Ekirwadde kya Cholera
Ekirwadde kya Cholera (Kkolera) abamu bakiyita Ekinyaga. Ekinyaga, ekimanyiddwa ennyo nga Kolera (Cholera), kirwadde ekikwata mu byenda nga kireetebwa obuwuka obuyitibwa Bacterium vibrio cholerae.[1]
Ekirwadde kino kigwa bugwi, era kirabikira mu bbanga eriri wakati w'ekitundu ky'olunaku n'ennaku ettaano nga kimaze okukwata omuntu. Ekirwadde kya Cholera kikosa bantu bokka; tekikwata bisolo birala, era omuntu afunye ekirwadde kino n'atajjanjabibwa, omubiri gwe guyinza okuvaamu liita z'amazzi eziri wakati w'ekkumi okutuuka kw'abiri (10-20) mu lunaku lumu! N'ekirala, singa Cholera ajja n'amaanyi ate n'atajjanjabwa ,asobola okutta abalwadde ebitundu ataano ku buli kikumi (50/100).
Obubonero bw'ekirwadde kya Cholera
kyusa- Okuddukana obutasalako (embiro); kuno kumalamu omuntu amazzi mu mubiri mu kabanga katono nnyo era n'omubiri ne gunafuwa.
- Okusesema n'okulumizibwa mu nnyingo z'omubiri.
Engeri Cholera gy'akwatamu
kyusa- Okusookera ddala ekirwadde kino kisaasaanyizizibwa mu mazzi agatali mayonjo (amacaafu) era n'emmere enkyafu, naddala nga bikwataganyeeko n'obubi bw'omuntu mu mbeera yonna ate nga n’obubi obwo bulimu obuwuka bw’Ekinyaga.
- Ebyokulya ebiva mu nnyanja/mu mazzi, agakwatiddwa obuwuka bwa Cholera, kyokka ne bitafumbibwa kuggya bulungi.
- Singa ekiddukano oba ebisesemye by'oyo alwadde Ekinyaga bigenda mu mazzi ate abalamu (abatabulina) ne babikozesa, olwo nabwo bakwatibwa Ekinyaga.
Okwewala Ekinyaga
kyusa- Okufumbira ddala ebyo byonna ebiyinza okuba nga byakwataganyeeko n'obubi bw'omulwadde oba byonna by'akozesezzaako, gamba ng'engoye ze, eby'oku buliri n'ebirala. Era engalo ezikutte ku mulwadde oba ebyo by'akozesa ziyina okutukuzibwa bulungi nga tukozesa eddagala eritta obuwuka obuleeta Ekinyaga gamba nga chlorine.
- Okutabula eddagala eritta obuwuka bw’Ekinyaga mw'ebyo omulwadde by'afulumya, gamba nga by'asesemye ne by'addukanye, bireme kwegatta mu mazzi gonna yadde ago aga wansi mu ttaka.
- Okulabula abantu, naddala awali oba awateeberezebwa nti waliwo amazzi agalimu obuwuka bw’Ekinyaga n'okubabuulira eky'okukola. Okugeza okufumba buli mazzi abantu abali mu kitundu ekyo ge bakozesa oba okuteekamu eddagala eritta obuwuka obwo bwe kiba kisoboka.
- Okufumba amazzi oba okugassaamu eddagala eritta obuwuka. Okusinga ennyo amazzi ag’okunywa galina okwegenderezebwa.
- Kisaana era okunaaba engalo ne ssabbuuni oba n'evvu ng'ovudde mu kaabuyonjo.
- Okutwaliza awamu, ekirwadde ky’EKinyaga kisobolera ddala okwewalibwa kasita tuba nga tukanyizza obuyonjo ku buli kimu kye tukozesa.
Ekinyaga mu Uganda
kyusaEkinyaga mu Uganda kitogomya nnyo abantu. Kisinga kuyiikiriza bantu abali mu bitundu eby'ebibuga. Kyakusaalirwa nga mu bitundu by'ebibuga bya Uganda obukyafu mwe businga obungi. Kiri bwe kityo kubanga abantu bakwata bugi ebisaaniiko era n'empitambi (obubi) bamala gabusuulasuula. Abalala balya ebyokulya ebicaafu n'okunywa amazzi agatali mafumbe. Abamu amazzi baganywa tebamanyi nga banywa ago agatundibwa mu buveera wamu n'obutunda obukamule ng'ababitegese bamala gakozesa mazzi ge basanze.
Ekituufu kiri nti ekirwadde kino kisobola okwewalibwa bwe tuba nga obuyonjo tubukwasizza maanyi.