Ekitongole kya Sugar Corporation ekya Uganda Limited

 

Sugar Corporation of Uganda Limited ( SCOUL ) kkampuni ekola ssukaali mu Uganda, era nga ekwata kifo kyakusatu mu by'enfuna mu mukago gwa East African Community .

Okulambika okutwaliza awamu

kyusa

SCOUL y’ekwata ekifo eky’okusatu mu Uganda mu kukola ssukaali, ng’ekola ttani za ssukaali eziteberezebwa okubamu 60,000 buli mwaka, nga zikola ebitundu 17 ku buli 100 ku bifulumizibwa mu ggwanga. Ssukaali waayo asuubulibwa wano mu Uganda, Kenya, Tanzania, Rwanda, Burundi, Democratic Republic of the Congo, ne South Sudan . Okusinziira ku alipoota eyafulumizibwa mumwaka gwa 2010, SCOUL yali eri mu kuddaabirizibwa n’okugaziya okusobola okwongera ku bifulumizibwa okutuuka ku ttani 100,000 buli mwaka mu mwaka gwa 2013.

Ebyafaayo

kyusa

Nanji Kalidas Mehta ye yatandikawo ekibiina kya Mehta Group of Companies, ekitongole ekisangibwa e Mumbai, nga kirina bizinensi ezenjawulo munsi ezenjawulo nga mu Asia, Africa, Bulaaya, ne North America.

Mu mwaka gwa 1900, ku myaka kkumi n’esatu gyoka, yava mu Buyindi gy’azaalibwa n’asaabala n’agenda mu buvanjuba bwa Afrika, n’asenga mu Uganda okumpi n’etawuni y'e Lugazi, mu Disitulikiti y’e Buikwe mu Buganda . Mu myaka amakumi asatu ku makumi ana egyaddirira Mehta yatambula wakati wa Buyindi ne East Africa emirundi 46. Mu Uganda, yatandikawo amakolero ga ppamba, ennimiro ye'ebikajjo, ekkolero lya sukaali, ennimiro z'amajaani, n’ennimiro za kaawa. Ekkolero lya ssukaali ryatandikibwawo mu 1924, okukkakkana nga lifuuse SCOUL.

Ekifo werisangibwa

kyusa

Ekkolero eddene erya kkampuni eno lisangibwa mu tawuni y'e Lugazi, kilometres 48(30 mi), ku luguudo, ebuvanjuba bwa Kampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda. Ensengeka z'ebitundu by'ekkolero lya SCOUL ku maapu biri 0°22'59.0"N, 32°56'27.0"E (Latitude:0.383056; Longitude:32.940833). [1]

Obwannannyini

kyusa

SCOUL kkampuni ya Mehta Group ekola amakolero n’okusiga ensimbi ag’enjawulo esangibwa mu Mumbai, ngewa abantu abasoba mu 10,000 emirimu mu Asia, Afrika, Bulaaya ne North America. okutuuka mu August 2011 </link></link> , emigabo mu SCOUL gyali nga bwe kiragibwa mu table wammanga: [2]

SCOUL Obwannannyini bwa Sitoowa
Eddaala Erinnya lya Nnyinimu Ebitundu ku kikumi eby’obwannannyini
1. 1. Gavumenti ya Uganda 51.00
2. 2. Ekibiina kya Mehta 49.00
Okugatta 100.00

Laba nabino

kyusa

Ebiwandiiko ebikozesebwa

kyusa

Ebiyungo eby’ebweru

kyusa