Ekizzaŋŋanda kye ki?

kyusa

Ekizzaŋŋanda z’empisa n’ebikolwa ebikolebwa abantu mu buwangwa bwabwe ebyoleka okubeerana.

Ebyafaayo

kyusa

Ebyafaayo biraga nti mu Afrika abantu tebeemaliriranga; buli muntu yalinanga kye yeetaaga ku munne. Kino tekitegeeza nti abantu baabanga tebasobola kwetuusaako oba kuba n’ebyo byonna bye bandyetaaze okukola bye baagala. Naye kino kyalinga kigenderere mu ntereeza y’obuwangwa bwabwe omuntu aleme kwesuula banne. Ka mpe ekyokulabirako: mu Buganda, kigambibwa nti kya muzizo omuntu okubeera ng’asenguka n’agenda n’omusekuzo. Lwaki yagaanibwanga okugenda nagwo? Lwa nsonga nti, bw’atuuka eyo gy’asengukidde, agende ku miriraano atandikewo enkolagana nabo. W’otuukira okusaba muliraanwa wo ekintu akikwazike, muteekwa okuba nga mukolagana bulungi. Kyalengerwa nti singa omuntu amala ne yeetengerera mu byonna, yandiraba nga okukolagana ne banne tekimuyamba.

Ebikolwa by’ekizzaŋŋanda

kyusa

Enkolagana eyo teyakomanga ku bikozesebwa byokka naye yatuukanga ne ku byokulya, ku mirimu ne ku mikolo egy’enjawulo. Omuntu bwe yatuusanga (bwe yayengezanga) ebijanjaalo, kasooli; oba okutuusa ekyengera kyonna nga ebinyeebwa, ng’asooka kuweerezaako banne, ate naddala muliraanwa.

Ekinu, eryato n’ebibbo ebisogolerwamu abantu baabyeyazikanga ku bannaabwe. Obugaali abantu baabweyazikanga ku bannaabwe bakole eŋŋendo zaabwe.

Emikolo nga okuziika, ennyimbe, embaga, n’okujaguza abantu baagikwasinzanga wamu. Ka tulabire ku kufiirwa: nazzikuno nga mu bantu naddala mu bakyala mubeeramu ebibiina ebimanyiddwa nga “Munno mu kabi.” Ebibiina ebyo byakolebwanga kuyamba bannaabwe ku mikolo egy’enjawulo. Oli ne bwe yafiirwanga naye nga talina byakulya oba byakunywa nga tafaayo, kwabanga kutemya na kuzibula nga buli kimu kituuse: emmere, amazzi, okubudaabuda, okuzimba ekidaala, n’okukola emirimu emirala gyonna. N’omuntu bwe yalwazanga munne ng’ategeereezaawo banne mangu ne bakola ku bujjanjabi bwe. Kwe kugamba nti nga tewali muntu yeemalirira mu ngeri yonna. Bw’atyo nno Omufrika bwe yayisanga era ekyo kye kimuli mu musaayi ne mu mpisa ze.

Ebiriwo ensangi zino

kyusa

Kyakusaalirwa nti ezimu ku mpisa ezo zigenda zisaanawo olw’okutwalirizibwa empisa engwira. Abakyaddeko oba abakoleddeko mu mawanga g’ebweru bategeeza nti, ebweru eyo buli muntu ali ku lulwe: oteekwa okuba nga buli kimu okirina. Eri si kya bulijjo okugenda ewa gundi nti akuwoleyo ku ssente oba nti akwazike ekintu gundi. Tova buvi eri n’ogenda nti okyalire gundi nga tomaze kumutegeeza, mbu ayinza okukuggalira ebweru! Kitugambibwa n’okutugambibwa nti tomala gasanga muntu mu kkubo n’omubuuza ng’oli mu mawanga g’Abazungu. Mbu ofaanana bulala nnyo singa omala n’ogenda ng’obuuza abantu b’osanga mu kkubo!

Kimanyiddwa nti mu ggwanga lyaffe muno mulimu abantu abaagala okweyisa mu ngeri ng’eyo: tebaagala kwesembereza baliraanwa baabwe, tebeesembereza muntu yenna.

Naye olw’okuba nti twazaalibwa mu Afrika, abantu ab’engeri eyo ate bwe batuukibwako ekizibu oba obwetaavu bwonna, baagala okubayamba. Kye tusaana okumanya kye kino nti, waliwo ebintu ebituli mu “musaayi” oba ebiri mu buzaale bwaffe nga oli ne bwe yeebuzaabuza atya, ekintu ekyo kimala ne kyesowolayo oba ne kimupika okukola nga bw’ateekwa okukikola. Gamba, oyo atayagala kwesembereza baliraanwa be, bw’amala n’afiirwa omuntu, oba okufuna ekizibu kyonna nga okulumbibwa ababbi; akuba enduulu. Bw’alaya enduulu, asooka okuwulira muliraanwa era nnyinza okugamba nti gw’aba ayita amuyambe. Kale nno omuntu ne bwe “yeewanika atya” oba ne bwe “yeewulira atya” obuwangwa butuuka ekiseera ne “bumukaka” okukola nga bw’ateekwa okukola.

Ye ne wamala waabaawo okunoonyereza okukolebwa nga kugenderera okuzuula oba nga abantu abeesulubabba bannaabwe babeera n’essanyu; okunoonyereza okwo kwandiraze ki? Kiri nti buli lw’olabika nga weesamba banno, lw’obasanga toyinza kuwulira mirembe era tofuna kwetaaya kubanga mu ggwe mulimu “ekintu” ekigamba era ekikulumiriza nti “Toteekwa kweyisa otyo!”

Ye abaffe, omuntu atayagala kubuuza banne wano mu ggwanga lyaffe atunuulirwa atya?, ayogerwako bigambo ki?, bantu banne bamusanyukira? Lwaki? Kubanga ky’akola kitunuulirwa nga kya ngeri era abantu baba tebakisembeza mu kutegeera kwabwe.

Ekirungi kye kino nti empisa eyo ey’ekizzaŋŋanda ekyalabibwa ku mikolo nga: embaga, okufiirwa, ne mu nnyimbe. Empisa eno yeetaaga okukuumibwa ennyo. Amazima gali nti mu buwangwa bw’Omufrika, mulimu okubeerana, obumu n’okukolaganira awamu mu buli nsonga. Empisa ezo ze tunonooza ebweru ez’okwagala okwemalirira mu buli kimu ziyinza obutatutwala wala.

Mu Afrika buli muntu yeetaaga munne, oli ne bw’aba mugagga atya nga buli kimu asobola okukyetuusaako era asaana aleme kwesamba banne kubanga empisa zaffe n’obuwangwa bwaffe bwe bityo bwe bitutuma. Jjukira nti ‘Obuwangwa’ be bantu n’ebyabwe. Kino tekiwakanya mazima galiwo nti ensi ekyuse era nti buli kimu kikyuse; wabula waliwo ebintu ebiyinza oboolyawo obutakyuka.