Enzijanjaba y'Olukusense
ENZIJANJABA Y'OLUKUSENSE MU BUGANDA
kyusaObulwadde oluusi buyitibwa Mulangira. Buyitibwa butyo lwa nsonga nti bwatiibwanga nnyo olw'okuba nti bwalinga bwa bulabe nnyo mu Buganda nga n'okwatula erinnya lyabwo kitiisa. Buno bwe bumu ku ndwadde eziyitibwa nnamutta mu nsi yonna. Obulwadde buno bukuba obutulututtu ku mubiri gw'omuntu. Obulwadde buno bwa ngeri bbiri nga waliwo olukusense oluyiwa obutulututtu obutono ate n'obwo obuleeta obutulututtu. Obwo obuyiwa obutulututtu obunene buba bwa bulabe kubanga buleka obukovukovu ku mubiri gw'omuntu.
Obulwadde buno businga nnyo mu baana abato wakati w'emyezi omwenda n'emyaka mukaaga. Omwana ayinza okukwatibwa Obulwadde buno singa abeera tagemeddwa bulwadde buno nga abasawo bwe balagira.
Waliwo okunoonyereza okwalaga nti abaana abato naddala abali mu masomero busobola okubakwata nga buva ku bannabwe singa bagabana ebintu nga engoye, obuliri n'ebirala.
Obubonero
kyusaOmuntu alina Obulwadde buno abeera n'obubonero nga okuyiwa obutulututtu, okwetakulatakula, omusujja, amaaso okukuba akaleka oba okufuuka kyenvunvu.
Enzijanjaba
kyusaObulwadde buno busobola okukendeezebwa n'okwewalibwa ng'abaana bagemebwa emirundi ebiri nga abasawo bwe bagira. Omuntu akwatiddwa Obulwadde buno talina kubeera mu banne kubanga busobola okukwata abalala. Abantu balina okwewala Okugabana ebintu nga engoye wamu n'ebirala ebikozesebwa ku nsusu.
Waliwo eddagala egganda eriyinza okukozesebwa okuvumula Obulwadde buno nga okufumba enkejje, omutulika ne balukandudde olwo omuntu n'aweeba amazzi agavuddemu n'anywa.
Obulwadde buno kimu ku biviirako abaana okufuna obulemu ng'obutawulira, okulemererwa okwogera wamu n'okufa kuba olukusense luli Ku lukalala lw'endwadde omukaaga zi nnamutta era nga butta nnyo abaana naddala Ku ssemazinga wa Afrika.
Gavumenti ez'enjawulo n'abagabirizi b'obuyambi batadde kaweefube mu kulwanyisa Obulwadde buno nga bayita mu kusimba amalwaliro, okubiriza abazadde okugemesa abaana, okwogerako n'abantu nga babategeeza ku katyabaga k'obulwadde buno.