Ekitongole kya Uganda Conservation Foundation

 

Uganda Conseravtion Fund

 

Uganda Conservation Foundation (UCF)
Ekitebe ekikulu Bungereza (UK)
Endagiriro w'ekisangibwa
  • Uganda Conservation Foundation Low Mains Farm Masham North Yorkshire HG4 4PS UK
W'ekisangibwa
  • Kibanja 12b, ku luguudo lwa Faraday – Bugolobi Kampala Uganda
Ekisaawe ky'ekolako Kukuuma bisolo by'omu nsiko
Omukutu gwa Website https://ugandacf.org/

Uganda Conservation Foundation (UCF) kitongole ky'obwannakyewa ekitakola magoba era ekyawandiisibwa mu Bungereza ekikolagana n'ekitongole kya Uganda ekuvunaanyizibwa ku nsolo z'omu nsiko (UWA) wamu n'abomukago abalala, ababulijjo n'abamawanga ag'enayira okukuuma Amakuumiro g'ebisolo mu Uganda, ebitundu eby'ayawulibwa.[1] Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nsolo z'omu nsiko kitongole eky'atandikibwawo Gavumenti wabula nga ky'etongola saako n'okukolagana n'ebitongole ebirala eby'etongodde okuwangira enkola zaabwe ez'okukuuma, okukwasaganya n'okulungamya ku nsolo z'omu nsiko. UCF yatandikibwawo mu 2001 Michael Keigwin MBE eyali avunaanyizibwa ku njovu, ebimera, n'abantu mu kungaanyizo ly'ebisolo erya Queen Elizabeth National Park.[2] UCF ebadde ekolagana ne UWA mu makuumiro g'ebisolo Murchison Falls National Park, Kidepo Valley National Park, Ziwa Rhino Sanctuary neQueen Elizabeth National Park.

Pulogulaamu y'okuzza obujja kw'ekungaanyizo ly'ebisolo erya Murchison Falls

kyusa

Mu 2012, UCF yawagira UWA ku nteekateeka yaabwe ey'okussa ekkomo ku kuyiga ebisolo eby'ali by'eyongedde. Okuyita mu pulojekiti eno, baasobola okutandikawo enkola okulwanyisa obuyizzi bw'ebisolo nga bayita mu kutendeka abakuumi b'omumakuumiro g'ebisolo, okuzimbawo enkola y'ebyempuliziganya n'okusaawo emmotoka ezikozesebwa.[3]

Era batandikawo pulogulaamu z'okuyigiriza mu bitundu ebiriraanye amakungaanyizo g'ebisolo. Nga bayita mu pulogulaamu eno, abavubuka 80 be baasobola okuyita mu kutendekebwa mu by'emikono.[4]

N'ekyakasembayo, kwekumaliriza kw'ekizimbe awalagiririzibwa mu kungaanyizo ly'ebisolo erya Murchison Falls National Park nga irimu enkola ez'omulembe ezirwanisa okuyigga ebisolo, nga bayita mu bifaananyi ebiweerezebwa okuva mu bwengula okutuuka mu makomera ne mu bakwasi b'amateeka. Abavubuka kikumi okuva ku muliraano gw'ekuumiro ly'ebisolo baweebwa emirimu era bangi ku bbo bali mukutendekebwa okwegatta ku bakozi ba UWA.[5]

Okuva lw'ekyatandikibwa, pulojekiti y'okuzza Murchison falls obujja, ezimbye ebifo 12 awabeera abakuumi mu bifo eby'enkizo okwetoloola ekuumiro ly'ebisolo n'okussa ebyuma ebikessi.[6] Kino kiyambye nnyo okulwanyisa okuyigga ebisolo n'okuyamba ebisolo okweyongerako mu miwendo. Omuwendo gw'entugga kika kya Rothschild gweyongedde okuva ku 400 - 2000 era n'enjovu African bush elephant zeyongedde okutuuka mu 3000.[7]

Okuddukirira kwa COVID-19

kyusa

Okubalukawo kw'ekirwadde COVID-19 pandemic kyakosa ekisaawe ky'ebyobulambuzi era ebitundu 95 ku buli kikumi eby'ali biva ku kuvujirira by'asanyawo enkola z'makuganyizo g'ebisolo. Ebula ly'ensimbi ly'abateeka mu buzibu mu kubezaawo n'okutambuza emirimu saako n'okukuuma saako okulwanirira ebisolo.

Enkola ya Wildlife Ranger Challenge yatandikibwawo mu 2020 okuyambako ku bakuumi okwetoloola Africa abaali bakosebwa COVID-19.[8][9] Okuvvulu kya Uganda ekyalimu tiimu z'abakuumi abaali badduka emisinde mubuna byalo ne kilo 22 ku migngo gyaabwe, byategekebwa mu kungaanyizo ly'ebisolo Queen Elizabeth national park mu 2020 ne 2021 era kya kwasaganyizibwa UCF.[10]

Ebyuma ebikesi eby'ekennenya mu Queen Elizabeth National Park

kyusa

Olupapula olwafulumizibwa mu Gwokubiri 2023 nga lulimu ebyazuulibwa mu kuketta Queen Elizabeth National Park mu 2008[11] ekyakolebwa aba UCF ne UWA kyaleetawo okuteebereza mu miwendo gy'enjovu 4,711, ekikola ebitundu 62 ku buli kikumi okusingako kw'ebyo ebyali byazuulibwa mu kubala kw'enjovu 2,900 mu 2014 era ekyasinze okuva mu kubala kwa 1960.

UWA yali yetaaga okuteebereza emiwendo gy'ebisolo okusobola okulungamya ebigobererwa mu kukuuma ebisolo, wabula eby'ava mu kuketta by'alaga enkyukakyuka era ensalo zaali zibu okulambika. Okwekenenya kuno kw'asikira Rear Seat Observers RSOs ne Oblique Camera Count imaging systems eyateekebwa ku diguli 40 era nga yakwata ebifaananyi 43,000 mu kubala ebitonde by'ebikula 13. Ebifaananyi byataputibwa bannayuganda bana abatendekebwa mu mulimu egyo okuva mu Uganda ne Kenya.

Enjovu ezisinga z'atwalibwa mu kisaka ekinene ku Kazinga Channel, era ebiranbo gy'enjovu gy'ali ebitundu 1.4 ku buli kikumi okuva ku by'ava mu kubala (ebitundu 3.1 ku buli kikumi) mu 2014. Embogo zasaasanyizibwa okwetoloola emakungaanyizo g'eisolo ng'ezisinga z'atekebwa mu by'elelezi n'ebidiba mu bitundu bya Ishasha, Kyambura ne mu kiwonvu kya Kasenyi.

Enkola eno yakulemberwa Dr Richard Lamprey era ng'evugurirwa UWA wamu n'ebitongole by'enayira ebirwanirira okukuuma ebisolo omuli Save the Elephants, International Elephant Foundation, Global Conservation ne Vulcan Inc.

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. https://www.taiwannews.com.tw/en/news/3339167
  2. https://www.thenorthernecho.co.uk/news/14997006.founder-charity-protect-african-elephants-poachers-honoured/
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2023-06-11. Retrieved 2023-06-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://davidshepherd.org/news/the-community-comes-together-to-build-in-murchison-falls-national-park/
  5. https://www.nationalgeographic.co.uk/travel/2021/08/how-conservationists-are-striving-to-protect-the-wildlife-of-ugandas-national-parks
  6. https://www.pmldaily.com/features/tours-travel/2019/09/uwa-gets-surveillance-equipment-to-bolster-wildlife-sector.html
  7. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2023-02-26. Retrieved 2023-06-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. https://wildliferangerchallenge.org/
  9. https://conservationmag.org/en/places/uganda-rangers-raise-awareness-for-wildlife-conservation-as-park-funding-plummets-due-to-lost-tourism
  10. https://www.traveldailynews.com/post/uganda-conservation-foundation-enters-21km-charity-ranger-run-for-wildlife-conservation
  11. https://www.biorxiv.org/content/10.1101/2023.02.06.525067v1