Ekigoberero kya Akimeddezi (the Archimedes' Principle)

Archimede

Kyekuusiza ku mpalirizo eziteekebwa ebitengejjeso ku bintu ebiba byetoloolodde ebitengejjeso(fuids).Empalirizo eno eba eteelkeddwa ku kintu ekendeeza obuzito bwakyo nga kiri mu kitengejjeso, ka kibe kikulukusi oba ggaasi. Ekigoberero kya Akimeddezi kye ki ?

Buli lw’obuuzibwa ki ekireetera eryato okutengejja , ansa eba “ntengejjeso”('buoyancy).

Empalirizo y’ekitengejjo(Buoyant force) eba mpalirizo y’ekitengejjeso esindika ekintu waggulu .

Lumu Akimeeddezi yayingira mu bbaafu erimu amazzi n’akizuula nti amazzi agaali mu baafu gaalinnya.Yakizuula nti gye yakoma okuyingiza omubiri gwe mu bbaafu y’amazzi, amazzi gye gaakoma okulinnya.

Kino kitegeeza nti obubangirivu (volume) bw’omubiri gwe gwe yayingiza mu bbaafu bwali bulina okuseetula(to displace) amazzi asobola okugya mu baafu .N’olwekyo ekiseetuko(displacement) mu mbeera eno kibaawo nga ekintu kiseetula ekitengejjeso (Fuid) kisobole okubugaana obubangirivu ekitengejjeso mwe kibadde.

Emmeeri

Emmeerei ennwanyi ekolebwa mu sitiiru ate nga okimanyi bulungi nti sitiiru tatengejja .Yo emmeeri ey sitiiru esobola etya okutengejja .

Naye okiraba nti emmeeri ebaamu obubangirivu obukalu (empty volume) . Singa obubangirivu buno obujjuzaamazzi, emmeeri eba ezitowa nnyo okusingawo .Mu butuufu eba ezitowa nga emmeeri yonna wamu .

Obuzito bw’amazzi agajjuza emmeeri eno buba bwe bumu b’emmeeri yonna ‘ ekitegeeza nti amazzi gateeka empalirizo ey’ekitengejjo ( buoyant force ) n’empalirizo eyo yonna .Kino kye kireetera emmeeri eya sitiiru okutengejja . Kyesatuza ya AyisiSinga oba oteeka kyesatuza ya ayisi mu giraasi y’amazzi, kyesatuza etengejja kubanga amazzi gasinga ayisi obukwafuwavu(water is more dense than ice).

Ekigoberero kya Akimeddezi n’olwekyo kigamba nti:

Ekintu kynna ekitengejja kiseetula obuzito bwakyo bwennyini obw’ekitengejjeso (Any floating object displaces its own weight of fluid ).

Ku bintu ebitengejja oba ebibbidde ekitundu mu ggaasi n’ebitengejjeso , ekigoberero kya akimedezi kiyinza okunnyonnyolwa n’empalirizo(forces) :

Ekintu ekibbidde nu mazzi kyonna oba nga kibbidde kitundu , kiba kitengejjebwa okudda waggulu(is buoyed up ) olw’empalirizo eyenkana obuzito bw’entengejjeso eseetuddwa ekintu .

Ekintu okubbira obubangirivu bw’ekitengejjeso ekiseetuddwa buba bwenkana obubangirivu bw ‘ekintu kyennini .Bya Muwanga