Template:Charles Muwanga

"Ekimuli" (Flower)

Ekimuli mwe muva ensigo z’ebimera. Birina ebitundu eby’enjawulo. Ekitundu ekikazi kye kiyitibwa "nakimuli (pistil), ekiggwayo nti “nakazaala w’ekimuli”. Nakimuli kitera kusangibwa mu makkati ga kimuli era kikolebwa ebitundu bisatu omuli: Mutegabuwakiso (stigma), siteero (style) ne walugi oba mukuumansigo(ovary). Mutegabuwakiso ke katundu akakwatira waggulu wa nakimuli. “Kakwataganye” ne siteero eringa olupiira. Siteero yetuuka ku walugi omubeera obutaffaali bw’amagi g’ekikazi agayitibwa mufuukansigo(ovules).

Ebitundu ebisajja biyitibwa "sekimuli" (stamens), era bitera okuba nga byebulungudde nakimuli. Obusajja bw’ekimuli buliko ebitundu bibiri: sekizaalirizi n’obuwaniriro. Sekizaalizi kye kireeta obuwakisa (pollen) nga bw’ebutaffali bw’ kizadde obuzaala ate obuwaniriro bwe buwanirira sekizaalizi okumukuumira waggulu. Mu kiseera eky’okuwakisa (fertilization), obuwakisa (pollen) bugwa ku sigema, olwo siteero eringa olupiira oludda wansi n’eyingira mu walugi (ovary). Obutaffaali bw’ekitundu ekisajja, obuwakisa bukka wansi mu siteero olwo ne bukwatagana ne walugi (ovules) okugiwakisa. Mukuumansigo ewakisiddwa y’efuuka ensigo ate mufuukansigo (ovules) n’efuuka ekibala.

Ekitundu ekiyitibwa musikiriza (Petals) nakyo kirina omugaso gw’obutonde bw’ekimuli. Obulungi bwakyo buyamba okusikiriza ebiwuka ebitambuza obuwakiso (pollen) okuva ku kizadde (ekisajja), gamba nga enjuki, ebiwojjolo n’ebinyila. Ate mwetikka (sepals) mu ntobo kye kitundu ekiyamba okuwanirira ekimuli.

Ekibala ye walugi eba eyengedde omubeera ensigo. Okuwakisa nga kuwedde, walugi ezimbulukuka olwo n’efuuka ngonderevu oba nkalubo okukuuma ensigo eziba ziri mu kukula. Ebintu bingi bye tulowooza nti nva ndiirwa mu butuufu biba bibala; eky’okulabilako ennyaanya, kyukamba, ebijanjaalo, ensunjju, entula, ne kawo.

Buli kibala kiba kimera kitono oba embuliyo (embryo) ekirimu ebikoola, enduli n’emirandila nga birinze ebyetaagisa okumeruka n’okukula. Ebimera byeyambisa nsigo zaabyo okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala okuyita mu mbuyaga (mpewo), amazzi oba ebisolo ebiba binoonya omubisi mu kimuli.