Ensibuko y'emizimu n'emisambwa ogimanyi ?

Okusinziira ku Muwanga Charles mu Katabo ke Ebyokulwanyisa eby'Entalo ez'Omwoyo, abantu bangi omuli n'ababuulizi b'Enjiri batankana ensibuko y'emyoyo egy'Ekizikiza.Mu butuufu ablyoyi b'omwoyo banji babuzaabuza emizimu n'emisambwa n'emyoyo gy'abantu abafudde.Kyokka ebyawandiikibwa ebitukufu biraga nti tewali mwoyo gwa muntu afudde gusigala ku Nsi kuno nga gutayaaya okujjako emyoyo gya bamalayika abaajemeera katonda ne basuulibwa okuva mu ggulu.Okusinziira ku Muwanga, tosobola kulwanyisa mulabe nga tomanyi nsibuko ye ! Emizimu n'emisambwa si myoyo gya bantu abaafa , nedda .Soma wano !

omuzimu

Ensibuko y’ Empalirizo ez’ekizikiza (The Origin of the Dark Forces)

(Okubikkulirwa 12:7; II Petero 2:4; Yuda Olunyiriri 6)

“Awo mu ggulu ne wasituka olutalo olunene, Mikayiri ne bamalayika be nga balwanyisa ssessota, ssessota ne bamalayika be ne balwana, naye ne bawangulwa …Ssessota omunene n’akanyugibwa wansi, ne bamalayika be ne bakanyugibwa wamu naye” (Okubikkulirwa 12:7-9)

Bayibuli etugamba nti bwe tunamanya amazima ganaatufuula eb’eddembe. Tolina mirembe nga okyalina endowooza nti emyoyo gy’abaagalwa bo abaafa giyinza okukuyamba oba okukukola obubi. Mu butufu abakkiriza bangi bakyalina endowooza nti mu mizimu egitawaanya abantu ku nsi, mulimu n’emyoyo gy’abafu. Luli nawulira omuweereza ng’agamba abantu bagende basabirwe baleme kulumbibwa myoyo gya bantu baafa.

Tosobola kugoba mizimu ng’ogiyita myoyo gya bafu. Kino kiringa kujjanjaba musujja gwa mu byenda (Typhoid) na ddagala lya musujja gwa nsiri. Guba teguyinza kuwona kubanga tozudde bulwadde butuufu buluma mulwadde era eddagala ly’okozesezza si ly’ery’obulwadde obuluma omulwadde wo. Bw’oddira omwoyo gwa bamalayika ne ssabamalayika abaagwa n’olowooza nti myoyo gy’abantu abaafa ate ng’emyoyo gya bamalayika abaagobwa mu ggulu myoyo egisukkulumye ku bw’omuntu, oba werimbye kubanga ku nsi kuno emyoyo gy’abafu si kwe gisigala.

N’olwekyo abaweereza ba Yesu mulekere awo okugamba nti muli mu kugoba myoyo gya bantu abaafa so ng’ate emyoyo egitawaanya ensi myoyo gya batonde abasinga emyoyo gy’abafu amaanyi. Essuula eno bw’onoomalira okugisoma ojja kuba otegedde amazima ku Katonda, bamalayika abaweereza Katonda, emyoyo gy’abantu abafudde, sitaani awamu n’emizimu gye.

Mu II Petero 2:4, ggeyeena eyogerwako nga emagombe mu nsi eyekizikiza. Emyoyo gya bamalayika abaagwa ne ssabamalayika Lusifa, sitaani, gyogerwako nga emyoyo egy’ekizikiza, era kirabika, buli we gibeera ku nsi kuno giri mu kubonerezebwa okutuusa olunaku olw’okulamulwa kwe ginaasalirwa mu butongole ekibonerezo eky’okubonaabona okutalikoma nga gisibiddwa mu ggeyeena. Ekigambululo (the statement), “okusibwa kwa bamalayika abaajemeera Katonda mu kizikiza, ku njegere ez’emirembe gyonna”, kirimu amakulu ag’obusibe obw’omwoyo omuli, okubonaabona okwomwoyo, okw’emirembe. Empalirizo ez’omwoyo (spiritual forces) oba kiyite “amaanyi ag’omwoyo” (spiritual powers) gonna gava mu nsibuko bbiri zokka:

a) Okuva mu Katonda okuyita mu Yesu Kristo, ayogerwako mu Matayo 12:28-29 ng’agoba emyoyo emibi ku lwa Myoyo wa Katonda.

b) Okuva mu mwoyo oguyitibwa sitaani, ono nga yali ssaabamalayika n’emyoyo egiyitibwa emizimu, bano nga baali bamalayika, abaajeemera Katonda ne basuulibwa okuva mu ggulu.

Mu Matayo 12:24-27, sitaani y’ayogerwako nga omukulu w’emyoyo emibi egya bamalayika abaagwa naye olw’obujeemu eri Katonda. Mu Yisaaya 14, Bayibuli eyogera ku kwewaggula kw’abamu ku bamalayika n’omukulembeze waabwe, ono nga yali ssabamalayika ow’amaanyi ennyo mu ggulu.

Mu Yisaaya 14:4, Katonda ayogera eri Kabaka wa Babirooni. Mu biseera bya Nabbi Yisaaya, Babirooni yali etandika okuyitimuka ng’obufuzi obw’amaanyi mu nsi. Kabaka wa Babirooni yali munaawuzi wa ntalo eyalumbanga n’afuula b’awambye abaddu ne yeddiza eby’obugagga bwabwe. Yayonoona nnyo amawanga agaali gamwetoolodde.

Mu Yisaaya 14:12, omulamwa guva ku Kabaka omuntuobuntu okudda kumufuzi owa waggulu, ow’omwoyo. Olulimi olukozesebwa wano lukungubago (lamentation), olulaga Katonda okuba mu biwoobe olw’ebigenda mu maaso. Katonda abuuza omutonde ono nti: “Wawanuka otya waggulu, ggwe eyali emmunyeenye y’okumakya, mutabani w’emmambya? Otemeddwa otya n’ogwa ku ttaka, gwe eyafufuggaza amawanga? Mu mutima gwo eyagambanga nti: ‘Nzija kulinnya mu ggulu, nnamulondo yange njisukkulumye waggulu w’emmunyeenye za Katonda; ng’enda kutuula ku nnamulondo, ku lusozi olukung’aanirwako, ewala eyo emambuka; nzija kutumbiira waggulu eyo mpise n’ebire, nenkane oyo ali waggulu ddala”.

Mu Yisaaya 14:17, Katonda wano ayongerayo n’ategeeza omutonde ono nti: “Nayeoserengeseddwa wansi mu magombe, mu nnyanga y’obunnya. Abakulaba bakutunuulira ne beewuunya ekikutuseeko nti: ‘Ono si yemusajja eyakankanya ensi eyayuguumya obwakabaka? Eyafuula Ensi amatongo, n’asanyaawo ebibuga byayo, atakkirizanga basibe kudda ka?” Mutonde ki ono eyepampalika ku Katonda, omutonzi w’obwengula bwonna?

Mu Ezekeeri 29, Katonda atuwa okuddamu ekibuuzo kino. Essuula eno ewandiikiddwa nnyo nga Yisaaya 14. Katonda atandika ng’ayogera ku mufuzi ono ng’omuntu obuntu, n’alyoka adda ku maanyi ag’omwoyo agali emabega wa namulondo eyo ku nsi. Wano Katonda ayogera ku “mulangira w’e Tiiro” (the prince of Tyre), Tiiro nga ntabaganiro (center) ya busuubuzi ey’amaanyi mu bukiikakkono bwa Yisirayiri ku “waluyanja (sea) eya Mediteranean. Abafuzi ba Tiiro baali bafuuse ba kiwagi, olw’okuba abagagga babifekeera ate bakirimaanyi.

Mu Ezekeeri 28: 6-10, Katonda agamba omufuzi wa Tiiro nti olw’okwegulumiza n’okwemanyamanya, obugulumivu bwe bugenda kuggwawo ajjibwe ku bukulembeze. Kyokka laba nti mu Ezekeeri 28:12, Katonda atandika okwogera ku “kabaka wa Tiiro” (king of Tyre) mu kifo kya “omulangira wa Tiiro” (prince of Tyre). Wano Katonda alaga butereevu nti tayogera ku muntu buntu, wabula omutonde ow’omwoyo ogwa waggulu (higher being). “Mwana w’omuntu, yimba oluyimba olukungubagira kabaka w’e Tiiro, omugambe nti: Omukama Katonda kino ky’agamba: “Wali lusibiro lwa bulungi ng’ojjudde amagezi, oli mulunji ggero. Walimu Edeni mu nnimiro ya Katonda ng’obikkiddwa buli jjinja lya muwendo…..”

Ezekeeri 28”12-13). Tewali muntu alina omubiri n’omusaayi yali asobola okunnyonnyolwa nga “olusibiro lw’obulungi, ng’ojjudde amagezi, oli mulungi ggero”. Omuntu ono omutonde obutonzi owa Ezekeeri 28:13 era yaliko mu “Edeni”, ennimiro ya Katonda. Ng’ojjeeko Adamu ne Eva, tewali bantu balala baabeerako mu nnimiro ya Edeni! Okugwa kwa ssabamalayika Lusifa

Mu Ezekeeri 28:14, Katonda ayongera okwanika obuziina bw’omutonde ono eyamwepampalikako ng’agamba nti: “Nakussaawo ng’omukerubi ow’omubikkiriro; wali ku lusozi lwa Katonda olutukuvu, ng’otambulira mu mayinja ag’omuliro” Ebigambululo (statements) bino ebikwata omubabiro bitegeeza ki? Omukerubi omubikkirizo (cherub who covers) kitegeeza ki?

Bakerubi batonde abayitibwa bamalayika (Okuva 25:17-20; 1 Bassekabaka 6:23-28; Abebbulaniya 8:5). Omutonde (being) Katonda gwe yayogerera okuyita mu Ezekeeri y’ayitibwa “omukerubi omubikkirizo” (cherub who covers), ekitegeeza nti “omukuumi”, ekiraga nti lumu yaliko omu ku bamalayika aboogerwako mu kifaananyi kya Namulondo ya Katonda. Katonda yawa bamalayika bano enkizo ey’okubikkirira oba okukuuma (covering) Namulondo Ye yennyini eri mu ggulu. Sitaani teyali yekka mu kujeema, bamalayika ab’omutendera ogwa wansi bukadde na bukadde bamwegattako.

Kino kiragibwa mu kubikkulirwa 12:3-4: “Era mu ggulu ne wabalukayo akabonero akalala: Ssessota omunene owa kawemba ng’alina emitwe musanvu n’amayembe kkumi, ku buli mutwe nga kuliko omuge. Akawuuwo nga kawalula ekitundu eky’okusatu eky’emmunyeenye ez’omu ggulu; ne kazikuba ku nsi. Ssessota oyo n’ayimirira mu maaso g’omukazi eyali okumpi okuzaala, alye omwana, omukazi olunaamala okumuzaala”.

Kubikkulirwa 12:19 alaga nti ssessota ono ye sitaani. Bayibuli ekozesa “emmunyeenye” ng’akabonero ka bamalayika. Mu Kubikkulirwa 1:20 kiragibwa nti kimu kya kusatu (1/3) ekya bamalayika baagoberera sitaani mu kwewaggula kuno.

Bayibuli eyogera ku sitaani ne bamalayika bonna abaajeema naye ng’emyoyo emibi, emizimu, emyoyo egy’ekizikiza ne daimoni. Wano mu Buganda tugyogerako ng’emisambwa, amagiini, ebyokoola, amageege, ne Lubaale. Gino gyonna myoyo egyerimbikidwamu abatonde bano, bamalayika abajeemera Katonda ne basuulibwa okuva mu ggulu. Sitaani n’emizimu gye era egiyitibwa emisambwa, emisangwa, amagiini, balubaale bagenda kusibwa bazingibweko nga Yesu akomyewo mu maanyi bakugirwe mu ggeyeena mwokka nga tebakyatayaaya ku nsi.

Bamalayika abaagwa berimbika batya mu buwangwa bwaffe? Omuganda ow’edda yalina endowooza nti omuntu akolebwa mwoyo (soul) n’omubiri (body). Abamu balowoozanga nti omuzadde ayambako Katonda okutonda omwana, omwava enjogera egamba nti: “omuzadde ye Katonda wo ku nsi”. Omuntu wa wano bw’awona okufa ng’agereesa nti: “kati singa ndi mbuyaga ezikunta”. Kino kiraga endowooza enkyamu nti omuntu bw’afa omwoyo ogumuvaamu gufuukamu “muzimu” ogusigala nga gutayaaya ku nsi nga gubungeeta ng’embuyaga.

Omuganda ow’edda yalowoozanga nti “omuzimu” (ghost) okufaanana ne lubaale, gusigala   gukolagana n’abalamu era nga guba n’obwetaavu bw’ebyokunywa n’omuliro okwebugumya naye si mmere.

Nga tetunnaba kufuna byawandiikibwa bitukuvu okuva mu Bayibuli, omuntu ow’obuwangwa yali tamanyi nti waliwo emyoyo emitonde egiva mu bwengula ne girumba abantu ku nsi, emyoyo gino nga si gya bantu baafa. Obutamanya nti waliwo sitaani n’emyoyo gy’akulembera, omuntu ow’obuwangwa yalowooozanga nti obulamu bw’omuntu ku nsi bwe businziirako omwoyo gwe ng’amaze okufa bwe guneeyisa eri abo abakyali abalamu.Mu butamanya omwoyo gw’omuntu owa bulijjo ng’amaze okufa gwe baayitanga “omuzimu”.

Omuntu abadde yeeyisa obulungi ku nsi nga balowooza nti omwoyo gwe (gwe baalowoozanga okuba omuzimu) guba mulungi. Kyokka oyo abadde yeeyisa obubi ku nsi nga balowooza nti aba n’omwyo omubi (bbo gwe baayitanga omuzimu omubi), ogutuusa obuvune ku bulamu bw’abantu abalamu. Okusinzira ku ndowooza eno, omuntu abadde yeeyisa abubi mu bulamu afuukamu omuzimu ogukola obubi ku balamu ate oyo abadde yeeyisa obulungi era omuzimu gwe guba mulungi eri abalamu.


Era balowoozanga nti omuntu abadde kagezimunyu mu bulamu bwe, aba n’omwoyo kagezimunyu, ekitegeeza nti omwoyo gwe guyinza okukola ebiringi by’abadde okola mu biseera bye oby’obulamu, okuyamba abalamu. Omwoyo gy’oyo tegwayitibwanga muzimu wabula “lubaale” (spirit of a departed great thinker/artisan/charismatic leader). Mu bukyamu, baalowozanga nti waliwo n’emizimu gy’abantu abafudde egisobola okulabika ng’emisambwa, emisangwa oba amageege.


Baayogeranga ku mizimu emikambwe n’emizimu egy’ekisa, ekintu ekyayamba ennyo emyoyo egy’ekizikiza okulumba abantu nga gyeyita emizimu egyekisa/emirungi.Wansi, ogenda kulaba nti tewali muzimu mulungi; gyonna mibi era gyerimbika mu bifaananyi by’abantu baffe abaafa omuli ne balubaale okulaba nga tugibudamya ne giryoka gitukola buli kibi kye gyagadde. Manya nti emizimu si myoyo gya bantu baafa Katonda yatonda bamalayika mu ggulu b’atuma emirimu egy’enjawulo nga bw’aba ayagadde.


Mu ggulu Katonda yatondayo: (i) Bassabamalayika (Archangels) basatu: Bamalayika balimu bassaabamalayika babiri yadde okusooka baali basatu. a) Lusifa (Lucifer) b) Gabudyeri (Gabriel) c) Mikayiri (Michael) Waliwo Ssaabamalayika Mikayiri (Archangel Michael) ne Ssabamalayika Gabulyeri. Soma Ebyamateeka 12:1, Kubikkulirwa 12:7, Yuda 1:9, Danyeri 8:16, 9:21, ne Lukka 1:19, 26. (ii)


Bamalayika ab’omutendera ogwa wansi bukadde na bukadde Okusinziira ku Bayibuli ya “Red Letter eya King James”, ekigambo “malayika” (angel) kitegeeza omutume owo mu ggulu. Okusinziira ku Bayibuli, bamalayika “myoyo emitonde”, egiteezaala, n’olwekyo tebawasa (Makko 12:25). Bamalayika bitonde eby’omwoyo (spiritual beings), ebitalina mubiri (they are incorporeal/have have no physical body) kyokka bayinza okulabikira mu kifaananyi eky’omuntu oba ekinyonyi. Bamalayika era boogerwako nga: i. Bakerubi (Cherubin). Soma Luberyeberye 3:24 ii. Baserafi (Seraphim). Soma Yisaaya 6:2-3 iii. Ebitonde ebiramu (living creatures) iv. Bamalayika ababi ne bamalayika abalungi

Bamalayika abajeemu abaagwa(The Fallen Angels)


Bamalayika bonna, omuli ne bassabamalayika bitonde bya Katonda ebisukkulumye ku bw’omuntu (super natural beings), naye nga Katonda abisukkulumyeko nnyo ddala kubanga obusukkulumu bwe tebuliiko kkomo.

Ssabamalayika Lusifa bwe yalaba nga Katonda, omutonzi, amusukkulumizza mu busobozi ku bitonde byonna, amuwadde obusobozi obutali bwa bitonde birala byonna, yalowooza nti amuwadde obusukkulumu obulinga abubwe (obwa Katonda) bwennyini. Kye yava asalawo okwewaggula ku Katonda we. Yeegattibwako bamalayika abalala ab’omutendera ogwa wansi bukadde na bukadde.


Mu Kubikkulirwa 12:4, tulaba nti kimu-kya kasatu (1/3) ekya bamalayika bonna abaali mu ggulu kyagwa ne ssabamalayika lusifa. Mu Kubikkulirwa 12:13-17, tusoma nti sitaani agenda kwenyigira mu kutuntuza/okulumba Yisirayiri n’abakkiriza (bantu ba Katonda) mu biseera eby’enkomerero naye taliwangula. Kyokka Bayibuli etutegeeza nti bamalayika ababi (the evil angels), daimoni (demons), bano nga be bamalayika abaagwa, bali mu kubonerezebwa okutalikoma (Yuda 6). Sitaani gwe mwoyo gw’ekizikiza (sabamalayika omubi) agwo ku ntikko, era sitaani:

a) Ye yali ssabamalayika Lusifa (Lucifer)

b) Ayitibwa emmunyeenye eyo ku makya (morning star). Soma mu Yisaaya 14:17 kubanga yali amyansamyansa ng’enkulongo Venaasi (the planet Venus) eyo ku makya kyokka n’agwa.

c) Ye Sse-ababi (the Devil)

d) Omulyolyomi (the accuser) -nga bwe yakola mu Yobu 1:8-12, 2:4-7

e) Aleetera abafuzi n’abantu bonna abeegulumiza okugwa ate ne bagwa nnyo, nga bwe kyali ne Kabaka we Babirooni mu Yisaaya 14:4-18 ne Kabaka wa Tiiro mu Ezekeeri 28:11-19 abaagwa olw’okwegulumiza (pride). Sitaani n’olwekyo yali omu ku bassaabamalayika abasatu mu ggulu.

f) Ssessota omukadde (the old serpent). Soma Kubikkulirwa 12:9, olw’okuba y’omu eyakola obulimba mu nnimiro ya Edeni.


g) Atuula abufoofofo. Sitaani tatereera kuba mu kifo kimu. Tasobola kuba buli wantu mu kiseera kye kimu nga Katonda. Katonda ye yekka abeera buli wamu mu kiseera kye kimu (omnipresent)