Embaziso(Number)
Okusinziira ku Muwanga Charles mu kitabo kye "Embaziso": Ekigereeso ky'Embaziso(Numbers "Number Theory), embaziso (number(s)kivudde mu kugattika bigambo "Erinnya ly'embonero ezibala"(the name of a counting numeral).Kati nno tuyinza okwogera ku:
(a) Embaziso ez'obutonde (natural numbers)
(b)Embaziso enzijuvu(Whole numbers)
(c) Embaziso eya kigaanira(odd number)
(d) embaziso eya kyegabanya(Even number)
Ekifaananyamakulu(Synonym) : Namba
Manya :Embonero (Numeral) ekiva mu kugattika ebigambo "endaga y'obubonero obubala"(Mark for counting sysmbol)
Akatabo "Embaziso"(Numbers) kati weekali .Ke kamu ku butabo 24 obw'ekibalangulo(mathematics) obufuluma omwaka guno 2018. Buno butabo bwa byafaayo mu nkulaakulana y'Olulimi Oluganda.