Omuzimbi w'ebigambo Charles Muwanga, omulamwa guno agutuukako ng'agaziya amakulu g'ekikolwa ky'Oluganda eky'okuwaliriza(to force).

OKUSINDIKA

"Empalirizo" ky'ekigambo ky'Oluganda ekivvuunula "force" eky'Olungereza.Empalirizo kyatondekebwawo omunoonyerezi ku nzimba y'emiramwa gya sayansi mu Luganda ono nga Ofiisa wa Poliisi ya Uganda Muwanga Charles.

Empalirizo (forces) ziva ku kusika(pull), okusindika(push) oba okunyooreza(twist).N'olwekyo empalirizo kyekuusiza ku kusika, okusindika oba okunyooleza. Empalirizo ze ziviirako "okuva"(motion) okwa buli kika, ne bwe kuba kujugumira, kuseetuka yadde omugendo.Empalirizo ze ziviirako ebidduka okuva mu kifo era n'ensolo okutambula oba ekinyonyi okubuuka ziba mpalirizo.Empalirizo n'olwekyo zetaaga amasoboza(energy).

Mu essomabuzimbe(physics) , empalirizo zirina akakwate n'emiramwa nga "okuva"(motion), amasoboza(energy) n'amaanyi(power).

Mu butuufu empalirizo z'obutonde(forces of nature) n'ezitali za butonde za njawulo.Empalirizo zirimu:

(i) Empalirizo z'essikirizo(gravitational forces)

(ii) Empalirizo z'ensikirizo(forces of attraction).Muno mulimu empalirizo za magineeti(magnetic forces) n'essikirizo(gravity)

(iii) Ekikuubagano(Friction)

(iv)Ekikkatiro(compression)

(v)Ekinyigirizo(Stress)

(vi)Kawereege(Tension)

(vii)Mu essomabibuuka(aeronautics) , waliwo empalirizo ezibeera ku bibuuka nga:

      (a) Ensukuma = empalirizo esukuma (the force of thrust).Ensukuma ebaamu "emsukuma eya    waggulu(upthrust) n'ensukuma eya wansi (down thrust).Ensukuma era oyinza okujiyita "amasukuma"=amasoboza agasukuma(energy of thrust).
     (b)Ensitula=Empalirizo esitula(the force of lift).Eno era oyinza okugiyita "amasitula"=amasoboza agasitula (energy of lift)
     (c) Obuzito(weight) oba essikirizo(gravity).Empalirizo y'essikirizo esika edda wansi ku ttaka
     (d)Ekiwalabanyo (drag).Eno mpalirizo egezaako okugugubira omugendo oba ensukuma (thrust)

Wakitegedde!! Empalirizo(forces) ziviirako ebintu bingi ebigenda mu maaso mu butonde ne mu ntondeka y’ennyanguyirizi (machines). Empalirizo ze:

(a) Zikuumira ebintu awamu ate era

(b) Zibisattulula oba okubyabuluzaamu.

(c) Zireetera ebintu okuva mu kifo ate era.

(d) Zireetera ebintu okuyimirira mu kifo kimu

(e) Zireetera ekintu okwewetamu


Empalirizo z'obutonde n'ezitali za butonde ziri mu biti bya njawulo. Waliwo:

(i)Empalirizo y'essikirizo(gravitational force)

(ii)Empalirizo y'ensikirizo(force of attraction).Muno mulimu empalirizo za magineeti(magnetic forces).

(iii)Empalirizo ezisikira mu mpuyibbiri(Opposing forces)

(iv) Empalirizo esikira mu makkati(Centripetal force)

(v)Empalirizo eviira amakkati(Centrifugal force)

(vi) Na zino mpalirizo:

   (a) Ekikuubagano(Friction)
   (b) Ekikkatiro(Compression)
   (c) Ekinyigirizo(Stress)
   (d) Kawereege(Tension)

Empalirizo ziva ku kusindika, kusika oba okunyooleza. Empalirizo zonna zetaagisa amasoboza(energy) okugenda mu maaso. N'okuva(motion) kwetaagisa amasoboza.

Kati nno olaba akakwate akatasattuilulwa akaliwo wakati wamasoboza, empalirizo, n'okuva. Bwe wataba kuva tewaba kukola.Okukola omulimu wateekwa okubaawo okuseetula ekintu okukijja mu kifo we kibadde.


Amaanyi(power) kiba kipimo ky'amasoboza.


Okusinziira ku Charles Muwanga, abaddugavu ab’edda, okutuuka ejjo ly’abalamu, kaweefube ono ow’okuzimba emiramwa gya sayansi lw’atandiseewo, baali tebalina ndowooza ya mpalirizo na amasoboza (energy) nga emiramwa gya sayansi w’obutonde, ensonga lwaki buli kintu eky’ekuusiza ku mbavu (effort) bakinnyonnyozanga mulamwa gwa “maanyi” (power).

Kyokka mu kwogera okwa bulijjo baalina endowooza y'ekikolwa “okuwaliriza”(to force) kye bataalambulula kutuuka ku ndowooza ya sayansi eri mu mulamwa , empalirizo (Force).

Baakolanga ebintu okunsinzira ku ngerekera z’obuntu (human instincts), awatali kulowooza ku kuba nti buli ekikolebwa kiva mu maanyi agayitibwa “masoboza” (energy) era nti amaanyi kiba kipimo ky’amasoboza buli kiseera ekigere.

Baasetulanga ebintu ng’amayinja nga basindika oba okujja ensolo ng’embuzi mu kifo nga basika omugwa awamu n’okunyoola ebintu ebimu nga tebamanyi nti kino kiyitibwa mpalirizo (forces) evaako okuva (motion).

Kati no ffe abaddugavu ab’omulembe guno kati tumanyi nti ekintu kyonna “okuva” mu kifo kyetaagisa empalirizo. Empalirizo yonna ebaamu okusika, okusindika n’okunyooleza.

Abaddugavu ab’edda baali bamanyi nti amaanyi gava mu kulya naye nga tebamanyi nti amaanyi kiba kipimo ky’amasoboza (energy). Baakumanga omuliro ne bafumba emmere oba okusaanuusa kkalwe naye nga tebamanyi nti okufumba emmere oba okusaanuuusa kkalwe kivudde ku masoboza, amasoboza ga nabbugumya ,amasoboza agookya (thermal/heat energy).

Ekiro baakoleezanga omuliro okufuna ekitangala ate enjuba bw’egolooba nga bukedde nga bafuna ekitangala ky’enjuba kyoka nga tebamanyi nti ekitangaala nayo mbeera ya masoboza agayitimwa “amasoboza ag’ekitangala” (light energy) era agayamba ebimera okukola emmere yabyo ate nga ffe ebimera bye tulya ne tufuna amasoboza ag’’obuziba “ (chemical energy) ng’amasoboza ag’emmere (food energy).

Baakolanga emirimu ( work) emirimu naye nga tebafuddeyo nti okukola kuva ku kuteeka mpalirizo(force) ku kintu okukijja mu kiffo. Mu ngeri endala , okukola(work) kuba kuteeka masoboza (energy) mu kintu ne kiviirako empalirizo ekijja mu kifo.Ekintu ekiteekeddwako empalirizo bwe kitava mu kifo waba tewali kukola oba ka tugambe nti waba tewali kikoleddwa.

Tebaamanyanga nti bw’oba olima n’enkumbi ogiteekamu amasoboza okuva mu mubiri gwo, amasoboza ago ne galetawo empalirizo ewaliriza enkumbi okutema mu taka .

Kyokka bambi baalinawo emiramwa gya sayansi ataali mulambulukufu bulungi nga amaanyi, okutebenta, okutebentuka, okutolontoka, n’okufumuuka, lwa kuba empalirizo n’amasoboza byombi baabiyitanga “maanyi”(power).


"Empalirizo" (Force)

Wakitegedde!! Empalirizo ziviirako ebintu bingi ebigenda mu maaso mu butonde ne mu ntondeka y’ennyanguyirizi (machines). Empalirizo zireetera ekintu okuseetuka ne kiva mu kifo oba okutambula era empalirizo ze ziwaliriza ekintu okwongeza emisinde, okukendeeza emisinde, okukyusa obwolekero, era empalirizo ze zireetera ekintu ekibadde kitambula okuyimirira mu kifo kimu.

Empalirizo era zireetera ekintu okukyusa enkula yakyo. Empalirizo si kintu ky’osobola okulaba n’amaaso go naye olaba ebyo ebikolebwa empalirizo ku bintu ebitwetoolodde. Empalirizo ze:

(a)Zikuumira ebintu awamu ate era

(b)Zibisattulula oba okubyabuluzaamu.

(c )Zireetera ebintu okuva mu kifo ate era.

(d) Zireetera ebintu okuyimirira mu kifo kimu

(e)Zireetera ekintu okwewetamu

Ensibuko y’empalirizo (Sources of Forces)

Sooka webuuze nti empalirizo ziva ku ki ? 

Mu butonde ne mu bulamu obw’emirimu, ensibuko y’empalirizo eri mu bikolwa bisatu:

(a) okusindika,

(b) okusika,

(c)okunyooleza.

"Okusindika" (push)

Okunnyonnyola mu ngeri ennyangu, empalirizo ebaamu okusindika (pushing), gamba ng’okusindika ejjinja okulijja mu kkubo oba eggaali ng’ogisotta. Okusindika ekizito ng’oyambuka akasozi kyetaagisa empalirizo ya maanyi okusinga nga okka.

"Okusika" 
    (pull)

Omulunzi ng’asika embuzi ku mugwa kya kulabirako bya mpalirizo ey’okusika. Akazannyo kano akokusika omugwa nako kalaga empalirizo ey’okusika.Embalaasi esika omuntu n’ebintu bye ku kigaali nayo mpalirizo eyamba okugondeza omuntu mu by’entambula.

"Okunyooleza"

   (twisting)

Okukola emirimu egimu tekyetaagisa kusindika oba kusika wabula kunyooleza (to twist or to turn). Okunyooleza kye kimu ku bikola empalirizo.

Bwoba osaanukula oba osiba ekikyupa ekiriko enjola oba bbalibu y’amasannyalaze eriko enjola okozesa mpalirizo ya kunyooleza (turning). Empalirizo ezisikira mu makkati n’empalirizo eziviira amakkati (Centrepetal and centrifugal forces) .

Ddira akazito nga omukyungwa ogusibeko oluwuzi olugumu oba olugwa oluzunze ng’olwetolooza n’akazito kalwo waggulu w’omutwe gwo, ojja kufuna empalirizo esika nga edda wakati mu mubiri gwo. Eno eyitibwa empalirizo esikira mu makkati oba empalirizo eyeyunira amakkati(centripetal force) .Eyo eba mpalirizo eva mu kusika .

Singa oluwuzi olusibiddwako akazito ako oluta omulundi gumu wakati mu kuluwuuba nga oluzunza olwetolooza waggulu w’omubiri gwo, luba lufuna empalirizo erusindika okuva ku makkati, okuva ku mubiri gwo ne lweyongerayo ku misinde mu musittale omugolokofu.

Eno eba mpalirizo eyewaggula ku makkati oba empalirizo eviira amakkati (centrifugal force) esindika akazito okuva mu makkati.Eyo eba mpalirizo ereetebwawo okusindika.

Buli awali ekintu ekiteereddwako empalirizo etadde obwanga mu bwolekero obumu , wajjawo obwetaavu bw’empalirizo endala egyenkanankana okuva ku ludda olwa kikontana(opposite direction) okuziiyiza ekintu okugwa wansi .


"Ebika by’Empalirizo"

     (Types of Forces)

Ezimu ku mpalizo z’obutonde (forces of nature) ze zino:

(i)Essikirizo

   (Gravity)

Ensonga lwaki buli ekikasukibwa waggulu kimala ne kikka wansi ku Nsi lwa mpalirizo esikira ku nkulungo y’ensi eyiitibwa ‘essikirizo’ (gravity).

Mu butuufu essikirizo y’empalirizo esika seng’endo entono okuva mu seng’endo ennene. Eno y’ensonga lwaki enjuba Muwanga (our sun), ewanga enjuba zaayo zonna buli emu mu buitiro bwayo okugyetoloola .

Omuntu ow’obuwangwa ky’ayita “okuwanga” butuufu kiva kukontana wakati w’empalirizo esikira mu makkati n’empalirizo eviira amakkati esangibwa mu nkulungo zaayo zonna kubanga enjuba nzitoya(mass) nnene nnyo okusinga enkuluingo zayo zonna ng’ozigasse wamu.

Omuzannyi w’omupiira bw’asimula omupiira gudda waggulu ate amasoboza bwe gaguggwamu ne gukka wansi olw’’essikirizo ly’Ensi (Earth’s gravity). Omwana ng'avudde ku muto gw'omuyembe n'agwa, lwaki agudde? Libadde “essikirizo ly’Ensi” (earth’s gravity), ettabi kw’abadde bwe limenyese n’agwa wansi mu kifo ky’okudda waggulu.

(ii) Empalirizo za magineeti (magnetic forces, magnetism). Mu mpalirizo za magineeti mulimu:

• Ensikirizo (attraction)

• Ensindiikirizo (repulsion).

“Obukalakato bwa kkalwe” (Iron filings) mu kifaananyi kino wansi bulaga obuyitiro bw’ekyebulungulo kya magineeti (magnetic field) ekitondekebwawo empalirizo za magineeti.

(iii) Empalirizo z’obuziba 
            (Atomic forces).

“Obuziba” bwe butoffaali obuzimba “nabuzimbe” (the building blocks of matter). Bwe twogera ku mpalirizo z’obuziba era tuba tutegeeza “empalirizo za atomu” (atomic forces). Obuzimbe bw’Obuziba bwefaananyiriza akatoffaali kano wansi nga kazimbulukusiddwa enzimbulukusa (microscope). Mu luganda olwa sayansi bwe twogera ku “buziba” tutegeeza “atomu”.

Obuziba bwa nabuzimbe mubaamu obutinniinyo n’obutonniinya omuli akasonnyalazo, akakontanyo, ne nampawengwa

(iv) Empalirizo z’Obuziizi

            (nuclear forces).

Singa Uganda ebadde nabuzimbe (matter), Buganda bwe buziba bwa Uganda ate ekibuga Kampala ne kiba nga bwe buziizi bwa Buganda kuba y’entabiro ya Uganda yonna.

Mu sayansi ow’Oluganda, “obuziba” bw’ekimette buba wala naye ate “obuziizi” buba wala nnyo n’eriiso okusinga obuziba. Obutoffaali obuzimba nabuzimbe (buli kintu) bwe tuyita obuziba (atomu) bwakyo ate “obuziizi” (nucleous) bwakyo ky’ekitundu ky’obuziba (atomu) ekisembayo munda, mu makkati.

Mu “buziba” (atomu) obwo waggulu amakkati bwe “buziizi” (nnyukiriyaasi), ekitegeeza nti amakkati ye nnyukiriyaasi ya atomu. Enkoloboze ziraga “emitendera gy’amasoboza” (energy levels). Ekikube ekyo waggulu kikulaga “obuziizi bw’obuziba” oba gamba “nnyukiriyaasi ya atomu” (the necleous of the atom).

(v)Ekikuubagano

       (friction).

Tosobola kulaba mpalirizo okujjako ekyo kye zireetawo nga ekikuubagano oba okuva n’ekigugubiro kyempewo (air resistance).

(vi)Ekikkatiro

     (Compression).

Kino wansi kiraga ekiyitibwa ekikkatiro.

Obusaale buno wansi bulaga mpalerizo ya kawereege (tension force) ebaawo n’empalirizo y’ekikkatiro.

Omusituzi w’obuzito ono naye atuukibwako empalirizo ez’ekikkatiro ne kawereege. Ddala omusajja oyo ali ku kawereege ng’ekizito kimwekkatiddeko mu mugongo !!

(vii) Ekinyigirizo n’ekikkatiro

              (Compression and Stress).

Mu bitayimbwa bino wansi, obusaale obw’ekikkatiro obulaba nga busindika empalirizo ku kitayimbwa okuva waggulu ne wansi ate obwa kawereege olaba nga busika ekitayimbwa okuddwa wabweru ku nkomerero zombi. Waliwo n’empalirizo ez’okunyooleza (twisting). Ndowooza olaba kye ziyinza okukola ku kitayimbwa.

(viii) Empalirizo z’ekitambuzo 
                 (Mechanical forces).

Empalirizo z’ekitambuzo zifa ku kukwatagana kwa bintu (contact). Empalirizo ennya ez’obutonde: essikirizo. Empalirizo za magineeti, empalirizo ez’amaanyi n’empalirizo ennafu zo si za kitambuzo kubanga zo tezibaamu kukwatagana kwa bintu butereevu. Empalirizo ezitambuza emotoka oba ennyonyi mu bbanga zonna mparirizo za kitambuzo kubanga wano waliwo ebitundu eby’enjawulo okukwatagana.

Mu butuufu n’ennyonyi etambula mu bwengula erimu empalirizo z’ekitambuzo kubanga n’empewo mw’eyita kintu ekiriwo ky’erina okusaabala okufuna ensukuma=empalirizo esukuma (thrust) egitwala mu maaso.

Empalirizo ez’ekitambuzo (mechanical forces) ze ziviirako ebidduka n’ebitundu byabyo n’ebyennyaguyirizi endala okutambula.

Ekyo waggulu kitundu kya “kitondekamaanyi” (engine). Mpalirizo ki ezikirimu ezisobozesa emotoka okutambula? Essikirizo n’Obuzito

Buli kintu kizimbibwa obuntu obutini ennyo obuyitibwa obutunniinya(particles) .Obutunniinyo(obuntu obutini ennyo) bwe butaffaali obuzimba ennabuzimbe(matter). Ennabuzimbe kiva mu bigambo by’oluganda “endagabuzimbe” , ekitegeeza obutunniinya(particles) obukola obuzimbe bwa buli kintu.

Obutunniinya obusingayo obutoni buyitibwa “buziba”(atoms) oba “atomu “. Okukozesa akagambo k’oluganda “obuziba “ ng’enderedde kukkaatiriza nti akatunniinya kano(this particle) , akaziba(atom) , mu bwanamunigina (in singular) , kantu akali ewala ennyo n’eriiso eriri obukunya okulaba era nga ketaagisa enzimbulukusa (ennyanguyirizi ezimbulukusa=microscope)) okusobola okukasembereza obusobozi bw’eriiso eriri obukunya okukalaba.

Kyokka nno ate “bannassomabuziizi”(chemists) baakizuula nti waliwo n’obutunniinya obutini ennyo okusingawo obuzimba obuziba(atoms) . Obutunniinya (particles) buno bwe buyitibwa “obutonniinya” (atomic particles)ne “obutinniinya”(elementary particles).

Omulamwa gw’akatonniinya (atomic particle) guva mu bigambo by’oluganda “akatono ennyo”(very small) ate “akatinniinya” (elementary particle) ne kiva mu bigambo by’oluganda “akatini ennyo”(very tiny ).

Obuziba(atomu) bwekwata okutondekawo ekiyitibwa “molekyu”.Obuziba ne molekyu butono nnyo okuba nti tosobola kubulaba kannakimu. Enkalubo nga ejjinja , ekikulukusi ng’amazzi ne zi ggaasi ng’empewo zonna zikolebwa butunniinya buno , obuziba ne molekyu.

Buli kintu ekizimbibwa “obuziba” ne “molekyu” kiyitiba “ennabuzimbe”(matter). Ennabuzimbe kiva mu bigambo by’oluganda “endagabuzimbe”. Kino kitegeeza nti “endagabuzimbe” ya buli kintu buba buziizi(atomu) ne molekyu(molecules).

Obungi bw’ennabuzimbe(amount of matter) eba mu kintu kye kiyitibwa “enzitoya”(mass) yakyo.Enzitoya y’ekintu ekimu yekwata ku nzitoya y’ekintu ekirala okuyita mu mpalirizo eyitibwa essikirizo(gravity). Essikirizo eba “ensikirizo ennene”(big attraction). Awo okiraba nti waliwo akakwate wakati w’ensikirizo(attraction) n’essikirizo (gravity).

Enzitoya(mass) gy’ekoma obungi ,empalirizo esika egivaamu gy’ekoma okuba ennene. Eno y’ensonga lwaki enjuba Muwanga (our sun) nga eno erina enzitoya ya bitundu 99% eby’enzitoya yonna mu nsengekera yayo , erina essikirizo (ensikirizo ennene=gravity ) erisobola okusikiriza(to attract) enkulungo zaayo zonna omwenda n’emyezi gyazo ne zisigala munda mu kyebulungulo kyayo eky’essikirizo(its gravitational field).

Ekireetera enkulungo z’enjuba Muwanga okusigala nga ziri mu mugendo ogw’entakoma buli emu mu buyitiro(orbit) bwayo, kiri mu empalirizo musikirampuyibbiri(opposing forces) zino:

(i) Empalirizo esikira mu makkati(Centripetal force)

(ii) Empalirizo eyewaggula ku makkati( Centrifugal force)

Nga akazito akasibe ku luwuzi ke wetolooza waggulu ku mutwe gwo we kalimu empalirizo esikira mu makkati ne kiziiyiza akazito kano okuviira omubiri gwo , n’enjuba Muwanga eziiyiza enkulungo zaayo okuva mu kyebulungulo kyayo.

Kyokka ate buli nkulungo erimu empalirizo egezaako okugiwaga eviire amakkati g’enjuba Muwanga. Eno y’empalirizo eviira oba eyewaggula ku makkati(centrifugal force) .

Omwenkanonkano(balance) gw’empalirizo ebbiri zino gwe guleetera buli nkulungo okusigala buli emu mu buyitiro bwayo okwetoloola enjuba Muwanga awatali kugivaako ne zeyongerayo mu musittale omugolokofu mu entakoma.

Waliwo olunaawuzo(legend) nti lumu kakensa Isaac Newton aba atudde wansi mu muti gw’ebibala , ekibala ne kiva waggulu ku muti ne kimukuba mu mutwe.Yafuna okwolesebwa kw’omulengera okw’embagirawo ne yebuuza ki ekiviiriddeko ekibala kino okugwa wansi ne kitadda waggulu ?

Yagereesa nti kirabika waliwo empalirizo eviiriddeko ekibala ekyo okugwa wansi mu kifo ky’okudda waggulu. Empalirizo eno yagiyita “ensikirizo ennene”(big attraction) , “essikirizo”(gravitation).

Kakensa Isaac Newton era yagamba nti lwaki enkulungo ziri mu kyebulungulo ky’essikirizo ly’enjuba y’ensonga y’emu lwaki ekibala bwe kinogoka ku muti kigwa wansi ne kiteyunira waggulu. Empalirizo esikira ebintu ku nkulungo y’Ensi eyitibwa “ nsikirizo ennene”(big attraction) esikira mu makkati g’ensi oba giyite “essikirizo ly’Ensi(Earth’s gravity).

Okusinziira ku kigereeso ky’empalirizo ezisikira empuyibbiri (the theory of opposing forces) , ekibala nga ekyagwira kakensa Isaac Newton mu mutwe bwe kigwa , byombi ekibala n’ensi kwe kigwa biba bisikang’ana(are pulling each other) naye kino tekyeyoreka butereevu gy’oli kubanga empalirizo esikira mu kibala ntoni nnyo ekiyitiridde ng’ogigerageranyizza n’essikirizo eddene erisikira mu Nsi erina enzitoya(mass) esukkulumye ku y’ekibala mu bungi.

"Obuzito"

      (weight)

Empalirizo y’Essikirizo

Empalirizo y’essikirizo ebaawo buli awaba enzitoya (mass).Emaplirizo y’essikrirzo efumbekera awasinga okuba enzitoya ennyingi

Empalirizo y’ekikuubagano (the force of Friction)

Ekikuubagano y’empalirizo ebaawo nga safeesi bbiri zikwataganye buli emu okuyita ku ndala. Eno mpalirizo egugubira oba okuwakanya omugendo. Safeesi bbiri ez’olukyakya(rough surfaces) zikola ekikuubagano kya maanyi okusinga safeesi bbiri ez’omuseeetwe omuseerevu.

Empalirizo ezibeera ku motoka eri mu kuva

              (Forces acting on a moving car)

Singa omuntu omukulu owa kirogulaamu 80 n’akaana akato aka kirogulaamu 25 batuula ku lusuubo(balance) buli omu ku nkomerero, ku mpuyi eza kikontana obuwanvu bwe bumu okuva mu makkati , ki ekibeerawo?

Empalirizo y’essikirizo (the force of gravity) ly’ensi esikira ebintu ku ttaka (ku Nsi ) y’eyitibwa obuzito (weight). Obuzito businziira ku bintu bibiri:

(a) Enzitoya (mass).Enzitoya buba bungi bwa mubiri oguli mu kintu.

(b) Essikirizo (Gravity).

Buli lw’ogezaako okwang’anga empalirizo y’essikrizo mu ngeri ey’obutagigondera n’oyagala obuuke nga odda waggulu , oba owulira obuzito kubanga oli ku Nsi. Emibiri gyaffe giba gigezaako okuwakanya empalirizo y’essikirizo, ekintu ekituleetera okwewulira nga tuzitowa.

Obadde okimanyi nti Bannabwengula (Astronauts) tebawulira buzito mu bwengula kyokka nga enzitoya y’emibiri gyabwe esigala y’emu nga bwe yandibadde ku Nsi? Ebitondekamaanyi (engines) by’ennyanguyirizi ezitambulira mu bwengula bwe bitandika okubasindikira mu kizungirizi, lwe batandika okuwulira nti bazito.

Buli lw’olya oba n’onywa oba oyongedde enzitoya ku muburi gwo , ekintu ekirinnyisa ensika y’essikirizo , ekireetera omubiri gwo okwetaaga empalirizo esingawo okwang’anganga essikirizo .Kino kye kikuleetera okuwulira ng’ozitowa nnyo okusingawo bw’obadde nga tonnaba kunywa oba okulya.


2. "Okukola" ( Work)

Ekimu ku byawula omuntu ku nsolo endala kwe kukola emirimu egy’enjawulo era okukola y’ensibuko y’obugagga bw’omuntu.

Omwogezi w’oluganda kano ke kaseera okitegeere nti waliwo akakwate akatasattululwa wakaati w’okukola, empalirizo, okuva, amasoboza, n’amaanyi.

(i) Okukola/Omulimu (Work/Labour)

Mu sayansi w’obutonde era ayitibwa essomabuzimbe oba ebyobuzimbe(Physics) , okukola kyetaagisa okuteeka empalirizo ku kintu n’okiseetula obuwanvo obugere okukijja mu kifo we kibadde.

Singa oteeka empalirizo ku kintu naye ne kikulema okuseetula okukijja mu kifo we kibadde oba tokoze mu limu gwonna.

Okiraba nti oluusi, omulimu gw’oba okoze guyinza obutaba na kakwate kanene na mbavu(effort) gy’oba okozesezza okukola omulimu ogwo. Eky’okulabirako singa osindika ekigaali ekiriko ensawo za seminti eziwera era n’okiteekako empalirzo ennene ddala era n’okutuuyana n’otuuyana naye ekigaali ne kikulema okujja mu kifo , oba tokoze mulimu gwonna.

Okuba nti okoze , ekyo ky’oba otaddeko empalirizo kirina okuseetuka obuwanvu obugere olw’empalirizo gy’oba okitaddeko.Weetegereze nti mu sayansi w’obutonde(essomabuzimbe) , okukola omulimu kubaawo nga:

(i) Empalirizo eteekeddwa ku kintu

(ii) Empalirizo ereseewo okuseetuka okuyita mu buwanvu obugere

(iii) Empalirzo eteekeddwa mu bwolekero bwe bumu ng’ekintu bwe kiseetuse.

Okukola omulimu ku kintu kubaawo nga wabaddewo okukyusa amasoboza okugayingiza mu kintu ekyo. Omuwendo gw’omulimu ogukolebwa ku kintu gusinziira ku bintu bibiri :

(i) Obunene bw’empalirizo eba eteekeddwa ku kintu ekyo

(ii) Obuwanvu ekintu ekyo mwe kiba kiyise nga kiseetuka

Manya:

Omulimu (Work) = Empalirizo (p) x Obuwanvu(w)

Kino kiri bwe kityo kubanga okusinziira ku tteeka lya Newton ery’Okubiri, empalirizo eyenkomeredde eba eteekeddwa ku kintu esinziira ku :

(i) enzitoya(mass) y’ekintu ekyo , n’

(ii) Entebenta (accelaration) yakyo nga kiseetuka.


Okiraba nti:

Empalirizo = Enzitoya (mass) x Entebenta/Okutebenta (acceleration)

Namunigina y’empalirizo ye “Nampalirizo”(N) .Nampalirizo mu Lungereza y’eba Newton(N).”Nampalirizo 1” kisonjolwa nga empalirizo eyetaagisa okuseetula (okutebentesa) kirogulaamu emu ey’enzitoya (mass) buli miita emu ya sikonda eya kyebiriga.


Nampalirizo 1 = Kirogulaamu 1 buli miita ya sikonda eya kyebiriga

Oba N1= Kg 1 m/s2

Omuwendo gw’omulimu(okukola) ogwetaagisa okuseetula ekidduka n’empalirizo ya N 20,000 okuyita mu buwanvu bwa miita 100 guba :

N 20,000 x m 100 = Nm 2, 000,000 oba Namirimu (J) 2,000,000

Nampalirizo –miita (Nm) = Namulimu (J). Namirimu (Joule) kiva mu bigambo by’oluganda “Namunigina y’Omulimu”. Joule yakizuula nti ekipimo ky’ebbugumu kye kimu kiba kitondekebwawo n’ekipimo ky’omulimu gw’amasannyalaze oba ogw’omubiri.

Bya Charles Muwanga