Essomannimi
Mu kitabo kye "Essomamakulu (Semantics), Muwanga Charles ayogera ku "Essomannimi"(Linguistics)nga essomo lya sayansi w'ennimi ezoogerwa abantu ab'obuwangwa obw'enjawulo.
Ekitundu ky'esssomannimi ekyekuusiza ku buzimbe bw'olulimi kirimu amasomi ag'enjawulo omuli :
- Essomamaloboozi (Phonetics) - lino ly'essomo ly'amaloboozi bwe gavaayo mu kwogera.
- Essomanjatula (Phonology) - lino ly'essomo ly'enjatula y'ebigambo okujjayo amakulu ag'enjawulo
- Enzimba y'ebigambo (Morphology) - kino kikwata ku ngeri ebigambo gye bizimbibwamu
- Enzimba y'ebirambululo (Syntax) - kino kikwata ku ngeri ebirambululo( sentences) kye bizimbibwamu)
- Essomamakulu (Semantics) - lino ssomo lya makulu ga bigambo
- Enkozesa y'olulimi (Pragmatics) -lino ssomo erikwata ku nkozesa y'olulimi