Empeto n'Empetero(Angles and Bearings)

Empeto n’Empetero

EMPETO
empetero(bearings)
          (Angles and Bearings)

Okusinziira ku Muwanga , essomo ku mpeto (angles) litandika na kuyiga ki ekikola empeto, amannya g’empeto ag’enjawulo, n’engeri gye gaweebwamu amannya gano.Kalonda akwata ku maweto annyonnyolwa wansi:

(i) Eppeto(Angle)

Eppeto likolebwa migendo ebiri (two rays) egisisinkanye ku katonnyeze k’enkomerero ak’awamu akayitibwa akafumito(vertex) .

Empuyi ebbiri ez’eppeto giba migendo(rays) ate akatonnyeze(point) we gyegattira ke kayitibwa akafumito (vertex).

(ii) Empetero (Bearings)

Eppetero kye ki mu kibalangulo?

Mu kibalo tuyinza okupima empeto nga tukozesa ekiyitibwa empetero (bearings) era ekiyitibwa ""endagabuvo. Eppeto liba lipimibwa okuva mu bukiikakkono obulambikibwa ne layini eyesimbye. Kino kitegeeza olina okusooka kukuba layini mu bwesimbu okuva ku katonnyeze (ekifo) ky’ogenda okukolako okubalanguza olwo opime eppeto okuva ku layini eno eya obukiikakkono era ansa yo olina okugiwa nga ya namunigina ssatu, n’osembyayo akabonero ka nampeto.Eky’okulabirako eppetero bwe libeera nampeto 45, kino tukiraga nga nampeto 045.

Empetero )bearings) ziba mpeto eziragokusinziira ku ndagabwolekero (compass directions).

Okulaga obwolekero(direction) kyetaagisa mu mbeera nnyingi naddala mu Nsi ey’okusaabala mu bwengula oba ku mazzi(nautical world). Emu ku ngeri ez’okulaga endagaludda kwe kunokoolayo eppetero (bearing), ekitegeeza ekifo ekimu we kiri okuva ku kirala.Eppetero ngeri ya kulaga maweto (angles). Essomampuyissatu (Trigonometry) ly’ettabi ly’ekibalangulo erikwata ku kalonda w’empeto. Mu essomampuyissatu, waliwo engeri bbiri ez'okulaga endagabuvo(eppetero):