Ng’oggyeeko okubeera ng’okunywa amazzi kya nkizo nnyo mu kutangira okulumwa omutwe, bajjajjaffe baalina eddagala ery’enjawulo ery’ekinnansi lye baakozesanga okuvumula omutwe oguluma. Erimu ku lye baazuula lye lino wammanga:

  • Akakumirizi(akeeyeeyo)
  • Olukandwa
  • Kawunyira
  • Emmwaanyi (bikoola)
  • Akakumirizi (akeeyeeyo

Akakumirizi (akeeyeeyo) kyusa

Akakumirizi kamera awaka naddala mu luggya ne mu mimwaanyi bwe giba nga we giri. Kabeera n’obukoola nga butono era nga tekatera kuwanvuwa nnyo mu bbanga nga zino enjeyo endala. Singa omuntu abeera ng’alumwa omutwe, aweebwa amagezi okufuna awali ekikolo ky’Akakumiririzi, ng’alina n’amazzi ge mu bbaafu nnazzikuno eyabanga ekkalaayi. Ng’amaze okubifuna akutama oba okufukamira ku kikolo ekyo n’atandika okuyengera akakumirizi kano mu mazzi g’alina oluvannyuma nga kamaze okunogamu n’aganaaba mu mutwe.

Weetegereze:

  • Mu kifo w’oyengedde eddagala lino w’olinaabira nga tovuddeewo.
  • Tonoga bikoola bya kakumirizi wabula oyengera ku kikolo.

Oluvannyuma lw’okunaaba olagirwa okuvaawo n’ebbaafu yo otambule ogende, wabula ng’amazzi gonna olina okuba ng’ogamazeemu (bwe gaba gasigaddemu gayiwe ku kikolo otwale ebbafu yo). Tosiimuula mutwe guleke gukale gwokka. Wummulamu okumala ekiseera era nga mu luvannyuma lwa ddakiika ttaano ku kkumi osuubirwa okuba ng’oteredde.

Olukandwa kyusa

Luno lumera ku ttale nga lubeera n’obuti obutonotono nga busobola okuwanvuwa okutuuka ku ffuuti nga nnya okwambuka waggulu. Ebikoola byalwo bibeera bitonotono nga bw’olaba ebya kamunye wabula nga byo bibeera bisondowavumu (bisongoolerevu). Langi y’ebikoola byalwo ebeera ya kiragala omusiiwuukirivu kungulu kwabyo ate emabega yo waba wasiiwuufu ddala nga waba wafaanagana n’obuti bw’alwo. Bw’olukwatako owulira nga lugumu era nga kino osobola n’okukiraba ng’olutunuulidde butunuulizi. Olukandwa luno ddagala kkulu nnyo mu kuvumula endwadde y’omutwe. Luno olunogako ebikoola, n’obiyengera mu mazzi n’onaaba mu mutwe gwonna ne gunnyikira bulungi.

Oluvannyuma oweebwa amagezi okufunamu akaseera owummulemu era ng’oluvannyuma ojja kufuna obuweerero.

Kawunyira (muttaddogo) kyusa

Kano kabeera kaddo akamera ennyo ku mabbali g’empya era ng’erinya lyako lyava ku mpunya gye kawunyamu. Kamera nga kampi era nga kalina obukoola obutono okwenkana n’akagalo k’omwana omuto era nga buwanvuyirivu. Ku mabbali gaabwo (margin) si butereevu kufaananako bikoola birala ng’ekya ffene.

Ono omulwadde alumwa omutwe amunoga n’ayengera mu mazzi n’anaaba mu mutwe. Kawunyira ono era yakozesebwanga singa omuntu yalowoozebwanga okuba ng’aliko ekizimu ekimutembye ku mutwe, nga bamuyenga ne bassa omulwadde ku nnyindo n’okumumusiiga mu kyenyi. Kyawaanuuzibwa nti singa kino kikolebwa olwo nga ekimuliko kijja kwogera oba okumwamuka mu bwangu.

Ebikoola by’emmwaanyi kyusa

Bino nabyo biyengebwa omuntu alumwa omutwe n’abinaaba