Eddwaliro lya St. Francis e Nkokonjeru

Eddwaliro lya St. Francis Hospital Nkokonjeru, abasinga obungi lyebayita Nkokonjeru Hospital, ddwaaliro lya bwannannyini, nga amagoba gadda mulyo, ery'abantu bonna mu Uganda ..Lino ddwaliro erikulirwa obulabirizi bwaba katuliki e Lugazi . [1]

Ekifo

kyusa

Eddwaliro lino lisangibwa mu tawuni y’e Nkokonjeru, mu Disitulikiti y’e Buikwe, mu Central Region of Uganda. Lisangibwa mu kilometres 50 (31 mi), ku luguudo, mu bugwanjuba bw’amaserengeta g’eddwaliro ly’e Jinja Regional Referral Hospital, mu kibuga Jinja . [2] Kino kiri mu kilometres nga 58 (36 mi), ku luguudo, mu maserengeta g’obuvanjuba bwa Mulago National Referral Hospital, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era nga kino kye kibuga ekisinga obunene mu Uganda. [3] Nkokonjeru esangibwa mu kilometres 27 (17 mi), mu maserengeta gobugwanjuba bea Buikwe, ekifo ekitebe kya disitulikiti we kiri. [4]

Okulambika okutwaliza awamu

kyusa

Eddwaliro lino lya bwananyini nga liweereza abantu b'omukitundu bona era nga amagoba gadda mulyo mwennyini, nga lya Bulabirizi bwa bakatoliki mubulabirizi bw'e Lugazi. Kiddukanyizibwa ba Little Sisters of St. Francis . Liriko ebitanda ebisobola okusuza abalwadde 60. Eddwaliro lino liweereza abantu b’omu byalo abawereraddala nga 200,000, mu Disitulikiti y’e Buikwe, n’ebitundu ebiriraanyewo mu Disitulikiti y’e Mukono .

Eddwaliro lino liri mu kitongole kya Uganda Catholic Medical Bureau. Lijjanjaba abalwadde abatali kubitanda 13,381ku kigero buli mwaka ate buli mwaka eyingiza abalwadde abawera 2,061. Bamaama abazaala buli mwaka muddwaliro lino Bali 657, ng’abaana abazaalibwa nga balongiseddwa bali 23.3 ku buli 100. Omuwendo gw’abantu ababeera ku bitanda byayo guli wakati wa bitundu 26.7 ku buli 100.

Ebyafaayo

kyusa

Mu 1926, Maama Kevin-Kearney yatandikawo eddwaaliro eryakulaakulana ne lifuuka eddwaaliro eririwo kati. Mu ntandikwa, essira lyali ku kusomesa abantu b’omu kitundu ku bulamu bwa bamaama n’abaana. Mu 1932, essomero ly'abasawo abasookerwako (nurses) lyatandikibwawo. Mu 1959, aba Little Sisters of St. Francis baatwala obuvunaanyizibw’okuddukanya ekifo ekizaalirwamu n’eddwaliro ekyaliwo mu kiseera ekyo. Mu 1981 lyatongozebwa nga eddwaliro mu bujjuvu. [5]

Laba ne

kyusa

Obukatoliki bwa Roma mu Uganda

Ebiwandiiko ebikozesebwa

kyusa
  1. https://www.ucmb.co.ug/hospital/st-francis-hospital-nkokonjeru/
  2. https://www.google.com/maps/dir/Nkokonjeru/Jinja+Regional+Referral+Hospital,+Rotary+Rd,+Jinja/@0.3261573,32.9248381,10.25z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177de7f776190e1f:0x1d3b14b968fb49a2!2m2!1d32.910938!2d0.249508!1m5!1m1!1s0x177e7b9ad9e6532b:0x168afcf76f804f0a!2m2!1d33.2053335!2d0.4301143!3e0
  3. https://www.google.com/maps/dir/Nkokonjeru/Mulago+Hospital,+Kampala/@0.3690624,32.4966321,8.75z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177de7f776190e1f:0x1d3b14b968fb49a2!2m2!1d32.910938!2d0.249508!1m5!1m1!1s0x177dbb0f51509de1:0xea12334542674d8c!2m2!1d32.5761312!2d0.3380637!3e0
  4. https://www.google.com/maps/dir/Nkokonjeru/Buikwe/@0.2553849,32.9554295,12z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177de7f776190e1f:0x1d3b14b968fb49a2!2m2!1d32.910938!2d0.249508!1m5!1m1!1s0x177dded1f0932639:0xc64bd141115f53b3!2m2!1d32.9888319!2d0.3144046!3e0
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2022-03-28. Retrieved 2024-09-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebiyungo eby’ebweru

kyusa