Ekikuubagano(Fiction)
Gakuweebwa Muwanga !
Ekikuubagano (Friction) oba Okukuubagana eba mpalirizo (force) ezza emabega omugendo gw’ekintu ekiyita ku ngulu kw’ekirala (sliding object).
Buli awali ebintu ebikwatagana wabaawo ekikuubagano (friction) wakati wabyo. Emparirizo z’okukukuubagana kuno zikolera ku njuyi za kikontana (opposite directions.
Motoka bw’eba yetaaga okuyimirira ku bitaala ekigisobozesa okukendeeza emisinde kiba kikuubagano wakati w’ebiziiza ne namuziga. Bw’oba okkirira ku kakubo akakaserengeto n’oyagala oyimirire mangu, oba osobola okuyimirira olw’ekikuubagano (okukuubagana) wakati w’engatto yo n’ettaka. Bwe bayiwa amazzi mu kakubo kano osanga obuzibu okuyimiria kubanga amazzi gakendeezezza ekikuubagano wakati w’engatto zo n’ettaka.
Buli lw’okendeeza embeera ey’akaseerezi ekikuubagano kyeyongera. Eno y’ensonga lwaki empiira gy’emotoka oba engatto zibaamu ebikukunalo (protrusion) ng’obutonnyeze oba enkoloboze ezikukunadde oba eziyiseeemu olw’ekigendererwa eky’okwongeza ekikuubagano wakati w’omupiira gw’ekidduka oba engatto n’ettaka.
7.1 Ekikuubagano mu ggaasi
Ekikuubagano kibeerawo mu bintu bya nkalubo (solid objects) kyokka mu kakulukusi ne ggaasi ofuna ekigugubiro (resistance) eri omugendo. Ekigugubiro tekibaamu safeesi za kaseerezi nga mu kikuubagano naye ofuna okugugubira ng’okwo kw’ofuna nga ogezaako okuyita mu bantu abangi mu ngeri ey’okwewagaanya. Wabaawo engeri y’okutomeragana awatali kuserengeta. Ggaasi bw’eba empewo, kino kiyitibwa ekigugubiro ky’empewo (air resitance). Bw’oba oli mu kizungirizi nga oddamu okuyingira nampewo, entobo y’ekizungirizi efuna okwookya okw’amaanyi. Okutomeragana okubeerawo wakati wa molekyu z’empewo eziba zinyigirizibwa ekizungirizi, kuleetera empewo n’ekizungirizi kyennyini okwokya. Tempulikya ku ngulu kw’ekizungirizi nayo eba mbugumu naye obutatuuka ku tempulikya za ku ntobo y’ekizungirizi.
Ekikuubagano mu Bikulukusi (Friction in Liquids)
Yadde nga ebikulukusi bireetera ebintu ebiba bibiyitamu okugugubira (to get resistence resistence), kyokka era bireetawo safeesi okuseerera ne bikakkanya ekikuubagano (friction). Ebikulukusi byeveera nnyo, ekitegeeza nti biba tebikyali bikwatufu nnyo (become less viscous) buli lwe byeyongera okufuna ebbugumu. Kino kiringa obukwatufu (viscocity) bwa woyiro ateekebwa mu motoka. Yingini z’emotoka zirina ebitundu ebitambula bingi era bino bikwatagana nga bitambula.
Okukwatagana kuno kuleetawo ekikuubagano ne kiviirako okubuguumirira (to heat). Woyiro bw’ateekebwa mu yingini y’emotoka, akwata ku safeesi zonna, n’ayamba okukkakkanya ekikuubagano n’okuyulika mu bitundu bya yingini. Kino kitegeeza nti yingini ebuguma ennyo eba yetaaga woyiro omukwatufu okusingawo (more viscous oil) asobola okukwata obulungi ku safeesi. Okupima ekikuubagano
Ebipimo by’ekikuubagano (measures of friction) bisinziira ku kika kya matiiriyo eziba zikwatagana. Enkokoto ku nkokoto erina ekigerageranyo ky’ekikuubagano ekiri waggulu ennyo (high coefficient of friction). Ekigerageranyo ky’ekikuubagano (coefficient of friction) kiba kipimo kya bwangu obubeerawo nga ekintu ekimu kiyita ku kirala. Bwe wabaawo ekikuubagano ekingi, kiba kitegeeza nti waliwo okukuubagana kwa maanyi wakati wa matiiriyo eziyiting’ana nga zikwataganye. Enkokoto ku nkokoto erina akakuubagano ka maanyi. Obadde okimanyi mu nnyingo zo mulimu okukuubagana kutono nnyo ensonga lwaki ebiramu bitambula bukwakku?