Ensengekera y'amasitukiro(the Skeletal system)

"Ensengekera y’amasitukiro"

Human skeleton front
    (The Skeletal System)


"Amasitukiro"(skeleton) kiva mu kugattika bigambo(blending) bya Luganda  "amagumba omubiri kwe gusitukira" . Muwanga  agamba nti kino kikkaatiriza nnyo omugaso gw'amagumba gano eri ebiramu okusinga okugayita "ebisigalira" , ebitalaga mugaso gwago eri biramu wabula okulaga nti ekiramu bwe kifa amagumba ge gasigalawo nga omubiri guvunze.


Ensengekera z’amasitukiro (skeletal systems) ziri mu ngeri za njawulo. Waliwo "amasitukiro agali ku ngulu"(exoskeleton) ne "amasitukiro agali munda" (exoskeleton) mu mubiri.

Ebiwuka n’ebikongojja( Insects and crustaceans) birina ensengekera z’amasitukiro agali ku ngulu kw’emibiri gyabyo (exoskeleton) .

Ebiramu nga ebyennyanja ebimunyeenyo(starfish) tebirina magumba naye ebisitukiro byabyo bikolebwa bitengejjeso munda mwa tyubu eziri mu mibiri byazo.Ensengekera z’ebisitukiro ebyekitengejjeso(fluid skeretal systems) ziyitibwa nakazzi ez’entagenda(hydrostatic). Namba zonna ezsangibwa wabweru w’amazzi zetaaga ensengekera y’amasitukiro ag’engeri emu oba endala emibiri gyazo kwe gisitukira n’okuzikugira .

Okutwalira awamu ekigendererwa ky’ensengekera y’amasitukiro kwe kukuuma ebitundu by’omubiri ebimu ate era n’okusitukirako omubiri gw’ekiramu.

Ensengekera eno ekola ki ?

Twayogedde dda ku kigendererwa ky’ensengekera y’amasitukiro (skeletal system). Okukuum ebitundu by’omubiri ebiyinza okutuukako amangu obuvune n’okusitukirwako omubiri z’ensonga enkulu ebbiri lwaki ebiramu biba n’ensengekera z’amasitukiro.

Mu mubiri gwo , amasitukiro (the skeleton ) gakolera wamu ddala n’ensengekera y’emifumbi(muscle system) okukusobozesa okutambula (okuva mu kifo). Awatali magumba agakola amasitukiro go , wandibadde nga tyubu y’emiwuula egijjudde amazzi . Amagumba ge gakola ekibago(framework) emifumbi n’ebitundu byo kwe byekwata. Amasitukiro go era gawa obukuumi ebitundu eby’okwegendereza nga obwongo obukuumirwa mu kawanga(skull) .

Amagumba g’akawanga ko ge gawa obukuumi obwongo bwo ate embiriizi ziwa obukuumi ebitundu byo ebyomunda ebisinga .N’ebisolo ebirina amasitukiro ebyo kungulu(exoskereton) bifuna obukuumi okuva mu kasitukiro kazoo.Amakovu ggo galena ebisosonkole agawa obukuumi ebitundu ebyo munda. Bivudde mu kitabo "Essomabiramu" ekya Muwanga Charles