Embeera z'Obuntu(Human emotions)

Gakuweebwa Charles Muwanga !!!Manya emiramwa gino:

Emotion collage

(i) Embeera z'Obuntu (Human emotions)

(ii) Embeera z'Abantu (Human conditions, economic or political conditions)

(iii)Okufuga embeera z'obuntu(Controlling human emotions)

(iv)Embeera z'obuntu(human emotions zirimu:

   (a) Embeera z'obuntubulamu
   (b)Embeera z'obuntu enkyankalamu oba embi.

Obutafaanana na Mwoyo wa bwa Katonda avaamu embeera z’obuntubulamu, omwoyo w’obuntu , evaamu embeera z’obuntu (human emotions) ,embi oba enkyankalamu n'ennungi..

"Embeera z'Obuntu" oba "embeera ez’obuntubulamu" mulimu okusaasira, okulumirirwa, okuyamba, okunyumirwa ,okwagala, n’endala. Ng’ojjeeko embeera ez’obuntubulamu , buli muntu omulamu alina embeera ez’omubiri enkyankalamu , ezisibuka mu mwoyo w’obuntu . Embeera zino zirimu okunyiiga, okunyumirwa ng’abalala bafunye okunyigirizibwa(sadism), okulumwa, okunakuwala, okwejaakajaaka, okwemanyamanya, obutagambwako, okutya ,okunakuwala, okwewuunya, okunyiiga ,okwemanya, obutagambwako , emputtu ,empiiga ,enge , ’ effutwa. n’obutafa ku balala.

(i) Embeera y’obuntu ey’Okwagala

Okwagala kuva mu kusenserwa bwagazi oba kusegeera okwawamu. Okwagala kuyinza okuba okwa mwoyo wa Katonda oba okw’obusimu bw’omubiri obw’omukwano wakati w’ekisajja n’ekikazi, oba okwagala okw’obuntu okw’omuntu eri muntu munne oba okwagala okukola ekintu.

Mu kwagala oluusi muvaamu okwegomba, okwegwanyiza eby’abalala , okuyaayana, n’okwakayakana. Mu kwegomba namwo mubaamu embeera z’obuntu nga okweyunira ,okusikirizibwa oba okusikiriza ,okwenyumiriza mu kintu oba mu muntu ,okulaga ,n’okufaayo .

Okwakayakana kwekusiza ku mbeera z’obuntu nga okuleetera oba okufuna obwagazi , okwegwanyiza , okwemalira ku kintu ,n’okuteeka ebirowoozo byo ku kintu oba ku muntu.

(ii) . Embeera y’obuntu ey’Okunakuwala

Okunakuwala kuva ku kufiirwa oba okulemererwa oba obutafiibwaako, n’okuswazibwaswazibwa . Ssinga embeera ey’okunakuwala eyitirira , omuntu afuna okwennyika , ekintu ekyeragira mu kusiriikirira, n’okweyawula ku balala . Singa olaba omuntu atandise okweyawula ku banne , yekubagiza ate nga tayogera , buno bubonero bwa kwennyika era omuntu oyo aba yetaaga obuyambi obw’enjawulo kubanga ayinza okwetuusaako obuvune oba n’okutuusa obuvune ku balala oba n’okutabuka omutwe. Okunakuwala n’olwekyo ye kanaluzaala w’embeera z’obuntu nga okwennyika , okwekubagiza ,ennaku ,n’ebirowoozo .

Mu kunakuwala era muvaamu embeera z’obuntu nga okuggwaamu essuubi , okuwulira obubi, obutasanyusibwa ate okuswaala ne kuvaamu embeera nga okwetya, okwekyaawa , n’okwejjusa.

Obutafiibwaako oba okusuulirirwa kuvaamu mbeera z’obuntu nga okwetya , okwesamba abalala, okwagala okubeera wekka, okutya okuswazibwa , n’okwekubagiza .


(iii) Embeera y’obuntu ey’ Okutya

Okutya kuleetebwawo buzibu oba akatyabaga akaba keyolese nti kanaatera okubaawo oba enkyukwe. Okutya “ngerekera ya kwerwanako”(survival instinct) singa embeera ey’obulabe eba yekiise mu bulamu bwo. Okutya kuleetawo ekiwuggwe ,okwesisiwala ,okumaguka , kawereege ,okutaatagana , n’ebirowoozo okukyankalana .

Waliwo n’okukubwa enkyukwe . Omuntu akubiddwa enkyukwe afuna okwekengera ,okutya ,okwesisiwala ,obuteetegeera ,obutakyayala ,akakyankalano ,okwekanga, oba “enviiri okumuva ku mutwe”.

Engerekera y’okutya (the instinct of fear) ya kwetaasa n’okutaasa abalala.Obugunjufu kikwata ku kumanya buvune obuyinza okuteeka abalala mu mbeera ey’okutya n’okuyamba abo abayingidde mu mbeera eno .Okutya mbeera ya mulengera (mental condition) ekuleetera okwekengera nti ggwe oba munno ayolekedde okufuna obuzibu. Ono ye kalonda omweyolekera embeera y’obuntu ey’okutya:

 Bw’otya omuntu oba wekengedde nti oyinza okumufunamu obuzibu

 Bw’otya okutwalibwa mu kkomera oba wekengedde nti oyinza okukifunamu obuzibu obw’enjawulo.

 Bw’otya okugobwa ku mulimu oba olowooza nti oyinza okukifunamu obuzibu. Kino kikuyamba okweteekateka nga otuukana n’omutindo oba nga onoonya ekirala eky’okukola nga obadde ogobeddwa.

 Bw’otya okwogera ku kintu kiba kitegeeza nti oyinza okukifunamu obuzibu.

 Bw’otya ensolo kiba kitegeeza nti wekengedde nti eyinza okukutusaako obuzibu (obuvune) .  Bw’otya obwavu kiba kitegeeza nti otegedde nti obwavu mpologoma , ekutta olaba era olina okubulwanyisa.

 Bw’otya okuswala, okuswazibwa, obutafiibwako, oba okukyayibwa oba wekengedde obuzibu obuli mu kino

Ku ludda olulala, okutya kya mugaso kubanga kitusobozesa okwewala obuzibu nga twetaasa mu ngeri ey’okwetegekera obuzibu obuba butweyolese , tusobole okubwang’anga oba okubwewala.


(iv) Embeera y’Obuntu ey’ Okunyumirwa

Okunyumirwa oba essanyu kirimu okwewulira nga oli mu mbeera ennungi, eddembe, okwagala, n’okumatira. Era kino kivako okusaakaanya , omuli okusanyusibwa ,okukyamuka ,okweraga , okujaganya ,okukyakyankya ,okukyamuukirira oba okumegerera.

(v) Embeera y’obuntu ey’Okwewuunya

Okwewunya kitegeeza okweyoleka kw’ekibadde kitasuubirwa. Oli bw’afuna okwewuunya n’ebisige abiyimusa. Okwewuunya era kuleetawo embeera z’obuntu endala nga okusamaalirira .


(vi) Embeera y’obuntu ey’Okunyiiga

Obunyiivu oba okunyiiga kiva ku butali bwenkanya , okuswazibwa oba obuswaavu,obutakwatagana mu ndowooza oba mu bikolwa, obutafiibwako oba okuliibwamu olukwe .

Okunyiiga bwe kuba kwa bikolwa , omuntu alumba asibuseeko okunyiiga okwo kyokka bwe kuba kwa kimpowooze , omuntu anyiigira munda. Mu bunyiivu muyinza okuvaamu okwekyawa , ekintu ekireetawo embeera z’obuntu endala nga okwekyanga , okulumba ,okukyawa ,okwewera, oba okuwulira obubi .Waliwo n’okumalibwaamu amaanyi oba okuggwamu amaanyi awamu n’okwesisiwala okuviirako okwegugunga , obulumi n’okukoowa embeera .

Obugunjufu kikwata ku kumanya buvune obuyinza okuteeka abalala mu mbeera ey’okunyiiga awamu n’okumanya engeri gy’ofugamu okunyiiga nga obadde olina ekikunyiizizza.

Okunyiiga kusonjolwa nga okukyankalanyizibwa ebirowoozo. Eno mbeera ya buntu ejjawo nga waliwo omuntu oba embeera ekukyankalanyizza oba ekunyiizizza, ka tugambe nga oli ayonoonye ebintu byo , akuwaayirizza , akuboggoledde, akuswazizza mu bantu, n’ebirala.

Kyokka n’ekintu oba embeera eteekuusiza ku muntu munno eyinza okukunyiiza. Eky’okulabirako akalippagano k’emotoka ng’obadde mu bwangu, okulemererwa okutuuka ku kiruubiriro kyo oba ekyo abalala kye babadde bakusuubiramu.

Obunyiivu buyinza n’okweyolekera mu njogezamubiri(body language) , naddala mu feesi , engeri oli gy’atunula, n’enjogera ye . Kyetaagisa okufuga okunyiiga kubanga okunyiiganyiiga kiyinza okukuviirako okwekandula n’okutuusa obuvune ku balala oba ku bulamu bwo, so ng’ate era n’obulamu bwo bukosebwa naddala nga okunyiiganyiiga kikulwazizza akanyigirizi k’omusaayi(blood pressure) oba endwadde z’omutima endala.

(vii) Embeera y’Obuntu ey’Okuwa enkizo abamu , n’ okusosola

Obugunjufu kikwata ku kumanya engeri gy’okwataganyaamu embeera ey’okusuulirirwa ,okusuulibwa ebbali , okukyayibwa oba okusosolebwa nga ebaddewo awamu n’okwewala okusuulirira oba okukyawa abalala.

Okutya okusuulibwa ebbali oba okusuulirirwa kiva ku bintu bingi , omuli n’okuba nga tewafiibwangako nga oli muto , n’okula nga olowooza nti tolina kwagalibwa olw’enneeyisa y’abantu b’obeeramu . Okutya okusuulirirwa kiyinza okukuviirako okuba nga ova mu mbeera ez’obuntu n’okulemwa okufuga embeera zino.

Mu biseera ebisinga obungi kyotya kyenyini tekibaawo naye eba ndowooza yo ekuleetera okutya n’okwetya kyokka oluusi abantu abakola ebikolwa ebijja bantu bannaabwe mu mbeera be baviirako obuzibu obwo. Eky’okulabirako , okuba nga bakusekerera olw’okuba engeri gye wakulamu so ng’ate enkula yo si ggwe wagisalawo wabula kwali kusalawo kwa Katonda.

Okusomesa omwana obugunjufu kyetaagisa nnyo okubayigiriza okuteeka ebirowoozo ku bintu birala eby’omugaso mu bulamu nga wabaddewo okukyayibwa oba okusuulibwa ebbali oba okusosolebwa ate era n’okumumanyisa obutateeka balala mu mbeera eyo naddala olw’enkula yabwe etali neyagalire nga obulema ku mubiri oba obulemu ku mubiri, obunene, obumpi n’ebirala. Okuwa enkizo (prejudice) kikolwa kya kusosola.


(viii) Embeera y’Obuntu ey’Okwekubagiza

Obugunjufu kikwata ku kumanya buvune obuyinza okuva mu mbeera ey’okwekubagiza oba okumanya engeri gy’okwataganyaamu embeera eno nga ebaddewo.

Embeera y’okwekubagiza eba mbeera ya gunsinze eva mu kulowooza nti teweemala (inadequacy) oba tolina ky’osobola kwekolera era okubeerawo kwo kutaataganya abalala. Embeera ya gunsinze era eva ku kulowooza nti okoze eky’ekivve ekitakolebwangako muntu mulala era ekitasobola kusonyiyibwa.

Era tuyinza okufuna embeera y’okwekubagiza bwe tuba tulina kye tugaanyi, tulimbye oba kye tukumpanyizza, bino byonna ne bituleetera okulowooza nti tukoze kya buswaavu, ne twennyika n’okwesaasira.

Okwekubagiza kuviirako embeera z’obuntu embi endala n’okulowooza nti tokyalina mugaso mu Ensi. Okwekubagiza kikosa obwongo bwo n’obulamu bwo okutwalira awamu, n’ofuna okulumwa omutwe, okukyankalana mu lubuto, n’obukoowu olumu, n’okutabuka obwongo. Okwekubagiza kikuleetera okutya okusalawo kyokka singa oba okufuze bulungi kikuyamba okukulaakuna mu neeyisa yo.

Embeera y’obuntu eno ekulowoozesa nti abalala tebafuddeyo ku mbeera y’obulamu gy’olimu oba gy’oyiseemu. Okwekubagiza kuziiyiza essanyu n’okunyumirwa okudda mu bulamu bwo. Okwekubagiza olumu kiva ku nkuza oba engeri gye wakuzibwamu etaakulaga nti obulamu bulimu ebiwonvu n’ebikko by’olina okuyitamu.

Abazadde oba abantu abatasengejja mu bigambo bye boogerera baana nga bakoze ensobi baviirako embeera eno. Eky’olulabirako omwana ayasizza essowaani, oba akoze ensobi endala, omuzadde n’amulaamiriza “mwana(gwana) ggwe tojja kubaamu magezi”.Kino kimulowoozesa nti obulamu bwe bwonna tebujja kubaamu kalungi wabula ebizibu byokka.


(ix) Embeera y’Obuntu ey’Okwennyika

Obugunjufu kikwata ku kumanya buvune obuyinza okuteeka abalala mu mbeera ey’okwennyika (depression) oba okumanya engeri gy’okwataganyaamu embeera eno nga ebaddewo.

Okwennyika mbeera ya mulengera (mental condition) erimu okulowooleza mu kulemererwa n’okuba nga tewali kye wenyigiramu n’abalala . Omuntu eyennyise tateeka birowoozo bye ku mulamwa ogubaawo, aba takyayagala kulya , aba munakuwavu nnyo, yekubagiza, nga takyalina ssuubi mu bulamu.

Okwennyika kuziiyiza omuntu okweyagala n’okubeera omusanyufu mu bulamu era omuntu ayinza okulowooza ku kwetta kubanga alowooza nti asigadde yekka mu ensi , tewakyali amwagala.

(x) Embeera y’Obuntu ey’ Okwegulumiza

Obugunjufu era kikwata ku kumanya obuzibu obuyinza okujjawo ng’omuntu yetaddemu embeera ey’okwegulumiza. Okwegulumiza kweyolekera mu kukudaala, okuduula, n’obutakolagana na balala mu ngeri yonna , naddala nga olowooza nti ba wansi oba obasinga.

Abantu abasinga balowooza nti okwegulumiza gaba malala naye ekituufu kiri nti kuba kulowooza nti oli waggulu w’abalala mu nkula, n’okumanya , obuyinza , amaanyi, oba obugagga. Okwegulumiza kivaamu amalala, okwemanyamanya, emputtu, n’obutagambwako naye kyokka kya njawulo ku bino. Omuntu ey’egulumiza aba alowooza nti asukkulumye ku balala mu:

 bulungi/endabika y’omubiri.

 magezi (okumanya).

 buyinza n’amaanyi

 bugagga-Kubanga alina ebyobugagga ebisingako eby’abalala.

Omuntu omugunjufu ne bwaba ng’ebyo waggulu abirina teyegulumiza era aba mukkakkamu , omuntu w’abantu, omutabaganyi omulungi yadde ng’alina okuba n’okwekengera okwetaagisa.

Bino bimuviirako obutagambwako n’emputu (obutakyusa mpisa oba nneeyisa embi). Amalala , okusinga eba ntambula oba enjogera n’ennyambala ey’ekivubuka. Amalala gayinza obutaba na kakwate na kwegulumiza , naddala mu bavuvuka abali mu myaka gya kavubuka.

Okwegulumiza kulowooza nti ggwe otuukiridde okusinga abalala era ggwe buli bbanga oba wegeraageranya n’okuvuganya n’abalala okulaga nti obasinga. Okwemanyamanya kuvaamu okwematira . Okwemanyaamanya kugeraageranye n’embeera ey’okwewa ekitibwa ky’obuntu (self-esteem), okwetya n’okwemotyamotya . Ssinga wali osobola okubaako w’oli mu bwengula n’olaba buli ekikolebwa ensolo eziri ku nsi wandirabye katemba atali musasulire, alimu ebisanyusa, ebyewunyisa, n’ebyennaku.

Katemba alimu okunyumirwa ayitibwa “katemba ow’okunyumirwa” (comedy); ate oyo akomekkereza ne nnaku, entiisa, obulumi n’okunyolwa ayitibwa “katemba ow’entiisa” (tragedy). Mu katemba ow’entiisa mubaamu bakazannyirizi ab’enjawulo; wabaawo ayitibwa omuzannyi omukulu, ayitibwa omuzira, “omupalattanyi”, (protagonist) oba omuzira ow’ekikolimo.

Ne mu bulamu ku nsi kuno mulimu katemba ow’entiisa mungi , ng’ensibuko eri mu bintu bisatu:

(a) Engerekera (instinct) ey’okuva mu mbeera ez’obuntubulamu (a) Obutaba na bwakalimagezi ku bikolwa bijja abalala mu mbeera ez’obuntubulamu (lack of emotional intelligence). (c) Obutagunjula baana nga bato kufuga mbeerza zaabwe ez’obuntu.


(xi). Embeera y’Obuntu ey’Obujja

Obugunjufu era kikwata ku kumanya buvune obuyinza okuva mu mbeera ey’obujja .Obujja kiva mu kulowooleza mu kuvuganya n’omuntu omulala gw’olowooza nti ayinza okuba ng’akusinga . Obujja buviirako embeera z’obuntu nga obulumi, obunyiivu, okunakuwala, okutya okuswala, n’endala. Embeera y’obujja eziiyiza enkolagana n’abalala aba n’omulala .

Awali obujja tewaba nkolagana nnungi , obwesigwa yadde okwagala. Obujja kabonero ka kuvuganya okwekimpowooze nga kino kiva ku kwetwala kuba wansi ku mulala oba kyokka oluusi era kiraga nti wegwaanyiza okuba nga olina okuba omulungi mu buli kintu awatali kulowooza nti Katonda buli muntu alina ekirungi kye yamuteekamu, ekiyinza okuba eky’enjawulo ku by’abalala. Kyetaagisa okuyiga okujja embeera ey’obujja mu bulamu bwo.


(xii) . Embeera y’obuntu ey’ Ensaalwa

Obugunjufu kikwata ku kumanya buvune obuva mu nsaalwa. Ensaalwa kibuzaabuzibwa n’obujja . Ensaalwa kitegeeza okweyagaliza ekirungi ekiri ku mulala oba obuwanguzi omulala bw’atuseeko ng’olowooza nawe oba ggwe wandibadde nakyo oba wandibadde otuuka ku buwanguzi obwo n’otamanya nti buli mbwa erina olunaku lwayo olw’okufuna. Bantu batono nnyo abakimanyi nti olunaku lwabwe olw’okufuna gye luli , era baleme kufuna nsaalwa olwa bannaabwe abalina kye bafunye oba kyebatuseeko.

Ensaalwa kibaawo ng’ekirungi kituuse ku mulala oba ng’oli akusinze. Ensaalwa kivaamu obujja n’embeera endala embi ez’obuntu. Ensaalwa kiyinza okuvaamu akabasa nga okuleetera omuntu okutuusa obuvume ku mulala.


(xiii) Embeera y’Obuntu ey’Okuggwamu Amaanyi

Obugunjufu kikwata ku kumanya obuvune obuyinza okuteeka abalala mu mbeera ey’okuggwamu amaanyi oba okumanya engeri gy’okwataganyaamu embeera eno nga ebaddewo.

Embeera eno eviirako omuntu okuggwamu essubi .Buli lw’olowooza nti waliwo ekikuziyiza oba ekikulemesezza okutuuka ku ky’oyagala, ofuna okuggwamu amaanyi era kino kiyinza okukuleetera okuggwamu essubi . Okuggwamu amaanyi kikosa obulamu bwo bwonna kubanga toba musanyufu. Era kiyinza okukuleetera okwennyika kubanga tolaba ngeri ki gy’ova mu bizibu byo. Ky’olina okumanya kwe kuba nti tewali mbeera ya lubeerera.

(xiv) Embeera y’Obuntu ey’ Obuswavu/Okuswala

Obugunjufu kikwata ku kumanya buvune obuyinza okuteeka abalala mu mbeera ey’obuswavu oba okumanya engeri gy’okwataganyaamu embeera eno nga ebaddewo oba okugyewala.

Oyinza okukola eky’obuswavu mu baana, abavubuka oba abakulu ng’obatulugunya, omuli okubakabawaza, okubawemula, n’okubaboggolera mu maaso ga mikwano gyabwe nga tekisaanidde oba awatali nsonga y’amaanyi kw’osinziira kukola kino. Ebikolwa ebirala ebiyinza okuleetera omuntu obuswavu mulimu okuvuvuba, n’okukayuka mu lujjude.

Obuswavu kya njawulo ku kwekubagiza/gunsinze kubanga embeera ey’okwekubagiza ekulowozesa nti oliko omutawaana kyokka obuswavu toba na kya kubukolera , okujjako okuviira embeera mw’oswalidde oba ne wenenya eri b’okozeeko eby’obuswaavu. Naye waliwo obuswavu obuva mu kumettebwa oba okuwayirizibwa. Sooka okkakkane olyoke okole okwennyonnyolako kyokka oluusi okusirika kuwangula bingi kubanga amazima tegeekweka.

(xv) Embeera y’Obuntu ey’ Obubuguumirivu

Obubuguumirivu kitegeeza okukyamuukirira ennyo oba okunyumirwa ennyo “omulamwa”.Oyinza okukyamuukirira nga bakuwaanye , nga owangudde, nga ofunye amagoba agatali ga bulijjo oba ng’olina ky’ovumbudde.

Okuyigiriza omwana okukozesa obwongo oba okwefumitiriza ng’alambika ensonga (inductive reasoning kimubuguumiriza nnyo okusinga okumulambululira ensonga kubanga mu kulambika ensonga aba yezuulira ku bubwe.

Kyokka okubuguumirira ekisukkulumye kiyinza okukuleetera okufiirwa n’obutatuuka ku ky’oyagala kubanga oyinza okukola ensobi ng’olowooza nti buli lunaku bwe kinaabeera oba nga olowooza nti kiwedde so ng’ate tekinnaggwa , kikyakwetaagisa okufunvubira.

Okumala ebiseera ng’okola ebintu ebikusanyusa nakyo kiyinza okukubuguumiriza kyokka waliwo abantu nga bbo mu buttonde bwabwe babuguumirivu (bakyamufu) awatali kwegulumiza , kukudaala, oba okuduula . Obukyamuukirivu obw’okwemanyamanya n’okweragalaga si bulungi.

(xvi) Embeera y’Obuntu ey’ Ennyiike 

Obugunjufu kikwata ku kumanya engeri gy’okwataganyaamu embeera eno nga ebaddewo.

Ennyiike kitegeeza okuwulira ennaku ennyingi oba okwennyika olw’okufiirwa omwagalwa wo, okugobwa ku mulimu, okusuula eky’omuwendo , n’ebirala.

Okukakkanya ennyiike laba nga olya ate wewummuze ekimala. Wewale okunywa ennyo omwenge oba sigala kyokka laba ng’obeera mu b’emikwano egikuwa amaanyi , awamu n’okwekwasa Katonda n’ekigambo kye.

(xvii) Embeera y’Obunty ey’ Obunakuwavu.

Obugunjufu kikwata ne ku kumanya obuvune obuyinza okuteeka abalala mu mbeera ey’obunakuwavu oba okumanya engeri gy’okwataganyaamu embeera eno nga ebaddewo oba engeri gy’oyinza okuyamba ali mu mbeera ey’obunakuwavu.

Obunakuwavu tekitegeeza kwennyika . Obunakuwavu kijjawo oluvanyuma lw’okulemesebwa (disappointment) oba ng’ofiiridwa omukwano oba ow’oluganda oba mu byenfuna

Omuntu era owulira ennaku nga ogezaako okulabirira omuntu ali mu mbeera embi, nawe gye wali oyiseemu kuba nga weteeka mu mbeera eyo singa gwe obadde ogirimu (empathy). Obusaasizi (sympathy) kyangu naye kizibu okutegeera embeera omuntu gy’alimu (empathy) nga togiyitangamu.

Obunakuwavu n’olwekyo era bulimu n’okutegeera embeera omuntu omulala gy’alimu era kitegeeza okuyita mu mbeera eyo okusobola okumanya embeera yennyini munno gy’alimu . Omuzadde anakuwadde olwa muzzadde munne okufiirwako omwana yeteeka mu mbeera nti singa abadde wuwe y’afudde ate era omukazi atazaalangako ayinza obutamanya bulumi muzzadde bwayitamu. Asooka , aba yeteteka mu mbeera ya munne (empathetic). Ow’okubiri aba musaasizi (sympathetic) .

Kimu ky’olina akumanya kwe kuba nti toli wekka mu buzibu obwo naye bangi ababuyiseemu.


(xviii) Embeera ey’okusanyukira ennaku y’Abalala

Waliwo abantu abamu abalina embeera y’obuntu embi ey’okusanyuka ng’abalala bali mu bizibu oba mu mbeera enzibu. Abantu bano bafuna okubuguumirira n’okukyamuuukirira ng’omulala ali mu mbeera ey’okunyigirizibwa oba ey’okwennyika. Abantu abalina embera eyo basaana kwewala ,osigale mu bantu abayinza okukuzzaamu amaanyi nga oli mu buzibu . Okunyumirwa obunyumirwa n’okukyakyankya nga munno ali mu buzibu kya kikolimo era bwe kiba mu bulamu bwo kyejjeemu otandika okutandika okunyolwa nga bantu banno bali mu bizibu. Kino nakyo abazadde balina okukiyigiriza abaana mu ngunjula yabwe naddala omwana bw’aseka obusesi oba okugyaganya nga munne alumiziddwa oba afunye obuzibu, mulage nti ekyo tebakikola kubanga naye enkya ayinza okutuuka ku buzibu bwe bumu.

(xix) Embeera y’obuntu ekwolekeza akatyabaga

Embeera eno ya kutya. Obugunjufu kikwata ku kumanya buvune obuyinza okuteeka abalala mu mbeera ez’obulabe oba okuleetawo embeera ey’obulabe oba okumanya engeri gy’okwataganyaamu embeera eno nga ebaddewo.

Okwolekera obuvune, obulabe , oba obuzibu kwe kubeera mu mbeera esobola okukutusaako obuzibu, obuvune oba obulabe.

Embeera ey’obulabe kintu ekibi. Ddala mu butuufu kibi , naye kiyinza okukufuula omuntu asobola okwekuuma anti baalugera nti ekizze omanyi kinyaga bitono.

Buli lwe tuyiga okubeera mu mbeera ez’obulabe (vulnerabirities) kyokka ne twekuuma , kituwa obumativu n’essanyu. Kyetaagisa omuntu okumanya n’abalabe be oba abo abakuvuganya kyokka n’osigala ng’obalimu mu mukwano yadde mu bwegendereza .

Ezimu ku mbeera ez’obulabe ze tuyigiriza abaana okwekengera mu bulamu mulimu okwekuuma abatemu, obulyolyomi, enge, effutwa , empiiga , obubenje, ababbi, abataagaliza, ne banneenonyeza byange.

(xix) Embeera y’obuntu ey’Ebirowoozo .

Obugunjufu kikwata ku kumanya buvune obuyinza okuteeka abalala mu mbeera ey’ebirowoozo oba okumanya engeri gy’okwataganyaamu embeera eno nga obadde ogifunye.

Okuba mu birowoozo kitegeeza emmeeme etatereera oba okulowooza kino na kiri olw’obuzibu obukwolekedde. Emeeme epakuka oba ebirowoozo kiva mu kuba nga tomanyi kinaddirira, n’ogezaako okulowooza kino na kiri ku ky’olowooza ekinaddirira.

Sooka onoonye ekikuviiriddeko okugenda mu birowoozo , okyenenye . W’ewe okwebaka okumala. Abantu abalina ebirowoozo batera okubulwa otulo oba ne basisimuka ekiro ng’ebirowoozo biyiting’ana mu bwongo bwabwe. Mu mbera eno laba nga olya n’okukola dduyiro(exercise) era ofune okwebaka okumala naye tewebaka kiyitiridde. Wekwase Mukama Katonda atalemererwa.


(xx) Embeera z’obuntu endala

 Effutwa  Enge  Empiiga  N’obukyayi.

Omulamwa gw’Omuntu ow’entiisa mu buwangwa bwaffe

Omuntu obutafuga mbeera ze ez’obuntu kifuula obulamu bwe obw’ekikolimo oluusi n’akomekkereza mu nnaku ,olumu n’okufiira mu manyi oba mu ntiisa.

Ono bw’aba nga mukulembeze oba ng’alina ekifo eky’enjawulo mu ntabaganyabantu (society) ayitibwa “mupalattanyi” (protoganist) , muzira ow’ekikolimo , mukulembeze oba mufuzi wa ntiisa oba omuzira ow’entiisa (tragic hero). Kino kiva ku “kikolwa kazaalabulwa”(tragic flaw) nga okwegulumiza.

Manya enjawulo wakati w’obwetoowaze , okwegulumiza n’okukuuma ekitiibwa kyo eky’obuntu (self esteem) . Okukuuma ekitiibwa kyo eky’obuntu (self esteem) tekyetaagisa kwegulumiza yadde okwemotyamotya oba kwetya kuba kuno kuba kweteeka wansi wa kitiibwa kyo eky’obuntu(low self esteem) . Okwegulumiza n’okwemanyamanya kitegeeza kwesukkulumya ku kitiibwa kya buntu .Okwewa ekitiibwa eky’obuntu kintu ekikwenkanyankanya na buli muntu mu buttonde awatali kwefefetta yadde okwegulumiza.

Tandika okuwa abalala ekitiibwa n’okubatwala ng’abantu nga ggwe , yadde buli omu aba n’ebitone bya njawulo. Lekera awo okunoonya ensobi n’ ebikyaamu byokka mu balala naye noonya ebirungi ebibalimu kuba tewali atuukiridde ate era tewali atalina mugaso mu nsi. Okwegulumiza kuziyiza enkolagana ennungi n’abalala.

Singa omuntu alemwa okufuga embeera ze ez’obuntu ayinza okukomekkereza nga muntu wa ntiisa.

Omuntu afuga atya embeera ze obutakalaamuka?

Okufuga oba okuyigiriza omwana okufuga embeera ze ez’obuntu kulimu okumuyigiriza okwang’anga oba okufuga embeera ze ez’obuntu embi okuva mu buto kuba kitwala ekisera. Bw’oba nga oli muntu mukulu newesanga nga tewayambibwa kufunga mbeera zo za buntu okuva nga oli muto, ky’okola fuba okulaba nga :


 otegeera ekikuleetedde oba ebikuleetera okuva mu mbeera ez’obuntubulamu . Kkiriza nti ova mangu mu mbeera .

 okkiriza nti waliwo ekintu oba ebintu ebikujja mu mbeera .

 Okola enteekateeka okwang’anga embeera ezo , gamba okubuulirako abaagalwa bo bakuyambe oba genda mu bakugu mu kukakkanya embeera z’obuntu ezikyankalanye.

 Tambulako mu bifo omuli ebiyinza okukusanyisa.

 Genda mu bantu abasanyufu. Osekemu.Wewale abalyolyomi , ab’enge, effutwa, n’empiiga kuba bano mu biseera ebisinga basekabusesi oba basanyukabusanyusi.

 Genda ew’abakulu b’amadiini, era wekwase Katonda. Soma ebyawandiikibwa ebitukuvu.

 Kola dduyiro (exercise) kikuyambe okukkakkanya ebirowoozo n’embeera y’omubiri okutwalira awamu.

 Beera mu b’emikwaano n’abenju be wesiga abanakuzzaamu amaanyi. Weware abo abayinza okwogera ebyongera okukumalamu amaanyi naddala abo abasanyuka nga omulala ali mu mbeera emunyigiriza.

 Tandika okulowooza nti omuntu asobola okubeera ow’omugaso mu ngeri endala oba eri abantu abalala ne Katonda wo.

Ebyo byonna mbikulaze naye ekisinga kwe kwekwasa Katonda.Eby’okulabirako :Engeri y’okufuga okunyiiga

 Manya ekiviiriddeko okunyiiga okwo.

 Kakkana (rerax) nga weyunira ekintu ekirala okkakkane.

 Weyunire abantu oba omuntu gwe wesiga akuyambe okukkakkana.

 Wekwase Katonda atalemererwa.Okunoonyereza kulaze nti abantu abalina okukkiriza mu Katonda okwa namaddala be basinga okufuga embeera z’obuntu.

Ebiseera ebisinga , omuntu avudde mu mbeera ze ez’obuntubulamu talowooza nti embeera gy’alimu si ya lubeerera . Okudda mu mbeera.:

• Salawo okutandika okubaako ky’okola.

• Beera mugumiikiriza ate okkirize nti waliwo ebintu by’otayinza kukyusa.

• Teeka ebirowooza byo ku by’okukola ebirala

• Lowooza ku bintu ebiyinza okuleeta essanyu mu bulamu bwo nga okusoma ebyawandiikibwa ebitukuvu, okunaaba amazzi agookya, okutambulako ne mikwano gyo n’ebirala.

• Sengejja by’oyogera. Wewale samwasamwa kuba ajja kukwongera kwennyika. Yiga okuwuliriza okusinga okwogera.

• Wewale omuntu oba abantu abayanza okukola oba okwogera ebiyinza okwongera okukujja mu mbeera. • Genda ew’ omukugu mu mbeera z’ebirowoozo.

• Wekwase mukama Katonda wo atalemererwa..


Okwang’anga embeera ey’okwennyika

Omuntu omulamu aba n’obusobozi okufuga embeera ze ez’obuntu naye kino bwe kiba ekizibu wano omuntu aba alina kweyunira mwoyo wa Katonda okusobola okukkakkanya mwoyo w’obuntu aba apaluuse oba alemaganye okukkakkana.

Mu butuufu omuntu omugunjufu aba n’obusobozi okufuga embeera ze ez’obuntu okusinga atali naye era ono bw’aba afunye okulemererwa aba alina okwekwasa mwoyo wa Katonda atalemererwa.

Ky’etagisa nnyo n’olwekyo buli muntu okuyiga embeera z’obuntu eziyinza okujja muntu munne mu mbeera ate era n’ayiga n’engeri ey’okufuga embeeza ze zino. Ekyo kye kiyitibwa obwakalimagezi mu mbeera z’obuntu (emotional intelligence).

Waliwo ebintu bye tulaba ebigenda mu maaso mu ntabaganyi zaffe ne tutabifaaako naye nga bya kabenje eri entabaganyabantu yonna. Bw’oba otambula, olumu osanga abantu, abaana , abavubuka, olumu n’abakulu abamu, nga basekerera oba bajeregerera omuntu ali mu mbeera y’obulamu gy’ateyagarira nga obulemu ku mubiri , ,obwanakampiginya(dwarfism), nakalanga ow’omutwe omunene , omukadde akootakoota, kiggala , ananaagira, omwavu, oba okusekerera omuntu olw’eddiini ye ,eggwanga lye oba olulimi lw’ayogera , oba olw’okuba addiridde mu nfuna ye oba agudde ebigezo oba afunye okulemererwa ku ky’abaddeko..

Mu ngeri y’emu , osanga abantu, omuli n’abebitiibwa oba obuvunaanyizibwa mu ntabaganyabantu nga bannaddiini, abakulembeze, abasomesa mu masomero n’amatendekero nga bawa enkizo abantu obamu omuli n’abaana abato olw’okuba bagagga oba baavu oba olw’eddiini oba eggwanga oba enkula n’endabika .

Ate nno era waliwo abakuza, abazadde, oba abakulembeze abatayawula wakati wa kutulugunya na kugunjula oba okuwabula nga bbo okuwabula oba okugunjula tebakyawula na kikolwa kya kuboggola oba kukayukira muntu. Bino byonna biretera omwana okukula ng’embeera ze nkyankalamu.

Okwogera eri omulala oba abalala mu ngeri ey’obukambwe oba ey’okuboggoka buli bbanga nakyo kikolwa kya kutulugunya kubanga kimujja mu mbeera ez’obuntu so ng’ate okuwabula oba okuyigiriza tekyetaagisa kuboggolera muntu .

Ebikolwa ebyo byonna bijja omuntu mu mbeera ey’ebirowoozo ebiteefu .Ky’olina okusooka okumanya kwe kuba nti engerekera y’okuva mu mbeera erina ekigendererwa okukusobozesa okwetaasa embeera ey’obulabe mu bulamu bwo. Oli bw’akusekerera olw’obulemu bw’olina oba n’akuboggorera manya nti oyo aliko ekizibu, omwekengere era omwegendereze, oba oli awo n’okuva w’ali.

Omuntu avudde mu mbeera bw’atakozesa bwongo kuzza mbeera ye mu nteeko asobola okwekyaawa era omuntu bwaba nga tasobola kufuga mbeera ze za buntu enkyankalamu (control emotions) nga obusungu, bagamba nti ava mangu mu mbeera ze ez’obuntu era nga yetaaga kuyambibwa.

Omuntu okuba omusunguwavu mu kiseera ekimu tekitegeeza nti wa busungu kubanga oyinza okusunguwalamu olw’ensonga emu oba endala eba ekujje mu mbeera naye olw’okukozesa obwongo, n’okkakkana. Awo aba asunguwadde naye olw’okuba akozesa obwongo okufuga embeera ze ezitali za buntu (negative emotions) tatwalibwa kuba musunguwavu wa lulango.

Okutwalira awamu, omuntu avudde mu mbeera ayinza okusanyuka, okunyumirwa, okunyiiga, okusunguwala, okwekyawa, okukyawa, okwetya, okutya, okuboggola, okukambuwala, okufuna obujja, obukyayi, obunakuwavu n’enneeyisa endala ezitali za bulijjo ow’ensonga ez’enjawulo. Ky’olina okumanya kwe kuba nti tewali mbeera ya lubeerera. Baako ky’okola okukkakkana.

Engeri y’okuyamba oyo avudde mu mbeera oba eyekyaye

(i) Okusooka wekakase kw’osenziira okulowooza nti omuntu wo aliko ekikyamu oba embeera emukyankalanyizza ebirowoozo. Kifuneko obukakafu obumala(fakikya).

(ii) Gezaako okukakasa oba nga n’abalala balaba ggwe ky’olabye era nga balina obukakafu; yadde tebamumanyi nga ggwe bw’omumanyi , bayinza okulaba enneeyisa ye oba endabika nga bikyusemu .

(iii) Lowooza kubiyinza okuba nga bye bivaako obuzibu era webuuze ku ki ekiyinza okuddako .

(iv) Wetegekere okukwesamba n’okutwalibwa obubi lw’osooka okukyogerako n’omuntu wo ono avudde mu mbeera . Yadde kino kibaddewo toggwamu maanyi. Nywerera ku nsonga ; sigalawo yadde nga akulaze nti takwetaaga.

(v) Beera mukkakkamu era oyogere nga olaga nti ofaayo eri omuntu wo oyo yadde nga atandise okwekamwana n’okuyomba, sigala nga oli mukakkamu ;tokalaamuka nawe !! Sigala ku mulamwa kubanga omuntu wo ayinza okugezaako okukutabula ove ku kigendererwa ng’akukonjera n’okwekwasa ebyayita. Ky’olina okwesibako kwe kumugamba nti “”ndi wano ku lulwo , okulaba nga embeera yo edda mu nteeko”.

(vi) Singa omuntu wo asalawo nti yetaaga obuyambi bwo , laba nga oli mwetegefu okubumuweerawo kyokka mukubirize okufuna obuyambi obw’ekikugu oba oli awo n’eddagala.

(vii) Naye singa ogezaako okwogera n’omwagalwa wo emirundi egiwera n’olemererwa ku mbeera nga ey’okutulugunya abalala, okuyombayomba, okwekatankira omwenge n’ebiragalalagala obutayagala kulya, obusunguwavu, ettumbiizi, n’olemererwa, lowooza ku kulaba nga wabaawo ekirala ekikolebwa abalala be kikwatako oba abakugu. Manya nti abaagalwa be gye bakoma okubeerawo abangiko gye kikoma okubeera ekirungi.

(viii) “Ekirala eky’okukola” kwekukolagana n’ abaagalwa abalala bonna. Wano ntegeeza abagalwa be n’emikwano abalala, nga mulimu n’abenju ye. Okumulumba mu kibinja kirina kukolebwa nga ekisembayo

(ix) Ekyo bwe kigaana muyite oba mumutwale mu basawo abakugu ab’embeera z’ebirowoozo ebikyankalamu.

(x) Tosamwassamwa na bigambo ku buzibu buno nga obitambuza wano na wali ne mu bekitakwatako oba abatalina kye bayinza kuyamba.


Okuyamba omutiini oba omuvubuka avudde mu mbeera

Buli muzadde oba omukuza alina okumanya engeri y’okuyambamu omuvubuka ali mu mbeera y’okwennyika oba nga mu buzaale bwe mukyankalamu.N’awe omuvubuka olina okumanya engeri gy’oyinza okuyamba muvubuka munno oba omuntu omukulu alina ekizibu okufuga embeera ze ez’obuntu Okwennyika mu bavubuka naddala abatiini tekikwata bukwasi ku kuva mu mbeera kumala kaseera katono naye kikosa obulamu bwe bwonna era singa tewabaawo kikolebwa kuyamba mwana ono okuva mu mbeera eno ey’okwennyika kiyinza okuviirako ebizibu bingi , omuli okuddirira mu kusoma , okukozesa ebiragalalagala eby’akabenje , okwekatankira omwenge, ebikolwa eby’obukambwe , obumenyi bw’amateeka ,omuli n’ obutemutemu oba omwoyo w’okwetta.

Ekirungi kwe kuba nti okwennyika oba okuva mu mbeera okwa buli kika kuyinza okuwonyezebwa era ggwe nga omuntu , ow’omukwano, omuzadde, omukuza, oba omusomesa ow’obuvunaanyizibwa , kikwetagisa okumanya bintu ki bw’oyinza okukola okuyamba omuntu yenna aba avudde mu mbeera , naddala okwennyika oba ebirowoozo.

Kino kikwetaagisa okufuna obumanyirivu mu bubonero bw’okwennyika oba obw’embeera z’ebirowoozo endala embi ez’enjawulo omuntu z’ayinza okuyingiramu.

Bino bya mugaso nnyo , si eri abakuza bokka naye ne bw’oba muvubuka oba mutiini nga oyita mu mbeera erimu okwennyika oba nga oyagala okuyiga engeri gy’oyambamu ow’omukwano ali mu mbeera ng’eyo.

Sooka okimanye nti emyaka egisinga okuba emizibu mu bulamu bw’omuntu gy’emyaka egy’ekitiini, okuyita mu gy’ekivubuka , okutuuka ku gy’ekikulu. Okwennyika mu myaka egy’ekitiini kuyinza okuviirako enneeyisa y’omuntu okukyankalanira ddala awatali kudda mabega ppaka lw’akaddiwa , okujjako nga waliwo ekikoleddwa okumuyamba. Ayinza okubeera awo obulamu bwe bwonna nga yekubagiza, talina ssuubi , musunguwavu, ava mangu mu mbeera ate kino nakyo n’akirandiza mu baana be , ne kifuuka nga ekikolimo ; naye nga ate si kikolimo.


Obubonero bw’okwennyika mu bavubuka


Kavubuka oluusi areetera abavubuka abamu okunyigirizibwa okw’enjawulo , naddala kubanga baba bakyetaaga okuyiga engeri y’okweyisaamu n’eyokukolamu ebintu ebyetaagisa mu ntabaganya naye ate nga omubiri gukyali mu mbeera ey’obutonde(state of nature).


Mu mbeera ey’obutonde omuto aba ayagala okukola buli ky’ayagala ne bwe kiba kiyingirira edembe ly’abalala , awatali kukubwa ku mukono era okugezaako okumukugira okukola buli ky’ayagala nga bw’akyagadde ne w’akyagalidde kye kimu ku bintu ebisooka okumujja mu mbeera n’okumutuusa ku kwennyika singa omuzadde, omusomesa , oba omukuza aba si mutendeke mu ngeri ya kukuzaamu mwana okumujja mu mbeera gy’azaalibwamu ey’obutonde. Naye era okumuboggolera ,okumuswaza n’okumulaga obusungu wakati wakati mu kumujjamu embeera ez’obuto era kiyinza okwongera obwongezi okumujja mu mbeera ez’obuntu.


Buno wansi bwe bubonero kw’oyinza okulabira omuvubuka oba omutiini avudde mu mbeera :

 Entondo

 Okwekyanga

 Okwekandula(rage)

 Okunakuwala

 Okubulwa essuubi

 Okuba ng’abeera mu maziga buli bbanga

 Okwejja ku mikwano n’abantu abamu, ng’abeera yekka awatali bo b’ayagala

 Obutayagala kwenyigira mu bikolebwa eby’awamu

 Okukyusa endya n’ebiseera eby’okwebaka

 Obutatereera n’okukalambira ku kintu

 Okwetya

 Okwekubagiza

 Okwesaasira

 Obutaba mukyamufu

 Okulabika nga omukoowu atalina maanyi mu mubiri

 Obuzibu okuteeka ebirowoozo ku kintu oba omulamwa

 Okwerabirarabira

 Obulumi obujja embagirawo nga omutwe oba olubuto naddala nga abasawo bakebedde nga tebalaba kibuleeta.

 Okusunguwala oba okukuulako waya amangu

 Obutasaagirwako.


Singa omwana oba omutiini abeera mu mbeera ey’okwennyka ne watabaawo kikolebwa:

• Alemwa okuteeka ebirowoozo ku musomesa by’aba asomesa ku somero ate nga namaanyi talina, yerabirarabira, tajjukira mangu era ekivaamu kwe kuddirira mu misomo.

• Ayinza okudduka awaka. Okukola kino kuba nga kwekalakaasa okusobola okufuna okufiibwako n’okukyuusa embeera ye gy’alowooza nti y’emuviirako obuzibu bw’alimu.

• Okwekatankira ebiragala n’omwenge ng’alowooza nti kino kimuyamba okukkakkanya embeera gy’alimu ey’okwennyika.

• Okwetya ng’alowooza nti tewali asobola kumufaako oba okumuwuliriza olw’endabika gy’alimu.

• Obwenzi oba obwa malaaya

• Ebikolwa eby’obukambwe ku balala yadde baana bannabwe.

• Okutabuka omutwe

• Okulowooleza mu kwetta. Kino tekitera kubaawo naye kisobola okubaawo mu Bantu abamu. Obubonero obw’okwagala okwetta

Okusobola okuyamba omuntu ali mu mbeera ey’okwagala okwetta oba okufa olina okunnyonnyoka obubonero bw’embeera eno , omuli :

• Omuntu okwogera ng’asaaga ku kwetta ng’alabika akitegeeza

• Omuntu okugamba nti “ng’enda kwekola ekintu” nga waliwo embeera emukyankalanyizza.

• Omuntu okugereesa ku kufa ng’araga nti okufa kisinga obulamu.

• Okuwandiika ku kufa oba okwetta

• Okubeera mu mbeera ey’akabenje nga okunywa enjaga, omwenge ne kimuviirako okuba ng’alwaanalwaana nnyo ne banne oba awakula entalo n’obutabulako binuubule na bubenje.

• Okwegabako ebibye naddala eby’omuwendo

• Okusiibula abaagalwa be ne mikwano gye mu ngeri etategeerekeka.

• Okweyunira ebissi, ebiragalaagala , oba engeri endala ey’okwetta nga okwesuula mu motoka oba mu nnyanja.


Okuyamba Omuvubuka oba omwana eyennyise


(i) Mulage nti ofaayo gy’ali era w’oli okumuyamba mu mbeera zonna awatali kuddirira

.

(ii) Wesonyiwe eby’okumukangavvula oba okumunenya wabula mukwate mpola nga omulaga omukwano .

(iii) Gezaako nga bw’osobola okumuwuliriza ye by’agamba mu kifo ky’omumunenya oba okumukangavvula.

(iv) Togezaako kumugamba nti akomye okwennyika kw’alimu oba nti byayogera oba by’akola bya kisiru, wabula gezaako nga bw’osobola okulaga nti otegeera okunyigirizibwa kw’ayitamu era olage nti nawe kikkola bubi.

(v) Kola enteekateka mangu omwagala wo okulaba omukugu mu ndwadde z’ebirowoozo ebikyankalanye n’okwennyika.

(vi) Nga omulwadde wo ali mu kujanjabibwa omukugu, kyolina okukola kwe kulaba ng’omulaga nti w’oli ku lulwe era omuyamba era atwalibwa okuba nga wa mugaso alina okufiibwako. Kino okikola okuyita mu :

 Kulaga nti otegeera embeera gy’abadde ayitamu . Okubeera n’omuntu eyennyise kintu kizibu nnyo naye olina okumanya nti omuntu wo waliwo ekimutuusizza ku kizibu ky’alimu , olage obugumiikiriza n’okutegeera embeera ye.

 Mukubirize okukola dduyiro. Nga okutambulako naye , okuzannyako n’abalala, okuvuga akagaali, , n’ebirala.

 Musikirize okubeera mu bantu. Laba nga abeerako mu mikwano era abudabudibwe ng’ali mu banne.

 Goberera enzijanjaba gy’afuna. Laba nga agoberera ebiragiro ebimuweebwa abakugu mu kumujjanjaba era eddagala eriba limuweereddwa olabe nga alimira mu biseera ebigere.

 Obubonero bw’okwennyika bwe buba bugenda mu maaso, tegeeza omusawo.

 Naawe wefeeko. Okusobola okuyamba omulwadde wo, nawe olina okwefaako okulaba nga oli mulamu bulungi . Wegendereze ekwennyika kw’omwagalwa wo n’awe kuyinza okukosa embeera yo.Laba nga olya bulungi, webaka bulungi ekimala , n’okwewummuzaamu mu bikusanyusa.

 Buulirako abaagalwa bo abategeevu basobole okukugumya nga ojanjaba omulwadde wo.

 Tokweka ba nju yo buzibu buliwo. Bw’oba nga olina omwana awaka eyetaaga obuyambi okudda mu mbeera ze ez’obuntu , n’abawaka abalala bategeezeeko nti munnabwe alina ekizibu ekyetaagisa okujjanjaba mu ngeri ey’enjawulo baleme kulowooza nti oli mu kutinkiza na kutiitibyako omu.

 Abaana abalala tobasuulirira nga ojanjaba omu. Abaana abalamu nabo olina okubalaga nti obafaako kubanga ebirowoozo byonna bw’obiteeka kw’omu ate nabano bayinza okuva mu mbeera.

 Wewale okusala omusango. Oyinza okweteekako omusango oba n’oguteeka ku muntu omulala mu nju. Kino kya kabenje nnyo kubanga kyongera kusajjula kiwundu kya mbeera eba eriwo mu maka.


Okufuga obusungu


Oyinza okuba nga oli mukulembeze mu maka, mu ntabaganyo, mu kitongole oba omusomesa ow’ obusungu oba nga olina omwana nga mu buzaale bwe wa busungu . Ky’olina okukokola okukkakkanya obusungu , kwe :

• Okumanya embeera evaako okusunguwala: Bw’oba Taata oba maama mu maka , oba omukulembeze mu ngeri endala yonna , wewale okunyiigira buli mwana , mukyala wo oba omuntu omulala yenna ky’akola kubanga okunyiiga kuviirako ebikolwa eby’obukambwe nga okutulugunya n’okutta mu butanwa oba obugenderevu. Ng’osazeewo okubonereza omwana sooka wefumiitirize era okakase nti kyetaagisa ate nga tokikola mu busungu. Bw’oba okyasunguwadde sooka otambulemu obusungu bukkakkane olyoke omubonereze mu ngeri ensaamusaamu etamutuseeko buvune ku mubiri.

• Okumanya nti singa omwana omutusaako obuvune mu kumubonereza oba ozzizza omusango era Poliisi ekusiba yadde nga ggwe omuzaala ate naye ayinza okukula ng’alina obukyayi gy’oli. Manya nti ggwe oli mu kukaddiwa ate ye ali mukukula ; wewale okukyayibwa abanaakulabirira mu bukadde bwo.

• Kakkana: Kizibu okusigala n’obusungu nga okkakkanye . Singa oba ofuze obusugu bwo, oba osobola okukola ku nsonga z’abantu bo, n’obuvunaanyizibwa awatali kubatusaako buvune bwa mubiri oba mu birowoozo.Okukkakkana , va awali abantu ofune okussa okuwanvu kyokka mu bwongo bwo okkirize nti “bibaawo”. Awo oba otandise okwefumiitiriza okutuuka ku ky’okukola eky’amagezi.

• Kola dduyiro: Oyinza okuteekamu jjaze ey’emizannyo n’ofuluma okukola dduyiro nga odduka mpolampola , oba ovuga akagaali k’emizannyo, oba nga otambulako . Okukola dduyiro kiyamba okukkakkanya obusungu oba embeera eya kawereege mu mubiri. Bw’okola dduyiro omubiri gwo gufulumya ebikemuluzi(hormones) ebiyitibwa enzikakkanya(endorphins) ebiyamba okukujja mu kiwuggwe n’otereera ebirowoozo.

• Wewale olusirika: Kizibu nnyo okwogera n’omuntu akunyiizizza k’abe mukyala wo, mwami , abaana bo, muzadde wo oba omuntu omulala yenna , naye ate mu kwogera mulimu eddagala okusinga okusirika . Bw’oba osazeewo okwogera yogera ku bintu ebizimba so si ebyabuluza , bwe kiba kyetaagisa funa omuntu gwe wesiga akuyambe mu kino; ono aba muzzang’anda. .

• Kyuusa endowooza yo: Kkiriza nti tewali kizibu kitavaawo . Waliwo abantu abamu nga bbo balaba kazigizigi yekka mu maaso (pessimism) . Tandika okukkiriza nti obulamu bulimu ebiwonvu n’ebikko; buli nkuba lw’etonnya manya nti omusana gulina okwaaka, n’olwekyo embeera eriwo egenda kuvaawo.

• Oyinza n’okugendako mu bakugu b’ebirowoozo ebikyankalanye.

• Ebyo byonna nga biremye manya nti waliwo oyo ataremererwa; ye Katonda. Mwekwase ajja kuzza mu mbeera ey’essanyu !