Ensengekera ey’ekikugiro (integumentary system) ekugira obuvune okutuuka mu mubiri munda. Kino ekikola nga ebikkirira n’eziiyiza ekintu kyonna okuva mu mbeera ey’ebweru okutuusa obuvunde mu mubiri gw'ekiramu , naddala ng’ekugira obuwuka obusirikitu obuleeta endwadde n’embeera z’obudde enkaalamufu nga obunnyogovu oba ebbugumu.

Ensengekera eno erimu olususu , enviiri, enjala, n’obuvuluzi bw’entuuyo (sweat glands). Olususu lwo, enviiri n’enjala bya kukugira ate obuvuluzi obw’entuuyo bbwo ne buba bwa kukkakkkanya tempulikya ya mubiri n’okuyamba okufulumya ebituuyano(waste excretion).

Muwanga agamba nti gg’ojjeeko ekyo , enkettanyo(receptors) mu lususu lwo ziwa obubaka ku ki ekikkoonyeko , ebbugumu, obunnyogovu n’obulumi.