Wetlands

Emigaso gy’entobazi

kyusa

Emigaso gino giyinza okwawulibwamu mu bitti bibbiri: Ejateekebwawo obutonde {[ecological}] N’Abantu gy’ebafunnyemu omugaso social economical Entobazi ziyamba amazzi okubeera awamu era kiyamba ebimera okufunna amazzi. Entobazi ziyamba ettaka obutakulukuta naddala nga waliwo emiti. Emiti gino giyamba okukwata ettaka eryalikulukuse. Entobazi zikuuma ebimera n’ebisolo ebisangibwamu mu mbeera ennungi. Mu ntobazi tufunamu ebitoogo eby’eyambisibwa mu kuluka ebintu by’emikono nga okuluka emikeeka, ebibbo, tufuna enjulu era n’emiti egiyinza okukozesebwa mu kuzimba. Mu ntobazi tufunamu ebyenyanja ebituyamba okutuzamu amanyi. Ebisolo ebisinga bitwalibwa ku ntobazi nebisobola okufuna eky’okuzza eri omumwa naddala mu budde obw’ekkyeeya. Entobazi zituwa amazzi agatuyambako mu makolero , mu birime era n’ebisolo. Abalambuzi bajja nnyo okulaba entobazi zino era nebasasula ssente okusoboola okuzilaba, kino kiyamba nnyo eggwanga okulakkulanna. Newankubadde entobazi zirina emigaso mingi, naye ate era n’ebizibu ebisangibwamu biyitirivu. <ref:lvceep/>