Elizbeth Kibula Kabanda Munnayuganda, Munnamateka era Mulamuzi, aweereza ng'omulamuzi wa Kkooti ya Uganda ensukkulumu, okuva mu 2013.[1] nga tannatuula mu kifo ekyo, yaliko omumyuka w'omukuumi w'ebiwandiiko by'emisango egy'obumenyi bw'amateeka mu kkooti ensukkulumu.[1]

Obuto bwe n'emisomo gye

kyusa

Yakkirizibwa mu Yunivasite ya Gavumenti esinga obugazi n'obukulu mu Uganda eya Makerere University, okusoma amateeka era yatikkirwa Diguli esooka mu mateeka eya Bachelor of Laws degree. Alina Dipuloma mu kukwasisa amateeka eya Diploma in Legal Practice, gye yafunira mu Ttendekeroly'abannamateeka erya Law Development Centre, mu Kampala. Munnamateeka omuwandiise mu Uganda era Mmemba mu kibiina ky'abannamateeka ba Uganda.

Emirimu gye

kyusa

Nga yakalondebwa mu kkooti , yaweebwa obuvunaanyizibwa okukola ku nsonga z'eby'ettaka. Mu 2015, yakyusibwa okuva mu nsonga z'ettaka n'ateekebwa ku Divizoni y'obumenyi bw'amateeka.[2]

Mu 2016, Ow'ekitiibwa Kabanda yaweebwa obuvunaanyizibwa ku Kkooti empya eyali eteekeddwawo eya Mpigi Circuit, ng'omulabirizi waayo.[3] Era yaweerezaako ne mu kkooti y'e Mubende Circuit mu 2016 ne ku ntandikwa ya 2017.

Ogumu ku misango gw'eyali mu mitambo mwalimu ogwa Gavumenti vs Stella Nyanzi, nga Gavumenti yali evunaana Stella Nyanzi, emisango ebiri egy'okuvoola n'okukozesa obubi emikutu emigatta bantu ekikontana n'etteeka elifuga ebyuma bikalimagezi erya Computer Misuse Act of 2011.[4]

Ebiwakanyizibwa

kyusa

Mu Gwokusatu 2017, Kaliisoliso wa Gavumenti yalagira okunoonyereza ku mulamuzi Elizabeth Kabanda, oluvanyuma lw'okwemulugunya okwakolebwa abantu babiri abaali bakolera wansi we. Eyali omuvuzi we, Matiya Akantorana, n'eyali omukuumi we, Jimmy Eyou, bawandiikira Kkaliisoliiso nga bamutegeeza nti omulamuzi yali yafuna ensimbi zaabwe ez'okutambula okuva mu offiisi y'ebyensimbi ey'essiga eddamuzi naye nalemererwa okuzibawa.[5]

Oluvanyuma lw'okumpi mwaka mulambi nga banoonyereza, IGG yafulumya by'eyali azudde. Yazuula nti omulamuzi ono yali yasasula abakozi be ennaku 30 atenga baali baakola ennaku 40. Omulamuzi yalagibwa okusasula abaali abakozi be banno omugatte gwa Silingi za Uganda USh630,000 (ezikunnukkiriza. US$180), ng'ensimbi z'eyali akumpanyiza ababiri bano.[6]

Laba ne bino

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. 1.0 1.1 http://chimpreports.com/judge-drags-igg-mulyagonja-to-court/
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-21. Retrieved 2023-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1441140/musene-kwesiga-moved-judges-reshuffle
  4. https://www.independent.co.ug/dr-stella-nyanzi-mental-status-hearing-expected-continue-today/
  5. http://www.monitor.co.ug/News/National/IGG-release-probe-report--judge-/688334-4319694-jrhh66/index.html
  6. http://www.monitor.co.ug/News/National/IGG-orders-judge-refund-Shs630000/688334-4320946-bqyg2yz/index.html

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

kyusa