Ekikwakkulizo (Conditional statement)
Ekikwakkulizo nakyo kika kya kigambululo .Mu biwandiiko bye eby'enzimba y'emiramwa gya sayansi mu Luganda , sekalowooleza Muwanga agamba nti ekikwakkulizo (conditional statement) P ne Q bwe biba bigambululo, ekigambululo ekizibuwavu(compound statement) kiwandiikibwa mu mbeera :
"Singa P , olwo Q"(If P then Q)
kiyitibwa kikwakkulizo.
Weetegereze :
Ekikwakkulizo kiva mu bigambo "ekigambululo eky'akakwakkulizo" (Conditional statement)