Ekibumba (Liver) kirina omulimu ogwa maanyi okukola ku biriisa ebikamulwa mu kikamulabiriisa. Eky’okulabirako , obutaffaali bw’ekibumba bujjamu ggulukoosi ayitiridde obunji okuva mu musaayi ne kimufuula polima(polymer) eyitibwa girayikojeni(glycogen) okuterekebwa.

Ekibumba

Ekibumba era kikola mu kutereeza kwa aminasidi (amino acid metabolism). Ekibumba kikyusa aminasidi (amino acids) ezimu okuzifuula ebipooli(compounds) ebiyinza okukozesebwa mu manyikasoboza aga mutereezabulamu(energy metabolism). Mu kukola kino ekibumba kijja mu mubiri ebibinja bya amino okuva mu aminasidi ne kikozesa ebibinja bya amino okukola olusulooji(urea). Olusulooji(urea) lujjibwa mu mubiri nga lufulumira mu musulo. Amasavu(fats) gakolebwaako okudda mu namunigina za kaboni bbiri ( two-carbon units) ezisobola okukozesebwa mu mutereeza bulamu ow’amaanyikasoboza(energy metabolism).

Ekibumba era kitereka vitamiini ne minero, kikola ebizimbamubiri bingi eby’omumusaayi(blood proteins),kyegattisa kolesitulo( synthesizes cholesterol) ne kikola bire okukamula ebiriisa by’amasavu mu mmere.

Bivudde mu kitabo Essomabiramu, ekya Muwanga