Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo by'omu nsiko mu Uganda
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo by'omu nsiko mu Uganda (UWA) kitongole eky'etengeredde songa ky'atandikibwawo Gavumenti ya Uganda ekiluubirira okukuuma, okukwasaganya n'okubaga amateeka agagobererwa ku bisolo by'omu nsiko. "UWA erina obuyinza okukwasaganya ebisolo by'omu nsiko saako n'okulaba emirimu egikwasaganyizibwa mu Uganda, mu nda ne mu bitundu ebikuumibwa".[1] Okuva mu Gwokuna 2020, UWA ekwasaganya amakuumiro g'ebisolo kkumi, awateekebwatekebwa okukuuma ebisolo kkumi na bibiri, n'awakuumirwa ebisolo okubitangira okutuukako obuzibu kkumi na bina. UWA era elungamya ebifo by'ebisolo by'omu nsiko bitaano. Kikulemberwa akakiiko akaalondebwa Minisita ow'ebyobulambuzi, ebisolo by'omu nsiko n'ebintu eby'edda, nga ye Tom Butime.[1][2]
Endagiriro w'ekisangibwa
kyusaEkitebe kya UWA ekikulu kisangibwa ku poloti. 7, oluguudo lwa Kira, ku muliraano gwa Kamwookya, mu Divizoni y'omumasekkati g'ekibuga kya Uganda ekikulu Kampala.[3] Ekizimbe ky'ekitebe ekikulu ekya UWA kiriranyiddwa Ekkadiyizo lya Uganda mu Buggwanjuba ne British High Commission mu Buvanjuba, ku luguudo lwa Kira. Ebibalo by'akyo biri:0°20'10.0"N, 32°35'01.0"E (Obukiika:0.336111, Obuwanvu:32.583611).[4]
Obukulembeze
kyusaAkakiiko akakulembera akeesigikka
kyusaEkitongole kino kikulemberwa abantu mwenda abali ku kakiiko k'abakulembeze abatasasulwa, akaalondebwa Minisita ow'eby'obulambuzi, ebisolo by'omu nsiko n'ebintu eby'edda. Akakiiko akaliko kalondebwa mu Gwokusatu 2018, nga kakubirizibwa Benjamin Otto, eyali omuwandiisi mu Minisitule y'eby'obulambuzi. Akakiiko kaweereza okumala emyaka esatu. Olukangagga wansi lw'elukalala lw'aba mmemba abali ku kakiiko.[5]
Rank | Elinnya | Ekifo | Obuvunanyizibwa | Ebyenkizo |
---|---|---|---|---|
1 | Benjamin Otto | Eyali omuwandiisi wa Minisitule y'eby'obulambuzi | Ssentebe | |
2 | Gladys Kalema-Zikusoka | Akulira Conservation Through Public Health | Mmemba | [5] |
3 | Mani Khan | Dayilekita w'enteekateeka z'ekibiina kya MARASDA | Mmemba | [5] |
4 | Captain John Emily Otekat | Eyali omumyuka wa Dayilekita w'eteekateeka za UWA | Mmemba | [5] |
5 | Boniface Byamukama | Ssentebe w'ekibiina kya Uganda Tour Operators (AUTO) | Mmemba | [5] |
6 | Grace Aulo Mbabazi | Kkaminsona w'eby'obulambuzi mu Miniitule y'eby'obulambuzi | Mmemba | [5] |
7 | Janat Akorimoe Akech | Yaliko omubaka mu Paalamenti | Mmemba | [5] |
8 | Michael Aliyo | Omukugu mu by'ensimbi mu Minisitule y'ebyensimbi | Mmemba | [5] |
9 | Sam Mwandha | Akulira UWA | Omuwandiisi w'akakiiko | [5][6] |
Obukulembeze
kyusaNga 26 Ogwokusatu 2018, Sam Mwandha, eyali y'akaweebwa omulimi mu UWA mu 2010, mubutongole y'afuna ofiisi y'omukulembeze ow'okuntikko ow'ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo by'omu nsiko nga yadda mu bigere bya Dr. Andrew Seguya, eyali aweereza okumala ebisajja bibir eby'omuddiringanwa mu Ofiisi eyo.[7]
Ebyafaayo
kyusaEkitongole kya UWA kyatandikibwawo mu Gwomunaana 1996 oluvanyuma lw'etteka erikwata ku bisolo by'omu nsiko, ebyegatira awamu ne Dipatimenti ekwasaganya amakuumiro g'ebisolo ne Dipaatimenti y'obuvubi (Uganda National Parks Department with the Uganda Game and Fisheries Department).[8] Mu 2000, eteeka ly'afuuka akawaayiro mu Paalamenti. Akawayiro kano kakyusibwamu ne kagattibwa mu buwaayiro obugobererwa (Uganda Wildlife Act, 2019).[9]
Ebijuliziddwamu
kyusa- ↑ 1.0 1.1 https://www.ugandawildlife.org/about/uganda-wildlife-authority
- ↑ https://www.eturbonews.com/522576/who-is-the-new-minister-of-tourism-wildlife-antiquities-for-uganda-hon-tom-butime/
- ↑ https://www.ugandawildlife.org/
- ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B020'10.0%22N+32%C2%B035'01.0%22E/@0.335859,32.5830451,98m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.3361111!4d32.5836111
- ↑ 5.0 5.1 5.2 5.3 5.4 5.5 5.6 5.7 5.8 "Archive copy". Archived from the original on 2021-05-16. Retrieved 2023-06-15.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1474132/seguya-era-uwa
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1474160/seguya-hands-office-uwa-boss-mwandha
- ↑ https://books.google.com/books?id=OWzz1Wzqeq4C
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor
Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
kyusaLua error: Invalid configuration file.Template:Protected Areas of Uganda