Eddwaliro lya Mengo Hospital
Template:Infobox hospital Eddwaliro lya Mengo Hospital, era eritera okuyitibwa Namirembe Hospital, lya bwannanyini nga lya Kkanisa ya Uganda era likozesebwa okutendekeramu abasawo mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekisinga obunene era ekikulu.[1]
We lisangibwa
kyusaEddwaliro lino lisangibwa ku kasozi Namirembe mu Divizoni y'e Lubaga mu bugwanjuba bwa Kampala, kirommita nga 5 okuva mu kibuga wakati era liri bukiikaddyo bw'eddwaliro ekkulu erya Mulago National Referral Hospital.[2]
Emiwendo egiraga Mengo Hospital w'esangibwa giri 0°18'46.0"N, 32°33'30.0"E (Latitude:0.312778; Longitude:32.558333).[3]
Ebirala ebirikwatako
kyusaEddwaliro lya Mengo Hospital lye lisinga obukadde mu Uganda. Lyatandikibwa Albert Ruskin Cook mu 1897. Oluberyeberye, eddwaliro lino lyali lya kibiina kya baminsane ekya Church Missionary Society. Mu kiseera kino, eddwaliro lino lyalimu abaminsane abasawo bangi omwali Algernon Smith ne Leonard Sharp, abaayamba ennyo mu kujjanjaba abantu n'okuligaziya. Mu kiseera kya Ssematalo eyasooka, aba African Medical Corps be baayambangako okuleeta abakozi mu ddwaaliro lino n'okubasasula. Mu 1958, Abaminsane baawaayo eddwaliro lino eri bboodi eyeetengeredde era erina n'abayima.[4]
Olwaleero lino lyafuuka ddwaliro erijjanjaba abantu bangi mu kibuga era lirina ebuntu ebipya binji ebisangibwa mu ddwaliro eriri ku mulembe mu ttundutundu eriri wansi w'eddungu Sahara. Lirimu awali ekyuma kya sikaani awayitibwa Ernest Cook Radiology Department, nga waatuumibwa watyo nga wabbulwa mu Ernest Cook, kizibwe wa Albert Cook, eyaleeta ekyuma kya sikaani ekyasooka mu East Africa mu 1907 n'akiteeka mu Mengo Hospital. Ekifo awali ebyuma bya sikaani kisangibwa mu kizimbe kya Sr. Albert Cook Building. Ekitongole kino kirimu n'ettendekero lya Ernest Cook Ultrasound Research and Education Institute (ECUREI). ECUREI esomesa era n'etikkira abayizi mu Dipuloma ez'enjawulo mu by'ebifaananyi bya sikaani (ultrasonography) kw'ossa okusomesa Diguli mu bifaananyi by'ekisawo. Ettendekero lino likolera wansi w'erya Thomas Jefferson University e Philadelphia, Pennsylvania, mu Amerika. Era likolagana ne Fontys University ey'e Netherlands mu kkoosi zaalyo ze litendeka abayizi.[5]
Essomero ly'abasawo.
kyusaMu Gwokusatu 2016, olupapula lw'amawulire olwa Daily Monitor lwawandiika nti Mengo Hospital yali eteesa ne Yunivasity y'Ekkanisa eya Uganda Christian University, ey'e Mukono okutandikawo ettendekero ly'abasawo eddene ku ddwaliro lino. Kyokka tewali kiseera kigere kyassibwawo mu nteekateeka eno.[6]
Laba na bino
kyusa- Kampala Capital City Authority
- Mengo Palace
- Hospitals in Uganda
- Church of Uganda
Ebijuliziddwa
kyusa- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Mengo+dental+laboratory,+Sir,+Albert+Cook+Rd,+Kampala/Mulago+Hospital,+Kampala/@0.329171,32.5500085,14z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dbca1c0467163:0xff380236eca4dca1!2m2!1d32.5589359!2d0.3125439!1m5!1m1!1s0x177dbb0f51509de1:0xea12334542674d8c!2m2!1d32.5761312!2d0.3380637!3e0
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Mengo+dental+laboratory,+Sir,+Albert+Cook+Rd,+Kampala/Mulago+Hospital,+Kampala/@0.329171,32.5500085,14z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dbca1c0467163:0xff380236eca4dca1!2m2!1d32.5589359!2d0.3125439!1m5!1m1!1s0x177dbb0f51509de1:0xea12334542674d8c!2m2!1d32.5761312!2d0.3380637!3e0
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1301243/achievements-mengo-hospital-mengo-hospital-supplement
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Philadelphia,_Pennsylvania
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Mengo-UCU-plan-joint-medical-school/-/688334/3122984/-/11rluouz/-/index.html
External links
kyusa- Media related to Mengo Hospital at Wikimedia Commons
- Mengo Hospital Homepage