapsular polysaccharide vaccine nga lyo balikuba mu mubiri nga bakozesa kayiso, era ng'eddagala lino lyombi likola okuva ku bitundu makumi asatu ku buli kikumi okutuuka ku bitundu kinaana ku buli kikumi(30-80%) okumala ebbanga lya myaka ng'esatu.
Ekitongole ekikulira n'okulondoola ebyobulamu munsi yonna ekiyitibwa World Health Organisation kikubiriza abantu bulijjo okugemesanga abaana bonna naddala abo abali mu bitundu ebirimu abalwadde b'omusujja gw'omu byenda. Kitegeezebwa nti abo bonna ababa boolekedde okukwatibwa omusujja guno baba basaanye okugemesebwa.
Ng'oggyeeko okugema abo abali mu katyabaga k'okukwatibwa omusujja guno, era okugemebwa kyandiyambako n'okutangira okubalukawo kw'omusujja guno mu kitundu.
Waliwo ddoozi ezitera okukkirizibwa okwongerezebwa ku ddagala eryo erigema omusujja gwa Typhoid okumalira ddala ebbanga lya myaka nga musanvu okusinziira ku mbeera eba eriwo. Eddagala lino eryeyambisibwa okugema Typhoid ennaku zino si lya mutawaana ku muntu, era ddungi ng'oggyeeko obumulumulu obutonotono, gamba nga obulumi obubaawo ng'omuntu akubiddwa akayiso. Era eddagala erikubibwa mu kayiso teririna buzibu bwonna eri abo abalwadde ba mukenenya/siriimu era n'eryo ery'omu kamwa likyayinza okukozesebwa eri abalwadde ba mukenenya kasita kiba nti siriimu tannalaga bubonero bwe.
Naye tewali bukakafu bwa nkukunala ku butuufu bw'okukozesa eddagala lino erigema Typhoid ery'okutonnyeza mu kamwa naddala ku bakyala abalina embuto.
Eddagala eryo waggulu liri ku lukalala lw'ekitogole ekya WHO, ng'eddagala ery'omugaso ennyo erisaanye okuba nalyo mu nteekateeka z'ebyobulamu eza bulijjo.
Ebijulizo
kyusahttps://lg.wikipedia.org/wiki/Omusujja_gw%E2%80%99omu_byenda