Ekikula(species)
Gakuweebwa Muwanga !!
Ekikula oba Sipiisa. Weetegereze "ekikula"(species) teba "nkula(shape, form, charachter).
"Ekikula" eba sipiisa ya kiramu oba katugambe nti sipiisa kiba “kikula” kya kiramu ekiba mu lubu lumu era ng’ekikula kino kyezaalamu kyokka. Eky’okulabirako ekikula ky’ekinyonyi tekisobola kuzaala mu kikula kya mmese.
Ekikula ye sipiisa(species) y’ekiramu. Mu essomabiramu(biologia) , ekikula(sitegeeza “nkula”) y’emu ku namunigina (units)omusengekebwa ebiramu mu nsengeka y’ebiramu ( taxonomic rank.) . Sipiisa oba Ekikula kisonjolwa nga ekibinja ky’ebiramu ebisobola okwegatta n’okwezaalamu ebito byakyo.
Kyokk ne mu sipiisa oba buli kikula mubaamu . ebikula ebya wansi(ubspecies). Ebikula ebirabika okuba n’obujajja obumu biteekebwa mu kiti kimu ekiyitibwa ekika(genus).Buli kikula kisobola okuba mu kika kimu kyokka era kino kiyinza okukakasibwa ne DNA yabyo oba endabika endala. Mu bimera okufaanagana mu ndabika y’ebimuli kikusobozesa okumanya ebimera eby’ekika ekimu. Ku nsi kuliko ebitonde ebiramu bingi ebisengekeddwa mu kiyitibwa spiisa oba ebikula eby’enjawulo. Ekikula kiyinza okuba sipiisa y’ekiramu kyonna omuli ensolo, ekimera, bakitiriya, n’ebirala.
Twandirowoozezza nti buli kibinja kya kiramu ekirina ekikula ekimu era nga kyezaalamu kyokka, tekisobola kuzaala mu kirala, kye kiyitibwa sipiisa oba ekikula (spieces) kyokka sipiisa emu eyinza okubaamu ebika eby’enjawulo ebitasobola kwezalamu.
Omuntu naye nsolo (animal) kyokka si “kisolo”(uninterligent animal); ensolo etalina bwakalimagezi(interligence) nga bwa muntu eyitibwa kisolo . Si buli kikula nti nsolo; ebikula ebimu bimera.
Ekikula kiba kigazi okusinga ekika .Kino kitegeeza nti ekikula ekimu kiyinza okubaamu ebika bingi:
• Ekyokulabirako ekikula ky’ekinyonyi kirimu ebika by’ebinyonyi bya njawulo nga sekanyolya, ngaali, endegeya, enkusu, kamunye, maaya, enkoko, ssekokko, embaata, n’ebirala bingi.
• Ate mu kikula kya kappa mulimu engo, empologoma, ne pusi.
• Ekikula kya goonya kirimu eminya, nawolovu, amakonkome.
Kyoka ekikula ky’omuntu kya njawulo. Omuntu nsolo magulu abiri (bipedal), era ensolo etambula nga yesimbye jjaali. Abamu bagamba nti ekikula ky’omuntu nakyo kirina ebika bingi. Kino si kituufu, ekikula ky’omuntu kya kika kimu kyokka, wabula enjawulo eri mu langi ya lususu na nnimi awamu n’ebyobuwangwa ebyenjawulo. Abantu aba langi n’obuwangwa obw’enjawulo basobola okwezaalamu, ekintu ekitasoboka mu nsolo eza sipiisa endala ezirimu ebika ebyenjawulo (ebitakwatagana).