Ekifulumyakazambi (Excretion).

KidneyAnatomy

Ensengekera y'ekifulumyakazambi(the excretory system) nsengekera ya bulamu ey’ekimpowooze ejja ebitetaagisa oba ebyobulabe mu mubiri gw’ekiramu . Ensengekera ya kifulumyakazambi y’evunaanyizibwa okujja kazambi(waste products) ava mu mutereezabulamu( metabolism) awamu n’ebitetaagisa ebirala mu kikula kya kakulukusi(omusulo oba entuuyo) n’omukka.

Ebitundu by’omubiri ebiramu ebisinga bifulumya kazambi wakati mu mutereezabulamu(metabolism) aba agenda mu maaso mu mubiri, ekintu ekyetaagisa ensengekera ya kifulumyakazambi ennambulukufu mu mubiri. Okusinziira ku Muwanga Charles , ensengekera y'ekifulumyakazambi efulumya kazambi ng’omusulo(urine) oba obubi(feaces),okunokoolayo ebimu.Ebitundu by’omubiri ebikola ensengekera y'ekifulumya kazambi mulimu:

(i) Olususu

           (Skin)

Olususu lulimu obutuli obufulumiramu entuuyo ezirimu kazambi ow’engeri emu oba endala. Kyokka olw’okuba okutuyana kuyamba okufuga tempulikya z’omubiri kuyinza era okubalirwa mu kuvulula(secretion). Wano olususu luba lweyisizza nga ekifulumyamazzi(perspiration) mu bimera.

(ii) Amawuggwe

              (Lungs).
Amawuggwe gaba gafulunya omukka ogwa kazambi(gaseous wastes) okuva mu kiyitiro ky’omusaayi(blood stream)  ng’ekikolwa eky'ekifulumyakazambi ow'omukka(respiration).

(iii) Ensigo

              (Kidney)

Olumu kazambi omungi akalabula xxxxxxx ng’obuyinja . Bwe bukula buleeta okulumizibwa era buyinza okwetaaga okulongoosebwa yadde ng’obumu ku buyinja buno buba butono ekimala okusobola okufulumizibwa mu musulo.

xxxx birina emigaso mingi mu mubiri omuli n’ okufulumya kazambi wa mutereezabulamu nga omusulo, wamonia(ammonia), ne asidi za kasulo(uric acids)

(iv) Okupita

            (defecation).

Ensolo enamu zifulumya kazambi owa ssolido , olutabu oba owa kakulukusi(bbi) okuva mu muyitiro gwa kikolaku mmere( digestive tract) okuyita mu mufulumya(anus) mu kikolwa ekiyitibwa okupita (defecation).

(v) Omiyitiro gy’omusulo ogusooka

                               (Ureter) 

Mu buzimbe bw’omuntu( human anatomy), emiyitiro gy’omusulo mikusese gya miwuula egisindika omusulo(urine) okuva mu xxxxx(kidneys) okudda mu kawago( urinary bladder).

(vi) Akawago (Urinary Bladder)

Akawago( urinary bladder) kye kitundu ky’omubiri ekikungaanya omusulo ogubagufulumiziddwa ebiwowoolo(kidneys) nga tegunafukwa .

(vii) Omuyitiro gw’omusulo ogusembayo

                           (Urethra).

Mu buzimbe bw’omubiri gw’omuntu( anatomy), omuyitiro gw’omusulo ogusembayo(the urethra) guba mukusese ogugatta akawago n’awafulumya omusulo awayitibwa “akasolo”.

Okukola omusulo kitandika na musaayi nga guyita mu alitaali Arteries) ez’enjawulo okudda mu kapiraali(capirlaries) eziyitibwa golomero(glomerulus), okutuuka ku kapisu ya bboma ( Bowman's capsule).

Kapisu ya bawama ejja omusaayi mu bigulimu naddala emmere ne kazambi . Bino bwe bimala okujjibwaamu, omusaayi guba gukomawo okufuna ebiriisa(food nutrients) ebirala bye gwetaaga. Kazambi olwo agenda ku kayitiro w’akunkanira (collecting duct), okudda ku peruva  ( renal pervis), n’okutuuka ku muyitiro gw’omusulo ogusooka(ureter), okuva awo negufulumizibwa  okuva mu mubiri okuyita mu muyitiro gw’omusulo ogusembayo.