Empalirizo z'Obuziizi(Nuclear forces)

(Gakuweebwa Charles Muwanga . Empalirizo z’Obuziizi (nuclear forces).

Nuclear fusion forces diagram

Singa Uganda ebadde nabuzimbe(matter), District bwe buziba(atom) bwa Uganda ate ebitebe bye District ne biba nga bwe buziizi(nucleus) bwa Uganda kuba y’entabiro ya Buli district eri Mu Uganda.

Mu sayansi ow’Oluganda, “obuziba” bwe nabuzimbe(matter) buba wala naye ate “obuziizi” buba wala nnyo okusinga obuziba. Obutoffaali obuzimba ekimette (buli kintu) bwe tuyita obuziba (atomu) bwakyo ate “obuziizi” (nucleous) bwakyo ky’ekitundu ky’obuziba (atomu) ekisembayo munda, mu makkati.


Mu “buziba” (atomu) obwo waggulu amakkati bwe “buziizi” (nnyukiriyaasi), ekitegeeza nti amakkati ye nnyukiriyaasi ya atomu. Enkoloboze ziraga “emitendera gy’amasoboza” (energy levels). Ekikube ekyo waggulu kikulaga “obuziizi bw’obuziba” oba ganba “nnyukiriyaasi ya atomu” (the necleous of the atom).