Essikirizo (Gravity).Sooka omanye enjawulo n'akakwate akali wakati wakati w'ensikirizo(attraction) n'essikirizo(gravity)!

zero gravity

Ensonga lwaki buli ekikasukibwa waggulu kimala ne kikka wansi ku Nsi lwa mpalirizo esikira ku nkulungo y’ensi eyiitibwa ‘essikirizo’ (gravity).

Mu butuufu essikirizo y’empalirizo esika seng’endo entono okuva mu seng’endo ennene. Eno y’ensonga lwaki enjuba Muwanga (our sun), esika enkulungo zayo zonna kubanga enjuba enzitoya(mass) nnene nnyo okusinga enkuluingo zayo zonna ng’ozigasse wamu.

Omuzannyi w’omupiira bw’asimula omupiira gudda waggulu ate amasoboza bwe gaguggwamu ne gukka wansi olw’Essikirizo ly’Ensi (Earth’s Gravity).

Essikirizo(gravity) eba nsikirizo ennene(big attraction)