Environmental Conservation Trust of Uganda
Mu bufunze | ECOTRUST |
---|---|
Entandikwa y'akyo | 1999-07-06 |
Ekitebe ekikulu | Ekibanja 1034, Palm Ave, Lubowa Housing Estate, Entebbe Road, Kampala |
Omukulembeze w'akyo | Pauline Nantongo Kalunda |
Website | https://ecotrust.or.ug/ |
The Environmental Conservation Trust of Uganda (ECOTRUST) kitongole ekitakola magoba era eky'obwannakyewa mu Uganda. Kitongole ekivunaanyizibwa ku kulwanirira obutonde bwensi n'okwongera omutindo ku biological diversity n'embeera ennungi abantu mwebawangalira ng'abayita mu enkola enyikirwa okukuuma obutonde bw'ensi.[1][2] ECOTRUST ekolera ku nnono y'okutuusa obuyambi n'ensimbi.[1][3]
Ebikikwatako
kyusaKyatandikibwawo mu 1999, ECOTRUST kikolera okwetoloola Uganda nga kya siisira mu bitundu bisatu omuli; Murchison-Semliki landscape my bitundu bya Albertine mu Bukiikaddyo bw'obugwanjuba bwa Uganda, Queen Elizabeth National Park ne ku lusozi lwa Mount Elgon mu Buvanjuba bwa Eastern Uganda. Bino byonna ebifo binanyikiddwa mu nsi yonna ng'ebifo ebisangibwamu embeera z'obutonde ez'enjawulo. Ebifo bino biviraako enkyukakyuka mu mbeera y'obudde obusambatuko nga amataba, okubumbulukuka kwettaka n'enkyukakyuka mu ntabula n'embeera y'obutonde ekiviirako ekyeeya ekitasuubirwa wamu ne sizoni y'enkuba okuwanvuwa.
Abavujirizi n'obuyambi
kyusaWorld Land Trust(WLT) ky'ekimu ku batandikawo ECOTRUST ng'obuyambi buno bwayambako mu kutandikawo Corridor Restoration Fund (CRF) ekyakulembera okukuuma kw'ebibira mu bitundu bya Bugoma ne Budongo mu bitundu bya Murchison mu Buggwanjuba bwa Uganda mu kyatuumibwa Bugoma-Budongo Corridor).[4] United Nations Development Programme (UNDP), Bangladesh Rural Advancement Committee (BRAC) ne Ministry of Water & Environment (MWE) bavijurira ECOTRUST wansi wa Pulojekiti eyali erwanirira okuzza ebitoogo wamu n'ebifo awakungaanira amazzi eky'atuumibwa Restoration of Wetlands and Associated Catchments (ADA) Project mu Buvanjuba bwa Uganda. Pulojekiti eno yakolebwa mu Disitulikiti taana naddala eziriraanye enyanja Kyoga; Butaleja, Budaka, Kibuku, Namutumba, ne Kaliro.[5]
Organizational values
kyusaECOTRUST ebigendererwa ebikulu mulimu Embalirira era nga kikakata ku buli omuli, eri ekitongole wamu n'abantu bebakola n'abo, Obwerufu ng'obuwanguzi bw'abwe bwesigamizibwa ku kuzimba bwesigwa, Enneyisa ey'ekigunjufu, Obumu ne Okukolera awamu
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwa eby'ebweru wa Wikipediya
kyusaEbijuliziddwamu
kyusa- ↑ 1.0 1.1 https://ecotrust.or.ug/about-us/
- ↑ https://www.povertyandconservation.info/en/org/environmental-conservation-trust-uganda-ecotrust
- ↑ https://www.worldlandtrust.org/who-we-are-2/partners/the-environmental-conservation-trust-of-uganda-ecotrust/
- ↑ https://ecotrust.or.ug/blog/#:~:text=ECOTRUST%20with%20funding%20from%20the,the%20Bugoma-Budongo%20Corridor).
- ↑ https://ecotrust.or.ug/update-restoration-of-wetlands-and-associated-catchments-project-in-eastern-uganda-ada-2021-2023/