Endwade y’omutima

Enfaanana y’obulwadde buno

kyusa

Kino kizibu[[1]] ekibeerawo mu nzimba y’omutima ng’omwana azaaliddwa. Obubonero bw’obuzibu buno businziira ku kika ky’obulwadde obwo era nga busobola okukyuka okuva mu kubulira ddala okutuuka ku kubeera nga bufuuse ekizibu ku bulamu. Singa omuntu abeera n’ekizibu kino abeera assa nnyo, okufuma kw’olususu, okuwewuka kw’omubiri ng’obuzito bugenda bwesala n’okuwulira ng’omuntu buli kiseera abeera mukoowu. Tekireetawo kulumizibwa mu kifuba era ng’ebiseera ebisinga tekiwerekerwako ndwadde ndala. Ekizibu ekiyinza okuva mu ndwadde y’omutima gwe mutima okulemererwa.

Ebireeta endwadde y’omutima

kyusa

Ensibuko y’obulwadde buno temanyiddwa. Kisobka okuba nga buleetebwawo endwadde ezikwata abakyala nga bali mbuto. Okukozesa eddagala oba ebiragalalagala okugeza omwenge oba ssigala, endya embi, omugejjo gwa maama n’ebirala. Okubeera n’omuzadde ng’alina endwadde y’omutima nayo esobola okuba ensonga.

Ebika

kyusa

Obulwadde bw’omutima bwawuluwamu ebibinja ebikulu bibiri okuli nga kisinziira ku lususu lw’omwana okufuuka langi eya bbulu. Ekizibu kino kiyinza okutwaliramu ebisenge by’omutima eby’omunda, obunywa obufuga ennnyingira n’enfuluma y’omusaayi okuva mu mutima, oba emisuwa eminene egiggya n’okuyingiza omusaayi mu mutima.

Obulwadde bw’omutima busobola okuziyizibwa okuyita mu kugema wamu n’okuteeka ekirungo kya iodine mu munnyo oguliibwa mu mmere, n’okuteeka folic acid mu mmere. Ebirwadde ebimu biba tebyetaaga bujjanjabi. Endala zisobola kujjanjabibwa okuyita mu kulongoosa. Okulongoosa kiyiza okwetaagisa okukikola emirundi egiwerako era nga mu mbeera ezimu kiyinza okwetaagisa okukyusa omutima.

Endwadde y’omutima kye kizibu ekisinga okulabikira mu baana abazaalibwa nga mu mwaka gwa 2015 abantu obukadde 34.3 be baalina ekizibu kino mu nsi yonna. Bukosa abaana abali wakati wa 7-75 ku buli baana lukumi abazaalibwa nga kino kisinziira ku ngeri gye bakeberebwamu. Abaana 6-19 bafuna okukosebwa okw’amaanyi era ng’obulwadde buno bwe bumu ku nsonga ezireetera abaana okufa nga baakazaalibwa. Mu 2013 bwaleetera abaana 323,000 okuva ku 366,000 abaafa mu 1990.