Endwadde y'okusiiyibwa amaaso

Okusiiyibwa amaaso Conjunctivitis y'endwadde ekwata amaaso omuntu n'afuna okusiiyibwa n'obuzimbu ku kitundu ky'eriiso ekyeru ate ne munda w'obususu obubikka ku liiso.[1]

An eye with viral conjunctivitis

Endwadde eno efuula eriiso okuba mu langi eya pinka (pink) oba erimyufu. Era eriiso liba liruma, libabuukirira era nga lisiiwa. Eriiso eddwadde liba livaamu amaziga naddala kumakya era wandibaawo n'okuzimba kw'ekitundu ky'eriiso ekyeru.

Kyokka endwadde eno yandikwatako eriiso limu oba gombi. Obulwadde buno busiigibwa buwuka bukasaasaanya ndwadde(viruses and bacterium) era ng'obuwuka buno kyangu nnyo okusaasaana mu bantu. Ate era singa eriiso ligwamu akooya k'ensolo yonna, nakyo kireeta nnyo endwadde eno. Okunoonyereza ensibuko y'endwadde eno, basinziira ku bubonero obweyolekera ku liiso eddwadde.

Ezimu ku ngeri z'okweziyizaamu obulwadde buno mwe muli: okunaabanga engalo bulijjo(lunye) naye ng'obujjanjabi businziira ku nsibuko eba ezuuliddwa.

Ebiseera ebimu ng'obulwadde buno buleeteddwa buwuka bwa bacteria, endwadde eno etera okugenda yokka nga tewali ddagala likozeseddwa lyonna. Mu bantu abakulu, endwadde y'okusiiyibwa amaaso etera kuva ku buwuka obuyitibwa viruses ng'ate mu bato, businga kuleetebwa buwuka obwa bacteria ng'obulwadde buno butera kukendeerera mu bbanga lya wiiki ng'emu.

Singa wabaawo embeera nga ey'okuziba amaaso(ng'omuntu takyalaba), okulumwa amaaso okutasalako, okukaluubirirwa ng'atunula mu kitangaala, okufuna amabwa ku maaso, oba ng'omuntu talaga ssuubi lya kuwona lyonna oluvannyuma lw'ebbanga erya wiiki emu, olwo wabeerawo okunoonyereza ku nsibuko y'endwadde eyo era n'obujjanjabi bukyukamu.

Kyokka ssinga omwana azaalibwa ng'ayina obulwadde buno obw'okusiiyibwa amaaso, waba wayina okubaawo obujjanjabi ob'enjawulo.

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Wikipedia:WikiProject_Medicine/Translation_task_force/RTT/Simple_Conjunctivitis