Enkoko
Enkoko kimu ku binyonyi ebirundibwa mu Buganda ne mu maka g’abantu abalala bangi nnyo olw’emigaso enkumu egizifumbekeddemu. Nazzikuno ng'Omuganda alunda enkoko zino olw’emigaso gye zaalina enfaafa era nga gyekuusa nnyo ku buwangwa, wabula ensangi zino abantu tebakyatambulira ku mulamwa guno nga bo bakulembeza kya kwenogera nsimbi.
Ebika by’enkoko
Mu Buganda era ng'awantu awalala wonna enkoko zino gye zirundibwa era tulina enkoko za bika bibiri wabula nga wano ziweebwa amannya gaazo ag’ennono okusinziira ku kikula oba ku ntondwa yaazo.
Enkoko ensajja mu Luganda eyitibwa Mpanga oba Sseggwanga era nga n’enkazi eyitibwa Nseera. Wabula nga mu bika bino ebikulu ebibiri era mulimu ebika ebirala ebigwamu.
Ebika ebigwa mu biti bino ebibiri;
i) Ensesere
ii) Lujumba
iii) Kakofu
iv) Ey’olusingosingo n’ebika ebirala bingi
Ennunda y’enkoko
Nazzikuno ng'Omuganda enkoko ze zeetakulira. Mu mbeera eno ng'Omuganda enkoko azita ne zisobola okutambula okusobola okwetakulira n’okufuna ebintu bye zisobola okulya okusobola okubeezaawo obulamu bwazo. Wabula ng'enkyukakyuka gye zigenda zibangibwawo mu bitundu eb’enjawulo abantu kati enkoko ennansi zino nazo kati bazirundira mu biyumba olw’ensonga nti abamu bapangisa, abamu tebakyalina ttaka limala enkoko zino kwe zisobola okubeera nga bwe zeetakulira ekibaleetedde nabo okukyusa ennunda y’enkoko zino.
Okubiika
Enkoko enseera nga bwe twakirambise waggulu nti ze nkoko ze tuyita enkazi mu lulimi olwangu era nga zino mu butonde ze zaaweebwa olukusa okubiika ng'erimu ku makubo omuyinza okuyitibwa okwongera ku muwendo gwazo. Enkoko enseera eridde obulungi esobola okubiika eggi buli lunaku era ng'esobola okubiika wakati w’amagi amakumi asatu (30) n’amakumi ana (40) olwo n'elyoka etandika okumaamira nga bwe kiri mu butonde bwazo.
Okumaamira n’okwalula
Enkoko emala ennaku abiri mu lumu ku magi (21) n’oluvannyuma n’eyalula. Wabula wano wayinza okubeerawo embeera ez’enjawulo eziyinza okwongezesaamu ennaku ezitasukka nnaku ssatu okuva ku ziri abiri mu olumi ez'essalira. Kino kiyinza okuva ku bintu nga;
Singa enkoko etandika okumaamira wabula ng'omulunzi bulijjo aggyawo amagi ng'agatereka olw’embeera endala zonna z’ayinza okuba nga yatya okuzeŋŋanga olwo yo enkoko n’etandika okumaamira gano g'erinawo olwo ye n’agenda okukitegeera nga gano gabadde galekeddwako ennaku ate n’agyongera amalala.
Enfunda ezisinga enkoko zino zimanyi okubiika mu kifo ekimu nga zisukka mu emu. Wano singa enkoko endala egatta eggi mu gano agamaamirwa olwo kiyinza okuleetawo okutaataagana mu nnaku entuufu ezirina okwalulirwamu amagi gano. Wamu n’ensonga endala nnyingi.
Egimu ku migaso gy’enkoko
i) Enkoko kati okuzirunda mulimu oguviiramu ddala ensimbi era abantu bangi kati bagagga ffugge wabula ng'ensimbi baziggye mu kulunda nkoko.
ii) Enkoko kimu ku bintu ebitwalibwa ku buko era nga wano enkoko ya Sseggwango omuko kawasa gy’awa omuko gy’aggya omukazi.
iii) Enkoko zivaako ebyoya ebikozesebwa mu kutimba wamu n’okwongera okulabisa oulungi ebifo eby’enjawulo
iv) Enkoko omuganda ya zeeyambisanga okumanya obudde. Kino era kikyeyambisibwa abantu ab’enjawulo naddala abakuliridde mu myaka mu misoso gy’ebyalo
v) Zituwa ennyama ewoomera abantu abasinga omubinga wansi w’enjuba wano.
vi) Ziriko engero wamu n’enjogera ezizituukirako wano mu Buganda ko n’ebintu ebirala ebituukira ku lulimi ng'ebikocco. Okugeza;
Ekikocco – Yita emitala nange mpite emitala tusisinkanye amaloboozi “ Enkoko empanga”
Atolotooma nga Sseggwanga gye bawadde amazzi amanaabemu. N’ebirala bingi.
vii) Enkoko zivaamu kalimbwe ekimu ku bigimusa ebisingayo obulungi okukozesebwa abalimi nga bamuteeka mu nnimiro zaabwe.
viii) Ebyenda by’enkoko kirungo kya muzinzi nnyo mu kukola emmere y’ebyennyanja. N’ebirala bingi ebikwata ku kinyonyi kino.