Ensengekera mu Essomabiramu (Systems in Bilogy)

Ensengekera kye ki mu Essomabiramu?

Organ Systems

Okusinziira ku Muwanga Charles, "ensengekera"(system) kiva mu kugattika bigambo(blending) bya Luganda "ensengeka eyemaliria"(selfsustaining arrangement). Mu essomabiramu , kiba kibinja kya bitundu bya kiramu(organs) ebikolagana okusobozesa ekiramu okubaawo. Ensengekera y’ensengeka eziyinza okuba enzibuwavu mu mubiri era y’enkulaakulana esembayo waggulu okuva ku butaffaali okudda ku miwuula(tissues) okuyita ku bitundu by’omubiri eby’enjawulo okutuuka ku nsengekera.

Omubiri gw’omuntu oba ensolo endala yonna gubaamu obutaffaali obulina emirimu egy’enjawulo, emiwuula(tissues), n’ebitundu by’omubiri ebikolaganira awamu okukola emirimu egy’enjawulo. Ensengekera zino zikwataganyiza wamu okukuuma omubiri gwo nga mulamu.

Omubiri gwo gulimu ensengekera(systems) ez’enjawulo nga

(i) ensengekera ey’obuvuluzi( endocrine),

(ii) ensengekera ey’obusimu(nervous),

(iii)ensengekera ey’emufumbi(Muscular system)

(iv) ensengekera y’amasitukiro(musculo skeletal),

(v) ensengekera ey’ebifulumiro(urogenital),

(vi)ensengekera eya kikyusaganyampewo (respiratory),

(vii) ensengekera ey’ennetoloola y’omusaayi(circulatory),

(viii)ensengekera ey’ekiziiyizandwaddei(immune) ,

(ix) ensengekera ey’ekikamulabiriisa (digestive systems).


Ensengekera zikola zokka awamu n’ensengekera zinne waazo okusobozesa omubiri gwo okukuuma embeera ey’ekibalo (homeostasis). Embeera ey’ekibalo(Homeostasis) kyekuusiza ku mbeeera y’omubiri gwo munda ekusobozesa awamu n’obutaffaali bwo okubeera omulamu .

Yadde nga buli sengekera ya mubiri gwo yetaagisa okukukuuma nga oli mulamu , ensengekera y’obusimu(nervous system) y’esingayo okuba ey’omugaso. Amaaso go n’obwongo k=mu kaseera kano biri mu kusoma binyukuto bino era bijjukira ibubaka bunobwonna ku nsengekera. Bw’okirowoozaako , era oba weyambisa ensengekera y’emifumbi(muscular system) ekuyamba okutambuza amaaso go n’okukuumira omutwe gwo waggulu .

Ebitundu by’omubiri (organs) bitundu ku buli nsengekera. Omutimwa gwo gubalibwa nga ekitundu ky’omubiri (organ) so ng’ate era kitundu kya nsengekera eyetolooza omusaayi mu mubiri (circulatory system). Ebitundu by’omubiri (organs) biyinza okukolagana n’ensengekera ez’enjawulo ez’omubiri gwo.

Ebitundu by’omubiri eby’enjawulo bingi birina obutaffaali n’emiwuula egikola emirimu egy’enjawulo.