Okusinziira ku Muwanga, Essomansi (Geography) kitundu kya sayansi ekikwata ku kunoonyereza oba okusoma ku mazinga/enkalu(lands),endabiko oba enkula y’Ensi (features), ebiwangaalirizi oba abawangaalizi (inhabitants), ne kalonda w’obutonde (natural phenomena) bw’Ensi.

ensi
OrteliusWorldMap

Essomansi, sessomo[1] eggazi eriruubirira okutegeera Ensi ne kalonda ow’abantu (human complexities/phenomena) awamu ne kalonda w’ obutonde (natural complexities /phenomena) bwayo-si bintu we bisangibwa kyokka; wabula engeri gye bizze bikyukamu n’ensibuko yabyo.

Essomansi ssessomo eritera okusonjolwa (defined) okusinziira ku matabi abiri:

  • ettabi ery’essomansi ey'abantu (human geography) n’
  • ettabi ery “essomansi ey’endabiko oba enkula y’Ensi (physical geography).

Essomansi ey’abantu (human geography) lisoma ku bantu n’entabaganyo oba entababuvo (their communities) zaabwe, obuwangwa ,ebyenfuna n’entabagana yaabwe (their interaction) n’obuwangaaliro (with the environment) okuyita mu kunoonyereza ku mikwanaganyo(relations) gy’ebifo awamu n’obwengula.

Essomansi ery’endabiko (physical geography) likwata ku kunoonyereza ku mitendera (processes) n’emisengeko (patterns) mu buwangaaliro obw’obutonde(of the natural environment) nga :

  • Nampewo oba entabampewo (the atmosphere),
  • Entabamazzi(hydrosphere),
  • Entababulamu(biosphere) n’
  • Entabamazinga(geosphere).

Weetegereze:

  • Obuwangaaliro= Environment
  • Ekiwangaaliro = Habitat
  • Omuwangaalizi= Inhabitant (Human)
  • Ekiwangaalizi= Inhabitant (Nonhuman)

References

kyusa
  1. Discipline