Ekizimbe kya Uganda Inspectorate of Government
Uganda Inspectorate of Government Towers kizimbe ekikyalimu kuzimbibwa mu Kampala, ekibuga ekikulu era akisinga obunene ekya Uganda.[1]
Endagiriro w'ekisangibwa
kyusaKino ekizimbe eky'emyaliriro emingi kisangibwa wakati w'oluguudo lwa 71–75 Yusuf Lule n'oluguudo lwa 24–26 Clement Hill, ku kasozi k'e Nakasero, mu Divizoni y'emumasekkati eya Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda .[1] Kodinentisi z'ekizimbe kya Uganda Inspectorate of Government Towers ziri: 0°19'10.0"N, 32°35'26.0"E (Obukiika:0.319444; Obusimba:32.590556).[2]
Overview
kyusaEkizimbe kino kiliko emyaliriro 15 egya offiisi ne paakingi ya mmotoka 205 ku myaliriro esatu.[3] Bw'ekinaaba kimaliriziddwa, kigyakukola nga ekitebe ekikulu eky'ekitongole kya Gavumenti ekinoonyereza n'okulwanyisa obuli bw'enguzi, n'okukozesa obubi obuyinza mu ofiisi za Gavumenti, ng'ekitongole kino kigya kukozesa abakoze 325 bwebunatuukira mu Gwomusanvu 2019.[4]
Ekizimbe kya ofiisi kino kigya kuba ne: 1. ekifo awateeseza nga kituuza abantu 500 2. Ekfo awasisinkanibwa ku nsonga z'okunoonyereza 3. Awakuumirwa ababa bakwatiddwa ku nsonga z'obuli bw'enguzi 4. awakeberebwa ebyenkumu n'okubyekennenya 5. Awaterekebwa ebizibiti.[1]
Ebyafaayo by'ekizimbe kino
kyusaMu 2005, ekitongole kya Gavumenti ekikola kukunonyereza ku misango gy'obuli bw'enguzi ky'afuna ettaka lya yiika1.2 (4,900 m2) okuva ku Uganda Post Office oluvanyuma lw'okusasula obuwumbi bwa Uganda 5.4 (nga mu kaseera zaali zibalirirwamu obukaddw bwa Doola 2.2).[4]
Okuzimba kw'abalirirwamu obukadde bwa Doola 19 (bwe buwumbi bwa Uganda 69 mu ssente za 2019). Mu Gwomusanvu 2019, oluvanyuma lw'emyaka kkumineena egy'okuteekateeka, omukolo gw'okutema evuunike gw'ategekebwa mu kifo ky'ennyini. Kampuni eyakwasibwa omulimu gw'okuzimba yali Roko Construction Limited, Kkampuni ya Uganda ekwasaganya eby'okuzimba nga yali wamu n'etabbi ly'ayo ery'e Rwanda erya, ROKO Construction Rwanda Limited. Ekizimbe kino kisuubirwa okuggwa mu 2023.[1][3][4]
Omulimu guno guvujiriddwa kikumi ku kikumi Gavumenti ya Uganda. Ekizimbe kya Ofiisi kino kigya kutaasa Gavumenti ku ssente z'okupangisa ezili mu Buwumbi 2.5 buli mwaka (Doola $680,000).[3]
Laba ne bino
kyusa
Ebijuliziddwamu
kyusa- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 https://constructionreviewonline.com/news/uganda/uganda-launches-construction-of-the-inspectorate-of-government-towers/ Cite error: Invalid
<ref>
tag; name "1R" defined multiple times with different content - ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B019'10.0%22N+32%C2%B035'26.0%22E/@0.3194444,32.5883669,392m/data=!3m2!1e3!4b1!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.3194444!4d32.5905556
- ↑ 3.0 3.1 3.2 https://www.monitor.co.ug/News/National/IGG-contractors-shoddy-work-Roko-Mulyagonja-Yusuf-Lule/688334-5178980-ep7rf3/index.html Cite error: Invalid
<ref>
tag; name "3R" defined multiple times with different content - ↑ 4.0 4.1 4.2 https://www.independent.co.ug/ig-breaks-ground-for-ugx-69bn-headquarters/ Cite error: Invalid
<ref>
tag; name "4R" defined multiple times with different content