Ente
Ente kisolo ekirundibwa ewaka. Kirya muddo ne kinywa n'amazzi. Kivaamu amata ge tunywa oba okufumba kyayi n'okukolamu omuzigo. Mu Buganda ente kyabugagga era ne mu mawanga amalala gamba ng'Abasoga, Abanankole, Abakaramoja, Abateeso n'amawanga amalala agali mu Uganda. Ente era tulya ennyama yaayo. Eddiba ly'ente tulikaza ne tulikolamu engatto n'ebintu ebirala gamba ng'emisipi, ensawo, n'emikeeka.