Ekikyusatomu (atomic reaction)

Template:Charles Muwanga

ekikyusatomu

Ekikyusatomu (atomic reaction) kiva mu kugattika(blending) ebigambo by'Oluganda "ekikolwa ekikyusa atomu".

Ekikyusatomu (atomic reaction) kye kiviirako "ekikyusabuziba"(chemical reaction. Mu butuufu ekikyusatomu kiba kikyusabuziba , ekitegeeza ekikolwa ekiviirako enkyukakyuka ssinziggu eziviira ddala mu buziba.

Ekikyusatomu oba ekikyusabuziba kye ki?

Ssinga amazzi kakulukusi gabugumizibwa ku muliro gasigala gakyaali mazzi era n’amazzi agekuttemu ekitole ky’omuzira gaba gakyaali mazzi. Okugasaanuusa, okugabugumya oba okugakwaasa ekitole ky’omuzira okuyita mu kubugumya oba okunnyogoza kireetawo nkyuukakyuuka za kungulu so si nkyukakyuka mu biziba bwa atomu.

Enkyukakyuka ez’obuziba ezisinziira mu buziba bwa nabuzimbe(the atoms of matter) ziva ku kikyusabuziba ekiba kigenze mu maaso (ekibaddewo)wakati wa atomu eza erementi ez’enjawulo.

Ne mu sebisitansi oba nabuzimbe, mu biramu , wabaawo ekikyusabuziba(chemical reaction) olumu kwe tutalabirawo na maaso gaffe oba okukuwulira n’amatu gaffe nga kugenda mu maaso.

Waliwo enkyukakyuka ezo ku kungulu (physical reaction) n’enkukakyyuka ezibeerawo ku mutendera gwa atomu.   Ekikyusatomu(atomic reaction) kye kiyitibwa ekikyusabuziba (chemical reaction).

Mu kukyuka okwo ku ngulu tewabaawo kukyuusibwa kuviira ddala mu buziba wabula ekibaawo kuba kukyuka mu mbeera ya kintu nga  okuva mkulukusi okudda mu ggaasi n’okudda mu nkalubo olw’okubugumizibwa naye nga tewali kukyusibwa kwa kusibuka mu buziba

Ekikyusabuziba kitegeeza nti ekintu kikomekkereza kifuseemu ekirala , endagakintu endala, erina obuziba obw'enjawulo okuva kw'eyo ebaddewo.

Ekikyusabuziba kulimu okwabuluza oba okusengeka obujja enkwaso (bonds) ezikuumira awamu obutinniinya bwa atomu.

Ne mu mibiri gyaffe munda mubaamu ekikyusabuziba ekiba kigenda mu maaso yadde ebiseera ebisinga ffe tuwulira ng’awataliiwo bigenda mu maaso mu mibiri gyaffe.

Ekikyusabuziba ekiba kigenda mu maaso kireetawo okukyamuukirira n’ekiddirira kwe kukyuka kw’embeera y’ekintu okusibuka mu buziba bwakyo.

Bw’oteeka emmere ku kyoto, wabaawo okwesera oba okutokota era ekivaamu emmere eno ekyuka ng’emaze okuggya n’eba ng’esobola okukozesebwa omubiri mu bwangu ng’ebadde eriiriddwa. Amazzi bwe geesera gayinza okuddamu ne gawola ne gasigala nga bwe gabeera bulijjo kyokka ebintu ebimu ng’emmere bw’obifumba bikyukira ddala era ne biba nga tebisobola kuddayo kubeera mu mbeera ya bubisi.

Mu sayansi, bwe wabaawo ekikyusatomu (atomic reaction) wakati w’ebintu ebiteereddwa awamu, kino kikolwa ekiviiraddala mu buziba bw'ekintu ekiyitibwa “ekikyusabuziba ” (Chemical reaction).

Ekikyusabuziba kirimu okukola oba okukutula  enkwaso (bonds)  eziri wakati wa atomu oba obuziba obw'enjawulo. Oluvannyuma lw’ekikyusabuziba , omugatte gwa namba za atomu gusigala gwe gumu, kyokka molekyu ziba mpya nga za njawulo kw’ezo ezibaddewo.

Ekikyusabuziba kibaamu okukyuka kw’amasoboza (“energy”). Amasoboza ge gasobozesa enkyukakyuka zonna okubaawo. Amasoboza galimu ebika bino:

(a)   Amasoboza amatereke(Stored enrgy). Gano g’amasoboza amatereke.

(b)   Amasoboza agali mu mugendo(Kinetic energy). Gano masoboza   agabeera mu bintu ebiri mu mu kuva .

(c)   Amasoboza ag’enkyusabuziba(Chemical energy). Gano masoboza agaba gaterekeddwa awatali kukozesebwa.

Amasoboza gayinza  okukyusibwa okuva mu kika ekimu okudda mu kirala. Mu kikolwa kino wabaawo okufulumya ebbugumu.

Atomu oba molekyu bwe zegatta awamu okuyita mu nkwaso z'obuziba(chemical bonds), amasoboza  gaba getaagisa okukola enkwaso(bond)  era ne gatalekebwa mu nkwaso. Ekika ky’ekikyusabuziba ’kino kiyingiza amasoboza. Enkwaso(chemical bond) bw’ekutulwa amasoboza ne gafulumizibwa.