Ensimbu bwe bulwadde obutaataaganya omuyungiro gw'amagumba mu mubiri. Obuzibu buno buyinza okuvaamu obuvune mu magumba wabula ekibuleeta tekimanyiddwa bulungi.[1]

Ensimbu

Ekiviirako obulwadde bw'ensimbu tekimanyiddwa wabula abamu bagamba nti obuzibu buno buva ku muntu okufuna obuzibu ku bwongo, okukubibwa ennyo ekisusse n'ebirala. Abaana abamu basobola okufuna obuzibu buno singa bafuna obukosefu nga bazaalibwa. Abantu abalina obulwadde buno batera kulabibwa ku kwekuba bigwo n'okwesika. Omuntu ne bw'aba ali ku nju waggulu, asobola okuvaayo ne yekkata wansi obulwadde obwo nga bumukutte.

Ensimbu egambibwa okuba ng'eva ku kukosebwa kw'obutoffaali bw'obwongo. Omuntu alina obulwadde buno atera okufuna okusannyalala. Omuntu alina ensimbu asobola okukeberebwa omusaayi nga bakozesa ekyuma ekimanyiddwa nga Electroencephalogram mu lulimi lw'Ekinnassaayansi.

Mu 2013, Abantu abakunukkiriza obukadde abiri mu bubiri baazuulibwa nti baalina obulwadde bw'ensimbu era nga ku bano ebitundu kinaana ku buli kikumi baali mu nsi ezikyakula. Mu 2003, omuwendo gw'abantu abafa obulwadde bw'ensimbu gweyongera okutuuka ku bantu 116,000 okuva ku bantu 112,000 abaafa mu 1990. Mu nsi ezikyakula obulwadde buno businga nnyo mu baana ate mu nsi ezaakula obulwadde buno businga nnyo mu mabujje ne mu bakadde. Mu bitundu ebimu abantu abalina ensimbu balina obukwakkulizo obubateekebwako gamba ng'obutakkirizibwa kuvuga bidduka okutuusa nga bafunye obujjanjabi.

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Wikipedia:WikiProject_Medicine/Translation_task_force/RTT/Simple_Epilepsy