Emisinde n'Engenda(Seed and Velocity)
Emisinde n’Engenda
(speed and velocity).
Mu essomabutonde oba essomabuzimbe(Physics) , "emisinde" kisonjolwa nga ekigerageranyo ky'embiro ezziddukwa buli namunigina ya biseera (rate of running per unit time).Mukasa avuze emotoka ku misinde gya km 150 buli ssaawa , kino kiba kigambululo kya misinde(Statement of speed)).
Kyokka bw'oba oyogera ku "eng'enda"(velocity) ku misinde oyongerako n'obwolekero(direction). Mukasa avuze emotoka ku km 150 buli ssaawa ng'ayolekedde bukiikakkono, kiba "kigambululo kya ng'enda"(Statement of velocity).
Waliwo ebipimo ebiraga emisinde gyokka n’ebyo ebiraga emisinde, n'ekintu ekidduka emisinde gyekiraga oba gyekitunudde. Oli bw’akubuuza emisinde gy’ennyonyi kwetambulira aba akubuuza ekintu kya njawulo ne “engenda” yaayo .Nga Obuwanvu n’okuseetuka bwe birina amakulu ag’enjawulo yadde nga birina enfaanagana, ne emisinde n’engenda bwe bityo bwe biri.
Emisinde gipimibwa ku nsengekera okulaga embiro ekintu ze kitambula. Era ginnyonyolwa nga ekipimo ky’olugendo oba obuwanvu bw’olugendo.
Ekintu ekiri ku mbiro oba ekiwewenyuka kiba misinde gya waggulu kitambula olugendo luwanvu mu kaseera akatono . Ekintu ekigenda empola kiba n’emisinde gya wansi era kitambulo olugendo lumpi mu kaseera akatono. Ekintu ekiri mu kifo ekimu kiba n’emisinde zero. Mumisinde tetufaayo ku ludda ki ekintu gye kitambula kigenda.
Engenda kipimo ekiraga emisinde n’oludda ekintu gye kiraga . Engenda kitegeeza engeri ekintu ekitambula gye kikyuusaamu ekifo.Singa omuntu okuba oluta lumu mumaaso ate nadda emabega oluta lumu wano tewaba “ngenda” kubanga omuntu aba adda mu kifo kye kimu .Kino kitegeeza.
Ssinga omuntu akubuuza nti ekidduka kyo ddukira ku musinde ki ? Oyinza okuddamu nti kiddukira ku kirmita 70 buli ssaawa. Egyo gy’emisinde(speed) gyakyo .
Bivudde eri Charles Muwanga. Kyokka bw’akubuuza nti “engenda” yaakyo eri etya oba ekidduka kyo kati kiri kigenda kitya oba kiri mu ngenda ki? Wano ogattako gyekitunude n’ogamba ntu : “kigenda kiromita 70 buli ssaawa , bukikakkono”. Eyo y’engenda(verocity) yaakyo.