Ensikiso (Pulleys)
Gakuweebwa Charles Muwanga !! Ensikiso (Pulleys)
Ensikiso nazo zeyambisa namuziga okukola. Ensikiso eba nnyanguyirizi esookerwako ekolebwa mu namuziga ey’akakyaakya (grooved wheel), ekikono n’olukoba oba olugwa olusikibwa nga lusibiddwajko ekizito ku luuyi olulala, ne luyiringitira ku namuziga nga lutwala waggulu ekizito gye giba kyetaagisa okutikkulirwa.
Ensikiso zikozesebwa okugonza oba okwanguyiriza ensitula y’ekizito. Ensikiso ekola ng’esika wansi olugwa oluyiringitira ku namuziga. Ekizito olwo kkyo kiba kidda waggulu. Ensikiso bbiri oba okusingawo ziyinza okukozesebwa wamu okuzisobozesa okwanguya okusitula ebizito ebizitowa n’okusingawo.
Eby’okulabirako ky’ennyanguyirizi ez’ensikiso mulimu ebyozangoye (washing machine), ebikazangoye (clothes driers), n’ebisituzo (cranes).
Ennyanguyirizi ezisookerwako eziyitibwa ensikiso zisobozesa okusitula ebizito n’olugwa mu bwangu okuyita mu kukyusa obwolekero bw’empalirizo buli lw’ogattako ensikizo endala. Mu bungi kisigala “nsikiso” (pulleys). Jjukira nti emiramwa “essikirizo” (gravity), “ensikirizo” (magnetic attraction), ne “ensikiso” (pulley) byonna biva mu kikolwa eky’okusika (to pull). Wetegereze enjawulo mu mpandiika n’amakulu gabyo mu sayansi.
Ensikiso kifundiwavo ky’ekigambululo “ekyo ekisika ekizito”. Ensikiso zikozesebwa okukyusa obwolekero bw’empalirirzo eba eteekeddwa ku kintu oba okuteekawo ekikwanaganyo ky’empalirizo n’obuwanvo (to provide a force/distance trade off) okwongereza ku kukyusa obwolekero. Wano wansi olaba “enkizo ey’ekitambuzo” (mechanical advantage).
Ng’akozesa enkizo ey’ekitambuzo eya 2 ku 1, omusajja mu nsikirizo eno, omusajja asika olugwa ekiviiramu ekizito okudda waggulu.
Ensikiso zanguya embiibya kubanga zikozesa nkoba oba emigwa okuweereza oba okuyisaawo empalirizo mu kifo ky’ekintu ekigumu nga olubaawo oba ekitayimbwa. Ebikoba biyinza okuyisibwa mu buyitiro obwa buli kika. Ebikoba biyinza okukyusa obwolekero embagirawo mu mpimo satu awatali kutataagagnya kwonna. Ebikobwa biyinzaokwetoloozebwa safuta ya mota nga mota bwe yetoloola.
Bendera ku ewanikibwa okuyita mu nnyanguyirizi ey’ensikiso.
Ensikiso enzibuwavu (Complex pulleys)
Ebikoba birina enkizo kubanga engeri gye bikolamu tekosebwa buwanvu. Singa ekikono ky’ekisuubo kiba kiwanvu nnyo, kiba tekisobola kuwatanya bipimo bya mpalirizo ekyo ekimpi kye kye kiyinza okukolako.
Mu kisuubo okutambuza obuwanvu obugere nga wakava ku kayiringiro, enkomerero y’ekisuubo erina okutambula obuwanvu obugendana n’obuwanvu bwayo .Obuwanvu bw’ekisuubo bwe bweyongera, obusobozi bw’ekisuubo okukutuka awantu wonna kubuwanvu bwalwo buba bweyongera.