Edigold Monday
Edigold Monday, munayuganda omubalirizi w'ebitabo, mukyala omusuubuzi, omukungu wa bbanka, era munabyanjigiriza. Ye mukiise w'ekitongole ekya Sparkassen-Finanzgruppe's foundation for international cooperation (German: .V.) mu ggwanga, okuva mu Ogwekkuminebiri 2018. Emabegako, yaweereza ng'akulira entambuza y'emirimu mu kitongole ekya Commercial Bank of Africa (Rwanda), bbanka y'eby'obusuubuzi erina layisensi.
Nga kino tekinnabaawo, yakolanga ng'akulira entambuza y'emirimu mu kitongole ekya Bank of Africa (Uganda). Monday ye munayuganda omukyala eyasooka okubeera mu kifo ky'akulira entambuza y'emirimu mu kitongole era avunaanyizibwa ku kukuuma erinya ly'ekitongole eya BOA-Uganda mu bbanka y'eby'obusuubuzi mu byafaayo by'eggwanga.
Okusoma
kyusaMonday yayingizibwa mu Makerere University mu 1984, n'amaliriza mu 1987, ng'alina diguli esooka mu Arts mu byenfuna n'ebyenjigiriza. Ye mubalirizi w'ebitabo omukakafu eyakakasibwa Association of Chartered Certificate Accountants. Diguli ye ey'okubiri eya Business Administration, yagifuna okuva mu Heriot-Watt University. Yeetabye mu masomero amalala mangi ag'eby'obusuubuzi, ag'obukulembeze n'eby'okutereka sente mu bank, okusinziira ku bimukwatako ku yintaneeti.
Emirimu
kyusaMonday yafuuka munnabbanka mu 1994, ng'atandika ng'omubalirizi w'ebitabo mu Centenary Bank. Emyaka bwe gyagenda giyitawo, yagenda mu maaso n'okufuuka Omubalirirzi w'ebitabo omukulu mu Centenary Bank mu 2001. Mu 2004 yaleka Centenary neyeegatta ku Uganda Wildlife Authority, ng'akulira eby'ensimbi n'obukulembeze, okuva mu Ogwomukaaga 2004 okutuuka mu Ogusooka 2007.
Oluvannyuma yeegatta ku Commercial Microfinance (CMF), ekitongole kya Tier II Microfinance Institution, n'atuuka ku mutendera gwa senkulu w'ekitongole. Industrial and General Insurance Company Plc. of Nigeria bwe yafuna CMF mu 2008, n'eyita ekitongole Global Trust Bank, Monday yaweerezaako ng'avunaanyizibwa ku ntambula y'emirimu ow'akaseera nga tannavaayo kwegatta ku BOA-Uganda. Mu 2009, yalondebwa okuweereza ng'avunaanyizibwa ku ntambula y'emirimu mu kitongole ekya BOA-Uganda. Yakakasibwa u kifo ekyo mu Ogwekkuminebiri 2010, ekifo kye yamala ng'akyaliko okutuusa lwe yaleka omulimu mu Ogwokuna 2014.
Okuva nga 30 Ogwomukaaga 2014, Monday yakolanga ng'avunaanyizibwa ku ntambula y'emirimu mu kitongole ekya Crane Bank Rwanda Limited. Commercial Bank of Africa (Rwanda) bwe yagula Crane Bank Rwanda, nga 21 Ogwokubiri 2018, Edigold Monday yafuuka avunaanyizibwa ku ntambula y'emirimu bbanka empya.
Mu Ogw'omusanvu 2018, CBA Rwanda yalonda Lina Mukashyaka Higiro, omunarwanda ng'avunaanyizibwa ku kukuuma erinnya ly'ekitongole, mu kifo kya Edigold Monday.
Laba era
kyusaEbyawandiikibwa
kyusa