Emma Boona
Emma Boona (Eyazalibwa enakuzomwezi 17 omwezi gwa mukutulansanja 1954) musomesa muna Yuganda era muna'byabufuzi. Yaliko omubaaka omukyala owa Mbarara District[1] mu palamenti ey'omunana neye kumi era omukiise wa National Resistance Movement (NRM), ekibbina ky'ebyobufuzi ekifuga Uganda.[2]
Ng'akyali omubaka, yawereza ng'omumyuka wa sentebbe wakakiiko akakwasaganya ebyemilimu ne Gavumenti yamakati atte yali mukiise ku kakiiko k'ebyensimbi, entekateka wamu n'enkulakulana mu byenfuna wamu n'akakiko akalondola ensasanya ya Gavumenti mu palamenti ya Yuganda.[3]
Yali mukiise ku kiwayi kya NRM mu palamenti era omukise mu kibbina ekigata ababaka abakyala mu palamenti ya Uganda(Uganda Women's Parliamentary Association (UWOPA).[4]
Boona era yaliko Omumyuka wa sentebbe w'olukiiko lwa district y'embarara (Local Council Five (LC5), era yaliko n'omomyuka wa mayor wa Mbarara Munisipali.
Yawerazako ng'omukulu w'esomero lya Mbarara Secondary School era yali musomesa mumasomero agawerako mu bugwa'njuba bwa Uganda.[5][6]
Obulamu bwe obw'edda n'okusoma kwe
kyusaBoona bamuzalira mu disitulikiti ye Bushenyi, mu Ankole ng'enaku zomwezi 17 mukutulansanja 1954 mu maka g'enzikiriza y'eki kulisitayo. okusoma kwe yakutandikira ku St. Cecilia Girls' School Kitabi-Bushenyi ne St. Helen's Primary School – Mbarara, we'yatulira ebibuzo bye eby'ekina ky'omusanvu (PLE certification) mu 1967.
Yamala neyeyunga ku Maryhill High School okusooma siniya esooka paaka ku y'okuna (O-Level) mu 1971, namala nada Trinity College Nabbingo weyasoomera siniya ey'okutano paaka ku y'omukaaga (A-Level) mu 1973.
Boona yeyongerayo okusooma neyeyunga ku Makerere University weyasoomera diguli ne dipuloma mu byenjigiriza gyeya'tikirwa mu 1977. Mu 2006, yatikirwa diguli ey'okubiri mu kubalirira n'okudukanya eby'enjigiriza okuva mu Ssetendekero wa Mbarara University of Science and Technology (MUST).[1]
Gyenvundde we' mu by'obufuzi
kyusaNga yakatikirwa digtuli ye esooka mu 1977, Boona ya'somesa mu zi siniya z'omubugwa'njuba bwa Uganda okutusa 1984 lwe yalondebwa okuba omukulu w'esomero lya Mbarara Secondary School lye yakulira okumala emyaka kumi n'enna. Mu 1991, Yafuka omumyuka wa mayor wa munisipali y'eMbarara. yawereza mu kifo kino paaka 1998 bweyalondebwa ng'omumyuka wa ssentebbe wa LC eyokutaano owa disitulikiti y'embarara.
Okuva 2002 okutusa 2008, Boona yali akiikirira Uganda mu kiibbina ky'ensi yona ekikwasaganya eby'okubalilira mu kuzaala (International Planned Parenthood Federation) – Mu kibangirizi ky'africa (IPPFAR) nga nakywewa mu kitingole kya Reproductive Health Uganda (RHU).
Mu 2006, Boona yagenda mumaso nokuwereza abantu b'eMbarara era yesimbawo ng'omubaka w'abakyala ba disitulikiti y'e Mbarara ngali ku kakonge ka NRM era nawangula akalulu k'anakwata bendera ya NRM mu 2005 atte nawangula n'akalulu ka boona mu 2006 okufuka omubaka mu palamenti ya Uganda ey'omunana. Mu 2011, abantu b'e Mbarara bamulonda ku kiisanja eky'okubiri eky'emyaka etaano.
Mu 2015, Rosette Kajungu Mutambi yasinga Emma Boona mu kalulu k'okulonda anakwatira NRM bendera mu kalulu ka 2016 kubw'omubaka omukyala owa disitulikiti y'eMbarara.[7][8]
Mu palamenti ey'omunnana n'ey'omwenda, Boona yali mukkise ku kakkiko ku by'ensimbi,okubalirira n'ebyenkulakulana wamu n'akakkiko ku nsasanya ya gavumenti mu palamenti. yali mukiise ow'ekiiwayi kya NRM mu palamenti atte wamu n'ekkibbina ky'ababaka abakyala mu palamenti kyebayita (UWOPA).
Mu palamenti eyo munnana, Boona yali awereza ng'omumyuka wa ssentebe w'akkiko akalondola ekitongole kya Gavumenti ekkikwasaganya eby'emilimo wamu n'akakkiko ku Gavumenti ez'ebitundu. Era yali akkikirira bugwa'njuba bwa Uganda mu kibbina ekigata ababaka abakyala mu palamenti ekya UWOPA.
Ebimukwatako Ng'omuntu
kyusaEmma Boona mukyala wa' Chris Boona era balina abaana. akulira wamu nokuwa amagezi ebibbina by'obwegasi ebitereka n'okuwola sente (SACCOs) mu disitulikiti y'e Mbarara era ali ku' bukkiko obudukanya amasomero obw'amasomero mangyi.
Laba nebiino
kyusaEbijulizo
kyusa- ↑ 1.0 1.1 "Archive copy". Archived from the original on 2017-08-18. Retrieved 2021-04-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://chimpreports.com/mbarara-incumbents-emma-boona-kyamadidi-floored/
- ↑ https://katangathoughts.wordpress.com/tag/emma-boona/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2017-08-18. Retrieved 2021-04-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1081101/mbarara-text-books-worth-sh60m
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1030774/serve-milk-parties-lc5-boss
- ↑ https://chimpreports.com/students-sue-ndejje-university-over-tuition/
- ↑ https://ugandaradionetwork.com/story/mbarara-leaders-divided-over-proposed-rwampara-district