Bwo'gatta namba oba enkyusibwo(variables) ziba "nyingo" kyokka bw'ozekubusaamu emirundi ziba nambuluzo(factors).

Okusinziira ku Muwanga , emiramwa gy'ekibalangulo egyekuusiza ku "nnyingo" n'Ekibalo ky'ennyingo=Ekiyingo(Terms and Polynomials) gye gino:

(i) Ennyingo (Term (in algebra)

(ii) Ennyingo ezifaanagana (Like Terms)

(iii) Nnyingo ezikwatagana (Like Terms)

(iv) Ennyingo ezitafaanagana (Unlike Terms)

(v) Nnyingo ezitakwatagana (Unlike Terms)

(vi) Namayingo (Polynomials)

(vii) Nnyingemu (Monomial)

(viii) Nnyingobbiri (Binomial)

(ix) Nnyingosatu (Trinomial)

Weetegereze:

(a)"ennyingo ezikwatagana"(like terms) ne "ennyingo ezitakwatagana"(unlike terms),nnyingemu(monomial), nnyingobbiri(binomial) ,nnyingosatu(trinomial), Ekibalo ky'ennyingo=Ekiyingo(Polynomial).

(b)Namba oba ennukuta bw'ozikubisaamu ziba "nambuluzo"(factors)kyokka bw'ozigatta ziba "nnyingo"(terms).Wano wansi, mu myeyoleko :

 (i) ax5 = 5a , a ne 5 nambuluzo(factors) , 
(ii)  a+5 =15 , a ne 5 ziyitibwa "nnyingo"(terms)

(c)Wa ensonga :

(i) 13y – z nnyingobbiri . Lwaki ?

(ii) 11 × a + k ÷ 3 nnyingobbiri

(iii) 23x – x/b nnyingobbiri

(iv) y ÷ a × t + z nnyingobbiri

(v) 6x ÷ 4 + c + 3 nnyingosatu

(vi) (d – 4r + 6) ÷ 4 nnyingosatu

(vii) e× e × f × g ÷ 7 nnyingemu

(viii) a + b ÷ q nnyingobbiri

(ix) a + b + c + 11 ÷ y nnyingonnya

(x) 5 × y + 5 ÷ y + 2 nnyingosatu