Enkola ez'ekizaalaggumba
Enkola z'Ekizaalaggumba[[1]] z'enkola era n'ebikozesebwa okuziyiza omukazi okufuna olubuto. Okukozesa enkola z'ekizaalaggumba ez'enjawulo kye kiyitibwa entegeka y'ezzadde.
Kyokka obuwangwa obumu butwala enkola zino ez'ekizaalaggumba okuba embi era eziteetaagisa, nga businziira ku bintu ng'okukontana n'empisa, ebyobufuzi era n'ebyenzikiriza.
Enkola z'ekizaalaggumba
kyusaEnkola ezisinga okukolera ddala mu nkola zonna ez'ekizaalaggumba kwe kuli ey'okukomya omuntu okuzaala, ng'eno ebeeramu okukutula obuseke obufulumya enkwaso z'omusajja era n'okukutula enseke z'abakyala. Mu ndala mulimu obuweta obuteekebwa mu bakazi okuziyiza embuto, obuweke obumiribwa wamu n'empiso ezikubibwa abakyala ne zibaziyiza okuzaala.
Mu nkola endala ezitatuukiridde nnyo kwe kuli okukozesa obupiira bu kalimpitawa (kondomu), enkola ey'omukazi okubala obulungi ennakuze (okumanya lw'ayinza okufuna olubuto na ddi lw'atayinza kulufuna), okukozesa eddagala omukazi lye yeesiiga ne litta enkwaso z'omusajja, okwo gattako n'enkola ey'omusajja okumalira ebbali (withdraw method).
Newankubadde kikolera ddala, singa omuntu bamukomya (nga bakutula enseke eziyitamu enkwaso oba amagi) omuntu aba takyayinza kuddamu kuzaala obulamu bwe bwonna, naye ziri enkola endala aba asobola okuziwummuzaamu n'addamu n'azaala.
Okwegatta okutayina buzibu(safe sex) gamba ng'okukozesa obupiira era kiyamba n'okwewala okukwatibwa endwadde z'ekikaba gamba nga Siriimu (Mukenenya). Wabula waliwo n'enkola endala eziyiza abakazi okukuza embuto ze bateetegekedde, nga waliwo eddagala ly'akozesa ne lisaanyaawo olubuto oluba oluba lutandise okutondebwawo mu bbanga eritasukka ssaawa nsanvu mu ttaano.
N'ekirala abantu abamu bakitwala nti okwekuuma (obuteegatta na muntu yenna) kyokka kimala okukugira abatiini okufuna embuto, naye si kye kyokka, kisaanye kiwerekerweko okusomesebwa ku nkola ez'ekizaalaggumba okwewala okufuna embuto ze bateetegekedde.
Era n'omukyala ng'amaze okuzaala asobola okufuna olubuto mu bbanga lya myezi ena okutuuka ku mukaaga naddala eri oyo atayonsa nnyo. Kyokka era waliwo enkola z'ekizaalaggumba ezisobola okukozesebwa ng'omukazi yaakazaala ate ng'endala aba alina okulindamu.