Elizabeth Mpagi Bahigeine (eyali Elizabeth Mpagi), era Elizabeth Mpagi-Bahigeine, Munnayuganda ow'ebyamatteka era omulamuzi, aweereza nga Deputy Chief Justice wa Uganda okuva mu 2010 okutuusa bwe yawumula emirimu gye mu 2012.[1] Mu kissera nga tanalondebwa nga deputy chief justice, yali Justice wa Court of Appeal ya Uganda, era eweereza nga Constitutional Court ya Uganda.[2]

Obuto n'emisomo

kyusa

Alina diguli ya Bachelor y'Amateeka, gyeyafunira mu Yunivasitte ya East Africa, nga tenafuuka Yunivasitte y'e Makerere. Alina Dipulooma mu Legal Practice okuva mu Law Development Center mu Kampala, ekibuga kya Uganda era ekisinga obunene. Yazaalibwa mu Bitundu by'Awakati wa Uganda mu 1942. Yaweza emyaaka gya mandatory retirement age egye 70 mu 2012, bweyewumuza emirimu okuva mu Court of Appeal.[3]

Emirimu

kyusa

Yasooka okulondebwa ku bench mu 1988.[4] Obuweereza bwe mu Judiciary ya Uganda yetabba mu kuweereza mu nsengekera za high court y'omu gwanga, nga Justice wa High Court ya Uganda. Okuva eyo, yalondebwa mu Court of Appeal/Constitutional Court mu 2010 era nawumula emirimu gye okuva mu judiciary mu 2012, ku myaaka 70.[3] Mu kissera ky'okulondebwaakwe mu kifo kya Deputy Chief Justice (DCJ) mu 2010, Ye yali senior justice oweddaala ery'awagulu ku appellate court. Mu Uganda, DCJ yakulira Court of Appeal/Constitutional Court era si mmemba wa Supreme Court of Uganda.[5]

Ebirala

kyusa

Mu 2010, Justice Mpagi-Bahigeine yali mmemba wa panel of Appellate Court judges abasala omusango 5–0 okujawo emisango gy'okulya mu nsi olukwe egya munnabyabufuzi Kizza Besigye, n'abalala 10 abali baloopeddwa.[6][7] Nga agenda okuwumula emirimu, yayogera nga awakanya etteeka elyo erisosola abakyaala n'obusobozi bwaabwe okusaba.[8]

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwa

kyusa

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya

kyusa
  1. http://www.monitor.co.ug/News/National/688334-1070642-b66acjz/index.html
  2. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1198551/alenyo-appeal-dismissed
  3. 3.0 3.1 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1304465/deputy-chief-justice-retires
  4. https://web.archive.org/web/20171112074019/http://www.monitor.co.ug/OpEd/columnists/KaroliSsemogerere/Deputy-Chief-Justice-retires--What-next-around-the-corner-/878682-1468748-uldjrb/index.html
  5. https://web.archive.org/web/20171112022735/http://allafrica.com/stories/201704170277.html
  6. http://blog.jaluo.com/?p=9902
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2017-11-12. Retrieved 2024-04-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. http://judiciary.go.ug/data/news/507/200/Women%20in%20Leadership%20Conference%20Award%20Bios.html