Amasoboza(Energy)

Amasoboza, empalirizo n'amaanyi miramwa gya njawulo mu sayansi .

"Amasoboza" mulamwa ogwatondekebwawo omunoonyerezi ku nzimba y'emiramwa gya sayansi mu Luganda ,Muwanga Charles . Amasoboza mulamwa oguli mu ttuluba erimu n'emiramwa "amaanyi"(power) ne "empalirizo"(force).

Amasoboza kiva mu kugattika(blending) ebigambo by'oluganda "amaanyi agasobozesa".Mu kifo ky'okugamba nti "amaanyi agasobozesa" tukiyimpawaza ne kiba "amasoboza" (energy).Amasoboza yadde kiriraaniganye nnyo mu makulu n'omiramwa "amaanyi" n'empalirizo , mulamwa omwawufu ku gino. Amaanyi kiba kipimo ky'amasoboza ate empalirizo zo zetaaga amasoboza ekintu okusobola okukyuka embeera mwe kibadde.

Amasoboza bwe busobozi okukola(ability to do work).Amasoboza nago galimu ebika:

(i) Amasoboza ag'okuva(kinetic or motion energy).Gano ge masoboza agakola (ii) Amasoboza amatereke(Stored/potential energy)

Amasoboza ag'okuva galimu:

(a) Amasoboza ag'ekitambuzo (mechanical energy) (b)Amasoboza agekitangaala(Light energy) (c) Amasoboza ag'ebivuga(sound energy) (d) Amasoboza aga nabbugumya(thermal energy).Gano ge masoboza ag'ebbugumu oba okwokya(heat energy). (e) Amasoboza ag'amasannyalaze(electrical energy)

Amasoboza amatereke (Potential energy)galimu:

(a)Amasoboza ag'ekikyusabuziba(Chemical energy).Muno mulimu amasoboza amatereke mu mmere, mu bbaattule, mu mafuta aga nakavundira(fossil fuels), ebyanda(coal) , amanda (charcoal), mu manda ga lediyo(radio batteries), n'amalala

Mu butuufu awatali masoboza tewali kisoboka kuba tetuyinza kufuna kitangaala yadde ebbugumu ku Nsi.Amasoboza ag'emmere(food energy) ge gatuwa amaanyi okukola emirmi egy'enjawulo. N'ennyanguyirizi nga ekitondekamaanyi(engine) eky'emotoka ziba tezisobola kuva mu kifo awatali masoboza agava mu mafuta agaleetawo entabamuliro(combustion).