Eddwaliro lya Lubaga Hospital
Eddwaliro lya Uganda Martyrs' Hospital Lubaga, erimanyiddwa ennyo nga Lubaga Hospital, era nga lyasooka kuyitibwa Rubaga Hospital, lya bwannannyini, eritakolera kufuna magoba, lya bantu bonna nga liri mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda.[1]
Gye lisangibwa
kyusaEddwaliro lino lisangibwa ku kasozi Lubaga, mu Divizoni y'e Lubaga, mu bugwanjuba bwa Kampala. Liri kirommita nga 5.5 (ze mmayiro 3), okuva ku ddwaliro ekkulu erya Mulago National Referral Hospital.[2] Era liri mmayiro 3 okuva mu kibuga wakati era Disitulikiti esingamu ebyobusuubuzi mu Uganda.[3] Ennamba eddwaliro lya Lubaga Hospital kwe litudde ziri: 0°18'15.0"N, 32°33'10.0"E (Latitude:0.304167; Longitude:32.552778).[4]
Ebirikwatako
kyusaLyatandikibwawo Ababiikira abaminsane aba Our Lady of Africa mu 1899. Kigambibwa nti ly'eddwaliro ly'Abakatoliki erisinga obukadde mu Uganda.[1] Liri wansi W'essaza Ekkulu erya Kampala erya Eklezia Katolika era lirungamizibwa olukiiko olutwala ebyobulamu olwa Eklezia Katolika mu Uganda olwa Uganda Catholic Medical Bureau (UCMB). Eddwaliro lino likulemberwa bboodi erondebwa Ssaabasumba w'essaza Ekkulu erya Kampala. Eddwaliro lya Lubaga Hospital liddukanyizibwa ttiimu ey'enjawulo ekyusibwa bwe wabaawo obwetaavu. Lino era likola ng'eddwaliro eryeyambisibwa mu kusomesa abasawo naddala okuva ku ttendekero lya Lubaga Health Training Institution eririri ekinnya n'empindi.[1]
Ebirala ebirikwatako
kyusaWe bwatuukira mu Gwekkumineebiri, 2019, eddwaliro lino lyalina ebitanda by'abalwadde 274, nga lisinga kuimirirawo ku ssente ezisasulwa abalwadde (83.3 ku buli 100) ateGavumenti ya Uganda n'ereetayo 1.4 ku buli 100. Olwo eddwaliro lyennyini, oabantu ssekinnoomu abaliwa n'omuutemwa okuva mu Eklezia naddala Essaza Ekkulu erya Kampala, ne bikola omutemwa gwa bitundu 15.3 ku buli 100.[1]
Eddwaliro lya Lubaga Hospital lijjanjaba abalwadde abataweebwa bitanda 164,008 buli mwaka, bwe balwadde 450 buli lunaku,okuva ku Mmande okutuusa ku Ssande. Abalwadde 17,850 be baweebwa ebitanda ne bajjanjabirwa mu ddwaliro lino buli mwaka. Abaana 6,832 be bazaalibwa mu ddwaliro lino buli mwaka, ng'abakyala abalongoosebwa nga bazaala baweza ebitundu 25.6 ku buli 100.
Laba ne bino
kyusa
Ebijuliziddwa
kyusa- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 https://www.ucmb.co.ug/hospital/uganda-martyrs-hospital-lubaga/
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Lubaga+Hospital,+Mutesa+Rd,+Kampala/Mulago+Hospital,+Kampala/@0.3324112,32.5555064,14z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dbcb95a57c9af:0x56656c38af282afb!2m2!1d32.5525266!2d0.3042221!1m5!1m1!1s0x177dbb0f51509de1:0xea12334542674d8c!2m2!1d32.5761312!2d0.3380637!3e0
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Amber+House+Ltd,+Speke+Rd,+Kampala/Lubaga+Hospital,+Mutesa+Rd,+Kampala/@0.3071695,32.5596565,14z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dbc8088ae51ed:0xda1acac01440f031!2m2!1d32.5820395!2d0.3135936!1m5!1m1!1s0x177dbcb95a57c9af:0x56656c38af282afb!2m2!1d32.5525266!2d0.3042221!3e0
- ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B018'15.0%22N+32%C2%B033'10.0%22E/@0.3034258,32.5528277,139m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.3041667!4d32.5527778